Ebbaluwa Omwezi gw’okuna 2009

ULIMU NE SUMIMU - OMUSANA N‘OMUSANGO

« »

Alooni yalagirwa, “Era olikola eky’omu kifuba eky’omusango, omulimu omukozi ow’amagezi … era oliteeka mu kyomukifuba eky’omusango gwa Ulimu ne sumimu; era binaabanga ku mutima gwa Alooni, bw’anaayingiranga mu maaso ga Mukama: ne Alooni anaasituliranga omusango gw’abaana ba Isiraeri ku mutima gwe mu maaso ga Mukama ennaku zonna.” (Okuva 28:15+30; Eby’abaleevi 8:8). Alooni, kabona omukulu eyasooka mu kiseera kya Musa, yalina obuvunannyizibwa okukulembera okusaba awatukuvu awamu ne bakabona okuva mu kika eky’abaleevi. Olugoye olw’effulungu, ekkanzu, era n’eky’omu kifuba byali kitundu ku ekyo. Mu ky’omu kifuba mwalimu amayinja kkumi n’abiri ag’omuwendo nga n’ago galaga ebika kkumi n’ebibiri ebya Isiraeri. Omuntu bw’asoma ebyawandiikibwa byonna ebigenderawo mu ndagaano enkadde, kifuuka kilambulukufu nti Katonda yabawa obuyinza okubuulizanga omusango awatukuvu we (Okubala 27:21; 1Samwiri 28:6). Katonda yennyini yakakasa obutuufu bwe ebyo ebyayogerwa mu kubbo ery’amaanyi ga Katonda, ekyokulabirako, okuyita mu musana ogw’alaga obutangavu okuva mu mayinja ekkumi n’abiri. N’olwekyo, kyayitibwa “Omusana n’omusango” Mu lulimi oluebbulaniya (Eky’amateeka olw’okubiri 33:8).

Mu kiseera kya Ezera ne Nekkemiya, abantu ba Isiraeri bwe baddayo mu Yerusaalemi okuddamu nate okuzimba ennyumba ya Katonda okulangirira okugoberera kw’akolebwa: “Tirusaasa n’abagamba baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo okutuusa kabona lw’aliyimirira alina Ulimu ne Sumimu.” (Nekkemiya 7:65)

Ow’oluganda Branham yakiddinggaana ng’agamba nti, “Ulimu ne sumimu waffe leero kye Kigambo kya Katonda …” era buterevu n’alaga enjigiriza ey’abatume ekkumi n’ababiri. Yayogera ku ky’omu kifuba okuva mu kiseera kya Musa ne Alooni emirundi 138 era n’akigatta ku njigiriza etakyuka ey’abatume. Mu mwezi gw’okuna 6, 1956, mu kubuulira kw’enjiri “the infallible word of God” yagamba, “… era aloota bw’ayogera kyaloose, oba nnabbi ng’awadde obunnabi, era ne butamulisa musana ku Ulimu ne Sumimu, nnabbi oyo aba mukyamu.”

Yesu Kristo ye kabona omukulu omwesigwa oluvannyuma lw’etegeka ya Merukizeddeeki. Katonda yateeka obuweereza obw’enjawulo mu kkanisa ye 1Abakkolinso 12; Abaefeso 4; a o.) era n’assaawo enjigiriza ey’abatume ekkumi n’ababiri ng’omusingi ogw’emirembe gyonna. Ekkanisa ezimbibwa ku musingi be batume ne bannabbi (Ebikolwa by’abatume 2:42; Abaefeso 2:20).

Ow’oluganda Branham yakakasa obutuufu bw’ekyawndiikibwa mu Kubikkulirwa 12 gye tuli ng’akakasa nti omukazi alina engule ey’emunyeenye kkumi n’abiri ye, mazima ddala, ekkanisa y’endagaano Empya y’erina engule n’ejigirza ey’abatume ekkumu n’ababiri. Yafuna ezzadde ery’obwaKatonda ery’ekigambo era mu kumaliriza kwe n’aleeta Omwana ow’obulenzi, eyasooka okutwalibwa waggulu mu kitiibwa era mu nkomerero alifuga amawanga gonna.

