Circular Letter

Ebbaluwa Omwezi Gw'okuna 2020

Ewald Frank

library_books Kapitoly: 6 calendar_month 8. 4. 2020

Navigate

Kapitoly

expand_more

Navigate

Kapitoly

Jump to any chapter without leaving the reader.

Obubaka William M. Branham bwe yalangirira buleese abaana ab'amazima aba Katonda eri okukkiriza okwasooka okwa ba kitaabwe abatume.

Mukama Katonda akumye era ng'atunulira Ekigambo kye ekitaggwaawo emirembe gyonna. Kirina okwogerwa mu ddoboozi lya waggulu era mubulambulukufu, singa twamaanya Katonda kyakoze mu nnaku eziyise naye nga tetumanyi kye yasuubiza era kaakano alikukola ng'okukomawo kwa Yesu Kristo te kunnatuuka, kirungi ki ekyo kye kyanditukozeko? Waliwo okuyitibwa kwa Katonda ne mu biseera byaffe; Ow'oluganda Branham yasoobola okuwa obujulizi ku ekyo nate emirundi n'emirundi. Wano waliwo okumu ku kwogerakwe ku ebyo ebyaliwo mu mwezi gw'omukaaga 11, 1933 mu Jeffersonville: "N'akiwulira nga kyogera nate, “tunulira waggulu!” era bwe n'atunulira, wano n'ewajja empagi y'emu ey'omuliro eyakulembera Isiraeri okuyita mu ddungu. Enkkumi n'ekkumi nga bagitunulidde ng'ekka wansi we nali nyimiridde.

Era n'agamba, “Nga Yokaana omubatiza bwe yatumibwa okuteekateeka okujja okwasooka okwa Kristo, obubaka bwo buli butikira ensi era buli teekateeka okujja okw'okubiri okwa Kristo." (Omwezi gw'okuna 12, 1964).

Kino kyennyini kye kyaliwo mu nsi yonna oluvannyuma lw'okufa kw'ow'oluganda Branham; kifuuse mazima ga bwa Katonda.

Mu mwezi gw'omukaaga 12, 1958, Ow'oluganda Branham yagamba mu Dallas, Texas, "Ow'oluganda Frank ogenda kudayo mu Germany n'obubaka buno."

N'ekibaawo Katonda akoze byombi: yawa ekiragiro okuleeta obubaka era naye nnakakasa nti kyabuulirwa ensi yonna. Ebintu byamaanyi ga Katonda byaliwo mu bulamu era ne mu buweereza bwa William M. Branham, si mu mwezi gw'omukaaga 11, 1933 gwokka, bwe yali abatiza abantu mu kubatiza kwe okwasooka, naye ne mu kunggana ze.

Omutume Pawulo yali awa obujulizi nti obutangavu bw'amulabikira bwe yafuna okuyitibwakwe. Batugamba mu Ebikolwa by'abatume 9: "Awo bwe yali ng'atambula ng'anaatera okutuuka e Ddamasiko, amangu ago omusana oguva mu ggulu ne gumwakira okumwetooloola, n'agwa wansi, n'awulira eddoboozi nga limugamba nti Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? N'angamba nti ani ggwe, Mukama wange? Ye n'agamba nti nze Yesu gw'oyiganya ggwe …" (vv. 3-5).

Pawulo n'awa obujulizi mu maaso ga kabaka Agrippa eyali ow'enjawulo ennyo mu bantu:

"Awo bwe nali nga ng'enda e Ddamasiko nga nnina obuyinza n'okulagirwa okwava eri bakabona abakulu, mu ttuntu, kabaka, n'endaba mu kkubo omusana ogwava mu ggulu ogusinga okwaka okw'enjuba ne gumasamasa ne gunneetooloola n'abali batambula nange ne tugwa fenna wansi n'empulira eddoboozi nga lyogera nange mu lulimi olwebbulaniya nti Sawulo, Sawulo onjigganyiza ki? Kye kizibu ggwe okusamba ku miwunda. Nze n'engamba nti ggwe ani, Mukama wange? Mukama waffe n'angamba nti Nze Yesu, gw'oyiganya ggwe. Naye golokoka, oyimirire ku bigere byo: kyevudde kulabikira, nkulonde obeerenga omuweereza era omujulirwa we byo mw'ondabidde era ow'ebyo mwe nnaakulabikiranga …" (Ebikolwa by'abatume 26:12-16).

Mu dagaano enkadde edda, amaanyi g'okubeerawo kwa Katonda galabisibwa mu lulimi olw'omuliro okuva wakati w'ekisaka Musa bwe yawulira okuyitibwakwe. Musa yalina okuggyamu engato ze mu bigere bye kubanga yali ayimiridde mu nsi entukuvu. Awo yali yalagirwa ne Katonda yennyini (Okuva 3).

Mu ndagaano enkadde, Mukama Katonda yalabisibwa yennyini mu butangavu bw'enpagi y'ekire era n'empagi ey'omuliro.

Mu kuva 13 tusoma: "Mukama n'agenda mu maaso gaabwe emisana mu mpagi y'ekire okubakulembera mu kkubo; era ekiro mu mpagi ey'omuliro, okubaakira: balyoke batambule emisana n'ekiro …" (v. 21). Ekyo si kya byewunyo? Mukama Katonda teyajja bantu be okuva mu busibe bwokka, okuva mu Misiri naye yagenda maaso g'abo abayitibwa abantu abanunulwa, abo be yakola nabo endagaano. Yabakulembera n'abalunggamya era n'abalaga ekubo emisana n'ekiro. Mu biseera by'olugendo lwabwe olw'emyaka amakumi ana yali n'abantu be – mu maanyi g'empagi y'ekire emisana era n'emumaanyi g'empagi y'omuliro ekiro. "Empagi ey'ekire emisana n'empagi ey'omuliro ekiro tezaggwaawo mu maaso g'abantu." (v. 22).

Kino nate kilagibwa mu Zabbuli 78, olunyiriri 14: "Era emisana yabakulemberanga n'ekire, n'ekiro kyonna n'omumuli ogw'omuliro."

Mu Kuva 40 tusoma: "Bw'atyo Musa n'amala omulimu. Ekire ne kiryoka kibikka ku weema ey'okusisinkanirangamu, n'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza ennyumba. … Kubanga ekire kya Mukama kyabeeranga ku weema emisana, n'ekiro …" (vv. 33b-34+38).

Ebintu byonna Mukama bye yali yalagira Musa bwe byaggwaawo, amaanyi g'ekitiibwa kya Katonda gajja mu kifo ekisinga obutukuvu esadduku ry'endagaano we lyali era n'ajulira okubaawo kwa Katonda mu bantu be.

Amaanyi g'ekire kya Katonda g'akka wansi ku lusozi olw'okufuusibwa, "… Eddoboozi n'elifuluma mu kire nti ono ye mwana wange omwagalwa: mumuwulire." (Makko 9:7; Matayo 17:5). Mu Isaaya 4:5 tusoma ebiribaawo Mukama bw'alimaliriza omulimu ggwe ku lusozi Sayuuni: Awo amaanyi g'ekire kya Katonda galikka wansi nate, era n'ekifo kya Katonda kirirabika n'amaaso: "Era Mukama alitondera ku buli nnyumba ey'olusozi Sayuuni ekire n'omukka emisana, n'okumasamasa okw'omuliro ogwaka ekiro: kubanga waggulu ku kitiibwa kyonna kulibaako ekiritimbiwako." Aba bumu jjo ne leero n'okutuusa emirembe n'emirembe.

Available translations