Ebbaluwa Omwezi gw’okuna 2009
Mu biseera bitono ebiyise Eddiini ya Baptist yasomozebwa mu kibina ky’okwegatta kw’enzikkiriza z’ensi yonna okukkiriza okubatiza abaana abato okw’amakkanisa ng’okubatizibwa okubalibwa era nti asobole okuva ku ky’okuddamu okubatizibwa. Sentebe yasigala ng’amugumivu era n’alangirira nti “Ku ffe si kubatizibwa kulala, wabula kubatizibwa kw’ennyini okw’abakkiriza abakoze okusalawo kwabwe ku lwa Kristo.”
Mu biseera by’okuza obuggya, abayitibwa abantu abaayatulanga b’ennyini okukkiriza kwabwe mu Kristo ne balyoka babatizibwa “Anabaptist” baayiganyizibwa, baabonyaabonyezebwa, era ne battibwa. Ekkanisa ya Roma era oluvannyuma amakkanisa g’abaprotestanti ag’amawanga, agali gatandiikiddwawo okuva mu kuza obuggya, nga bawa ekyokulabirako mu Abaefeso 4:5 era ne balangirira nti tewalina kubeera kubatizibwa kwa kubiri kubanga kyawandiikibwa, “Mukama waffe omu, okukkiriza kumu, okubatiza kumu…” Ab’anabaptists, mu ngeri endala, baategeera nti tebayinza kukkiriza enjigiriza ya Sacramento ey’okubatizibwa, ekyokulabirako nti abaana abato bazaalibwa omulundi ogw’okubiri n’okubatonyezako amazzi ku by’ennyi byabwe, kubanga obwo buwangwa bw’akkanisa bwokka era mu ekyo tewali n’omu asembeza obulokozi bwa Katonda obutaggwaawo. N’olwekyo, baaggaana okubatizibwa kw’abaana abato ne batuukiriza okubatizibwa ng’ekigambo bwe kiri mu Makko 16:16: “Akkiriza n’abatizibwa alirokoka …” Baibuli yali yakolebwa nga omuntu yenna asobola okugyetussaako, era nga buli muntu kinomu asobola okusoma ebirimu n’asalawo yennyini oba akkiriza okubatizibwa kwokka okwa Baibuli oba asigalira mu buwangwa bw’ekkanisa obw’okubatiza abaana abato, obugendera ddala emabega mu biseera abantu lwe bawalirizibwanga okukkiriza eddiini ey’obukristayo era nga si kwe kubatiza okw’amazima mu maaso ga Katonda. Mu biseera by’okuzibwa obuggya ebyo, baatandiika okubatiza mu mazzi amangi omulundi gumu nate, era omuntu eyali alina okubatizibwa n’oyo eyali agenda okumubatiza bombi nga bayingira mu mazzi nga bwe baakolanga mu bukristayo obw’asooka: “N’alagira eggaali okuyimirira: ne bakka bombi mu mazzi, Firipo n’omulaawe; n’amubatiza.” (Ebikolwa by’abatume 8:38)
“Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n’ava mu mazzi: laba, eggulu ne limubikkukira, n’alaba omwoyo gwa Katonda ng’akka ng’ejjiba, ng’ajja ku ye; laba, eddoboozi ne liyima mu ggulu, nga ligamba nti Oyo ye mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.” (Matayo 3:16-17).
Kaakano bonna ababatizibwa nate mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, nga bwe baakola mu kkanisa eyasooka, nate omulundi omulala baggaanibwa era ne bayiganyizibwa. Ng’omusango tegunnayita, buli muntu yenna ayinza okusoma yennyini engeri okubatiza nga bwe kw’akolebwanga mu Yerusaalemi (Ebikolwa by’abatume 2), mu Samaliya (Ebikolwa by’abatume 8), mu Kayisaliya (Ebikolwa by’abatume 10, mu Efeso (Ebikolwa by’abatume 19) era ne mu Roma mu (Abaruumi 6). awatali kuggyako kintu kyonna, bonna abatume n’ababuulizi mu butuufu baategeera ekiragiro ekinene era ne babatiza mu linnya lya Mukama Yesu Kristo. Katonda yebikkula yennyini nga kitaafe mu ggulu, mu mwana we ku nsi, era ne mu kkanisa ye okuyita mu mwoyo omutukuvu. Nga ebigambo bya Mukama waffe mu Matayo 28:19, ekiragiro ekikwata ku kubatiza nga kulina okukolebwa mu linnya – si mu bitiibwa. Ekikulu ly’erinnya ry’endagaano “Yahschua- Yesu = Yakuwa Omulokozi” ow’endagaano Empya “Kitange Omutukuvu, obakuumenga mu linnya lyo be wampa babeerenga bumu, nga ffe.” (Yokaana 17:11b). ekyawandiikibwa ekitukuvu tekyogera ku Sacaramento ey’okubatiza oba enjigira yonna ey’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri bwe kuba kukolebwa. Newakubadde si makkanisa gonna n’amaddiini nti g’akkiriza enjigiriza yonna ey’ekkanisa ya Catholiki, bakyasigadde mu buwangwa bwabwe bwe kituuka ku kubatiza. Kaakano, okukomawo kwa Kristo nga tekunnatuka, buli jigiriza era n’ebikolwa mu kkanisa ye birina okuleetebwa mu kusseekimu ne Katonda era n’eKigambo kya Katonda okusobola okulongoosebwa nga bwe kyali mu kusooka.