Buli kintu ekisseekimu n’enjigiriza ey’abatume kikakasibwa n’omusana ogw’amaanyi ga Katonda. Ebintu ebiyigirizibwa, eby’obunnabbi, oba ebikolebwa bwe bitakwatagana n’ekigambo, eky’omu kifuba kisigala nga tekirina musana. Amayinja kkumi n’abiri ag’omuwendo mu ky’omu kifuba g’egamu ng’agali mu Yerusaalemi ekiggya (Okubikkulirwa 21:15-20), ekikka wansi ng’omugole eyayongerwako ebinyumo. “Ne wajja omu ow’oku bamalayika omusanvu abalina ebibya omusanvu, abajjula ebibonyoobonyo omusanvu eby’enkomerero; n’ayogera nange, ng’agamba nti Jjangu, Nnaakula omugole, mukazi w’Omwana gw’endiga. N’antwala mu mwoyo ku lusozi olunene oluwanvu n’andaga ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda …” (Okubikkulirwa 21:9-27).

Okulaga kw’ekibuga Yerusaalemi ekiggysa ky’amaanyi era kinene. Ekibuga ekirina omusingi gw’amayinja kkumi n’ebiri ag’Omwana gw’endiga g’awandiikibwa. Amayinja ag’omusingi gali mayinja kkumi n’abiri ag’omuwendo omungi, agaaweebwa amanya kin’omu (vv. 15-20). Tugambibwa naffe nti ekibuga nakyo kirina emiryango kkumi n’ebiri ng’agaliko amanya g’ebika kkumi n’ebiri ebya Isiraeri. Abo bokka amanya gaabwe agawandiikibwa mu Kitabo eky’Omwana gw’endiga eky’obulamu y’aliyingira mu Yerusaalemi ekiggya. Esomo wano lye Omugole w’Omwana gw’endiga, abo bonna abaalondebwa ng’omusingi gw’ensi tegunnabaawo okuva mu Isiraeri era n’okuva mu mawanga gonna, okuva mu ndagaano enkadde n’empya, abaali mu kukkiriza okutuukiridde, n’okuwulira baatambulira wamu ne Katonda era n’ekigambo kye.

“So temuliyingira mukyo n’akatono ekintu kyonna ekitali kirongoofu newakubadde akola eky’omuzizo n’obulimba: wabula abo bokka abawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu eky’Omwana gw’endiga.” (Okubikkulirwa 21:27).

Ow’oluganda Branham naye yakola ku somo ey’okugwa kwa Lusifa era soma Isaaya 14:12; Lukka 10:18 ne Ezeekyeri 28:11. nga Malayika w’omusana era ne Kerubi eyafukibwako amafuta, Setaani yalina amayinja mwenda ag’omuwendo mu kyambalo kye (Ezeekyeri 28:13). Yali kumpi nnyo ne Katonda, yali talina ky’anenyezebwa okuva ku lunaku lw’okutondebwa kwe, era yali mu Lusuku Edeni. Awo, naye, ne wajja ekiseera bwe yatandiika okugamba, “Ndi kola! Ndi kola …” bw’atyo bwe yatandiika emputu era n’ayagala okwenkana ne Katonda,ekyavirako okugwa kwe.

Abaafukubwako amafuta ag’obulimba ab’ekiseera ky’enkomerero abali kulaba okwolesebwa era ne balyoka Okubikkulirwa kwabwe, baKristo b’obulimba aba Matayo 24, b’erimba okubeera ne BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA. Beteekako bennyini ebinyumo n’ebirabo mwenda eby’omwoyo; enjigiriza yaabwe era n’ebikolwa, naye, basseekimu n’abalabe ba Kristo era si n’ajigiriza ya Kristo era n’abatume ekkumi n’ababir. Mu kwagala kwabwe bewaddeyo mu mputu ey’ebyomwoyo era nga bakyamiza emmeme nyingi. Nga bwe kitabangawoko okulimbibwa okuteekebwako ebinyumo n’ebyawandiikibwa bingi nga bwe kiri leero. Bonna basoma ebyawandiikibwa mu Baibuli era n’ebetukuza bennyini, wabula tebagerageranya enjigiriza yaabwe era n’ebikolwa n’ebyo eby’abatume.

Mu 2Timoseewo 4 tusoma ku kilagiro ekyaweebwa eri omuddu ow’amazima owa Katonda: “Buuliranga ekigambo; kubirizanga mu bbanga erisaaniramu n’eritasaaniramu; weranga, nenyanga, buuliriranga n’okugumiikiriza kwonna n’okuyigiriza. Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye amatu nga gabasiiwa, balikuggaanya abayigiriza ng’okwegomba kwabwe bo bwe kuli; baliziba amatu okulekanga amazima, balikyama okugobereranga enfumo obufumo. Naye ggwe tamiirukukanga mu byonna, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, tuukirizanga okuweereza kwo.” Katonda Akole Bwatyo. Amiina!