Circular Letter

Ebbaluwa Omwezi Gw'okuna 2020

Ewald Frank

library_books Kapitoly: 6 calendar_month 8. 4. 2020

Navigate

Kapitoly

expand_more

Navigate

Kapitoly

Jump to any chapter without leaving the reader.

Kapitola 6

Obubonero bw’ekiseera

6 / 6

Hevenu Shalom Alechem

Tuli kulaba obunnabbi bwa Baibuli nga butuukirira. Ekyuka kyuka y'obudde. Kyayogerwa era kino kikwatira ddala ku bantu ba Isiraeri era n'okukomawo kwabwe mu nsi ensuubize.

Ka tutunulire ekalakalira Katonda kye yalangirira okuyita mu Nnabbi Isaaya esula 30, olunyiriri 26:

"Era omusana gw'omwezi guliba ng'omusana gw'enjuba, n'omusana gw'enjuba gulyeyongera emirundi musanvu ng'omusana gw'ennaku omusanvu, ku lunaku Mukama lwali sibirako ekinuubule eky'abantu be n'awonya ekiwundu eky'okufumitibwa kwabwe."

Okukyuka kyuka okw'embeera ey'obudde n'okubuguma kw'ensi kuva ku maanyi g'enjuba okuba ekizuukusa mu tulo abantu bonna? Musisi n'embeera y'obudde endala yonna nga bibaawo wano n'awali, naye enkyuka kyuka y'embeera y'obudde ya nsi yonna.

"Okwo kwe kuteesa okwateesebwa ku nsi yonna: era ogwo gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna, kubanga Mukama ow'ejje ye yateesa, era ani alikijulula? N'omukono gwe gugoloddwa, era ani aliguzzaayo?" (Isaaya 14:26-27).

Abantu bategedde nti enkyuka kyuka ey'embeera y'obudde era n'okubuguma kw'ensi kweyongedde okugenda mu maaso era beyongera okunoonya ebisoobola okuyamba. Eby'obulimi ebituuwa emmere, mazima ddala nabyo bikoseddwa. Kino kigenda kileeta enjala mu nsi yonna. Ng'oggyeko ebiragibwa n'entegeka zonna okukendeza emirimu gya CO2, obunnabbi obwawandiikibwa mu byawandiikibwa ebitukuvu obwe kiseera kino bugenda kutuukirira.

Ebyawandiikibwa mu Baibuli mu bulambulukufu bilaga nti okweyongera okw'emirundi omusanvu mu maanyi g'enjuba kyegatira ddala n'okulongoosa okw'obukosefu obukoleddwa ku Isiraeri.

Omudumizi omukulu ow'amajje g'abaruumi yasanyawo Yeekaalu era n'amenyamenya Yerusaalemi mu AD 70, era abayudaaya ne babuna ensi yonna. Mu kiseera kya Constantine, ng'ekkanisa ey'abaruumi eyeggwanga bwe yatondebwawo wansi wa Athanasius, abayudaaya bali te bakkirizibwa okukuma Sabbiiti mu AD 321, era n'amasinzizo ne gafulibwa ebiyumba by'ente. Mu kiseera ekyo, abakristayo n'abali batagala bayudaaya ne butandika, okw'eyongera n'okutuusa leero.

Okusingira ddala mu biseera by'abattanga abantu ekiridi nga kiragirwa ne ba Papa, abayudaaya bafuna okubonaabona okunene. Ekiragiro ky'okuyita kyali: "okuwalana omusaayi gwabo abakomererwa ku omu kubo!" okutta abantu ekiridde kw'ali okuva 1069-1099 era ne kuleeka abantu abasuka 7,000, abayudaaya era n'abantu abalala nga batiddwa. Ekisembayo kyaliwo okuva 1248-1254. omuwendo gw'abantu bonna abattibwa te gumanyiddwa bulungi, oba kakumi oba nkkumi oba akakadde kamu. Mu kutta ekiriddi abayudaaya mu bulaya, bali bantu bukadde mukaaga obw'akosebwa.

Leka tukyogere nate omulundi omulala okweyongera emirundi omusanvu okw'amaanyi g'enjuba okwayogerwako ku kwatagana ku kukomawo kw'abaana ba Isiraeri mu nsi ensuubize. Okuva mu mwezi gw'okutaano 14, 1948, waliwo nate Eggwanga lya Isiraeri, era n'amaanyi agatereddwawo okuleeta emirembe mu makati g'ebuvanjuba gali mu bumalirivu bwonna. Ebiwundu ebyatuusibwa ku bantu ba Isiraeri biri mu lugendo lw'okuwonyezebwa.

Bonna abakulembeze b'amawanga balina okuwa ekitiibwa ebyo byokka ebyawandiikibwa ebituufu, eky'okulabirako Baibuli/the Torah. Ebitabo ebitaano ebya Musa mu lulimi oluebbulaniya. Mu byawandiikibwa bino ekintu ekikulu ennyo mu Yerusaalemi n'olusozi lwa Yeekaalu.

Okusinzira ku Lubereberye 22, Ibulayimu yali yalagirwa emyaka nga 4000 egiyise okuwayo omwana we Isaaka ng'ekiweebwayo ku lusozi Moliya, oluvannyuma n'elufuuka olusozi lwa Yeekaalu: "N'ayogera nti twala kaakano omwana wo omu, gw'oyagala, ogende mu nsi Moliya; omuweereyo okuba ekiweebwayo eky'okebwa ku lumu ku lusozi lw'endikugambako." (v. 2).

