Ebbaluwa Omwezi gw’okuna 2009
Twali tusuubira ebintu bingi ebinene okubeerawo, wabula tebyateekerwateekerwa ku lw’obutabanguko obungi obuli kukankanya ensi yonna mu kiseera kino. Ebyatandiika ne zi banka by’eyongerera ddala ne by’enfuna byonna era kaakano ensi yonna eri mu butabanguko bwa by’anfuna obutamanyiddwa muwendo. Bu lunaku olukya tuwulira amawulire ag’entiisa, era nga kirabika nti eky’enkomeredde tekinatuukibwako. Embeera enzijukiza ekigambo ekyayogerwa ne Cardinali-Sabalabirizi omuGerman Faulhaber ow’eMunich-Freising (1869-1952): “Ensi bw’eriba etonya musaayi ogw’ebiwundu kakumi era ng’anenimi z’abantu zitabuddwa nga bwe kyali mu Baabulooni, awo ekiseera ky’ekkanisa ya Catholiki kiriba kituuse.” (K.-H. Deschner, Kriminalgeschichate des Christentums).
Mu USA esuubi lyabwe lyonna batadde esira ku mukulembeze we ggwanga omuggya, Barack Hussein Obama, asikidde omugugu omulala ogumweyongeddeko ogw’olutalo mu Iraq. Buli lutalo lulina ebivamu ebitayinza kukolebwa kubeera birungi. Mu kubuuzibwa ku TV emu CNN ekibuuzo ky’abuuzibwa, “Nsobi ki enene eyakolebwa government yonna mu kyasa kya 20th?” Eky’okuddamu kyali, “Okuyingira kw’abalwanyi abaGerman muda mu Soviet union mu mwezi gw’omukaaga 1941.” ekibuuzo eky’okubiri kyali, “Nsobi ki enene ekoleddwa government yonna mu kyasa kino?” Eky’okuddamu kyali, “Okuyingira kw’abalwanyi ba US n’abangereza mu Iraq mu mwezi gw’okusatu 2003.”
Abalwanyi ba US abasuka 4,000 bamaze okuddayo mu USA mu massandduku; kakumi kubo bafunye ebiwundu era baakomawo ewaka nga balema. Abantu mu Iraq abasuka obukadde busatu n’ekitundu kaakano tebalina maka, era tuyinza obutamanya bameka abatiddwa; eggwanga liri mu matongo.
Nga bw’eri ensonga ey’olutalo lwonna, olutalo mu Iraq musango gw’akutyooboola eddembe ery’obuntu. Mu kusooka ky’alabika nti Saddam Hussein yalina okuussiibwa wansi okulokola ensi okuva mu ntiisa ey’olutalo olw’abomu ez’obutwa. Naye, Mr. Hans Blix ne El Barradei bwe bataasanga ekilaga kyonna eky’abomu ez’obutwa oba ebilwanyiso byonna eby’anamuzisa mu Iraq, ky’amanyibwa lunwe nti ekigendererwa ky’ennyini gali mafuta.
Singa eyaliko omukulembeze w’eggwanga lya Amerika (USA), George W. Bush, teyakyuka n’adda mu bu Catholiki, nga Tony Blair bwe yakola, yandibadde amanyi nti alina okuyimirira okuddamu emisango mu Court Y’ensi yonna mu kibuga Den Hague ku lutalo lwa Iraq. Omukulembeze omuggya Barack Obama asobola okukola ebintu byokka ebirungi, kubanga tekisoboka kukola bibi.