Okusinzira ku 1Ebyomumirembe 21:18-25, Dawudi yaleeta egguuliro lya Olunaani omuyebusi: "Awo malayika wa Mukama n'alagira Gaadi okugamba Dawudi, Dawudi ayambuke, azimbire ekyoto eri Mukama mu gguuliro lya olunaani omuyebusi. … awo Dawudi n'awa olunaani okugula ekibanja sekere eza zzabu ezipimibwa lukaaga." Ekyo kye kyandibadde omuwendo ogw'ensimbi kaakano oguli mu 660,000 U.S. Dollars.

Okusinzira ku 2 Ebyomumirembe 3, Sulemaani yazimba Yeekaalu ku lusozi Moliya – olusozi lwa Yeekaalu: "Awo Sulemaani n'atanula okuzimba ennyumba eyamukama eyerusaalemi ku lusozi Moliya Mukama kwe yalabikira Dawudi kitaawe, gye yateekateeka mu kifo Dawudi kye yalagira mu gguuliro olunaani omuyebusi." Njagala gwe ow'ekitiibwa Katonda Elohim era n'ekigambo kye, Baibuli ne Torah.

Tulina abajulizi bassatu abalondebwa ne Katonda, ekyokulabirako Ibulayimu, Dawudi ne Sulemaani, ab'ogerwako ku bikwata ku Yerusaalemi era n'olusozi lwa Yeekaalu. Ebyawandiikibwa ebyo ebissatu bijulira nti tewali muntu mulala yenna alina obuyinza okugamba nti ye nannyini Yerusaalemi era n'olusozi lwa Yeekaalu.

Leka tutunulire ku byawandiikibwa bitono ebyogera ku kukomawo kw'abantu ba Isiraeri. Amazima tegayinza kuganibwa n'omuntu yenna.

"Kubanga Mukama alisasira Yakobo, era, bw'alimala, n'alonda Isiraeri, n'abateeka mu nsi yabwe: n'omugenyi alyegatta nabo, era balyetaba n'ennyumba ya Yakobo." (Isaaya 14:1).

"… komawo, ayi omuwala wa Isiraeri, komawo mu bibuga byo bino." (Yeremiya 31:21b).

"Era Mukama alisikira Yuda, okuba omugabo gwe mu nsi entukuvu, era alyeroboza nate Yerusaalemi." (Zekkaliya 2:12).

"Mazima Mukama Katonda taliiko kyakola wabula ng'abikkulidde abaddu be bannabbi ekyama kye." (Amosi 3:7).

"N'ensi eyaleekebwangawo eririmibwa, naye yabanga nsiko mu maaso ng'abo bonna abayitawo. Kale balyogera nti ensi eno eyaleekebwangawo efuuseng'olusuku eddeni; ng'ebibuga ebyazika ebyaleekebwawo bikoleddwako enkomera, abantu ne babituulamu." (Ezeekyeri 36:34-35). Ebyawandiikibwa bino byonna bituukiriziddwa mu maaso gaffe.

Mu nnabbi Ezeekyeri, esula 47, Yeekaalu empya eyazimbibwa eyogerwako mu bujuvu. Mu sula 48, ebika 12 ebya Isiraeri bilagibwa nate mu matwale gabwe nga bwe bali mu biseera bya Yoswa, nga Katonda bwe yabateekerawo.

Omusango gulangiriddwa ku abo abayawula Isiraeri: "Kale ndiyima eyo n'empolereza abantu bange n'obusika bwange Isiraeri bebasaasaanyirizza mu mawanga ne bagabana ensi yange." (Yoweeri 3:2b).

"Awo olulituuka ku lunaku luli ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna; bonna abalyebinika balifumitibwa nnyo ebiwundu; era amawanga gonna ag'ensi galikuggaana okukilwanisa." (Zekkaliya 12:3).

Tewali muntu yenna ayinza kuziyiza ekyayogerwa mu obunnabbi bwa Baibuli eri ebiro by'ekiseera kino.

"Era walibaawo n'obubonero ku njuba ne ku mwezi ne kummunyeenye; ne ku nsi amawanga galinakuwala, nga basamaalirira olw'okuwuma kw'ennyanja n'amayengo…" (Luka 21:25).

Buli kintu ekyayogerwa mu bunnabbi bw'ebiro by'enkomerero ku Isiraeri kaakano kiri kutuukirira. Ekyuka kyuka ey'obudde n'okubuguma kw'ensi kilaga ddala kino ng'obubonero obw'ebiseera.

Nnabbi Isaaya kye yayogera kisigala nga ky'amazima, era mu butuufu tusoobola okwogera nti: Ekyawandiikibwa kino kituukiriziddwa mu maaso gaffe. Katonda wa Isiraeri alongoosa ebintu byonna eri abantu be era n'awonya ebiwundu ebyabateekebwako (Isaaya 30:26).

"Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba; n'amatu gammwe, kubanga gawulira." (Matayo 13:16).

"Awo Mukama aliwuluguma ng'ayima esayuuni, alileeta eddoboozi lye ng'ayima eyerusaalemi; n'eggulu n'ensi birikankana: naye Mukama aliba budukiro eri abantu be era ekigo eri abaana ba Isiraeri. Bwe mutyo mulimanya nga nze ndi Mukama Katonda wammwe, abeera ku Sayuuni olusozi lwange olutukuvu: kale yerusaalemi kiriba kitukuvu, so tewaliba banaggwanga abalikiyitamu nate." (Yoweeri 3:16-17).

"Ku lunaku luli Mukama alizimbira abali mu Yerusaalemi; aliba omunafu ku bo ku lunaku luli alibeera nga Dawudi; era ennyumba ya Dawudi eriba nga Katonda, nga malayika wa Mukama ali mu maaso gaabwe." (Zekkaliya 12:8).

Amawanga gonna ku nkomerero galitegeera kino.

Hevenu Shalom Aleichem

Available translations