Circular Letter
Ebbaluwa Omwezi Gw'okuna 2020
Ewald Frank
Navigate
Kapitel
expand_more
Navigate
Kapitel
Navigate
Kapitel
Jump to any chapter without leaving the reader.
Kapitel 5
Okwagaliza ebirungi eri engendo ez'obuweereza
5 / 6
Mu myaka kkumi egiyise, n'ateeka ddala esabbiiti eza buli mwezi biri kumabali nga z'agendo za buweereza, bulijo mu ngeri bw'etyo nti soobole okubeera mu Zurich ku lw'obuweereza ku lunaku olw'olubereberye mu nnaku omusanvu era ne mu Krefeld ku gandalo erisooka obuwanvu bw'olugendo n'atambula obuwanvu bw'obukadde 15 mu bbanga. Bw'entyo n'esoobola okubuulira mu bibuga bingi mu mawanga 165 mu nsi yonna.
Kaakano mpezeza emyaka 86 newakubadde ndi mu bulamu bulungi obukadde butataganye okutambula kwange, okulaba, era n'okuwulira, n'olwekyo engendo empavu kaakano tezikyasooboka. Naye okuyita ku mitimbagano buterevu, abakkiriza bonna mu mawanga gonna basoobola okuwuliriza okubuulira mu nnimiez'enjawulo era ne balaba enkunggana zaffe mu ngeri bw'eti, Okulabirira eby'omwoyo mu nsi yonna efuuse esoboka, nga abakkiriza bangi mu nsi yonna mu kusima bakakasa.
Soobola okwogera: Mukama, kaakano leeka omuweereza wo awumule mirembe kubanga obuweereza obusembayo bulangiriddwa mu nsi yonna. Amaaso gange galabye okutuukirira okw'ebisuubizo eby'ebiro bino. Abakkiriza bonna ab'amazima bagenda kubeera n'obumanyirivu bw'ebintu byonna Katonda by'agenda okukola, okutuusa ku nkomerero. Yakisuubiza era, bwekityo alikituukiriza.
Okusingira ddala abo abatwegaseko mu myaka emitono egiyise okuva mu nsi yonna, njagala olabe mu bumpi ebyo ebikwata ku bulamu bwange:
Mbadde mbuulira mu Makkanisa ag'eddembe ag'abapentakoti okuva mu 1952. bwe n'asooka okusisinkana ow'oluganda Branham mu kifo ekiyingirwamu eky'ewuteli mu mwezi gw'omukaaga 15, 1955, Nnabbi y'angamba, "Oli muweereza ow'obubaka," era n'asoga ku mukono gwa kkono n'agamba, "Mukazi wo ayimiridde awo mu kifo ekiyingirwamu." awo ne tukwatagana emikono ne twogerezeganya akaseera katono. Okuva mu 1958 n'okweyongerayo n'akyusa okubuulira kw'ow'oluganda Branham mu lulimi olu Germany.
Mu mwezi gw'okuna 2, 1962, Mukama yennyini y'andagira ne ddoboozi lye okubuulira enjiri mu bibuga ebirala.
N'olwekyo n'alina okwogerezeganya kuwanvu n'ow'oluganda Branham mu mwezi gw'ekkumi n'ebiri 3, 1962, mwe yakakasa ekiragiro ekyapebwa n'okubikkulirwa mu bajulizi babiri. Mu butuufu oluvannyuma lwa kyo y'agamba okubuulira mu kifo kye mu Los Angeles ku lwa Demos Shakarian era ne ku lwa Earnest Hotton mu Oakland, Oregon. Era ye yongera n'angamba okukyalira Henry Martin mu Edimonton, Canada, singa kisooboka, embuulira ze eza teekebwa ku ntambi nazo zali zizanyibwa nga ziwulirwa. Era n'alyoka ampereza amaanya era n'enamba ez'amasimu ez'ab'oluganda. Ku nkomerero y'okwogerezeganya kwaffe, n'angamba nti, "Ow'oluganda Frank, bw'ogenda ku lugendo olw'okubuulira mu India, kuba esimu ery'ow'oluganda Paul Lawrie. Yali mu nkunggana mu Bombay, Mubuulizi w'enjiri n'ajja mu USA era n'abatizibwa era n'abatizibwa wano mu weema mu linnya lya Yesu Kristo."
Mu 1964, nasooka okukola olugendo lwange olw'obuweereza okugenda mu buyindi, awo n'alaba abantu enkkumi nga b'ajja mu nkunggana era abakkiriza nga 300 ne babatizibwa oluvanyuma lw'okubuulira. Ku lugendo nga nkomawo, n'akyalira Yoludani ne Isiraeri.
N'okufa kw'ow'oluganda Branham mu mwezi gw'ekkumi n'ebiri 1965, ebiro by'ekiseera eky'omugaso byatuuka ku nkomerero yabyo.
Ensula empya n'etandiika, era ne n'angirira obubaka obw'ekigambo nga Katonda bwe yalagira mu nsi yonna, okusooka mu Germany, Austria, era ne Switzerland era ne bulaya yonna n'oluvannyuma mu nsi yonna. Mu kugata ku mbuulira mu nkunggana ez'okusinza n'akozesa buli kakisa konna okulangirira Ekigambo ekyabikkulwa okuyita ku Radio ne mikutu gya Tv, okuyita mu baluwa era n'ebitabo.
Ku mazika ga Nnabbi mu mwezi gw'okuna 11, 1966, n'akyaza Ow'oluganda Pearry Green okujja okuwa obujulizi ku ekyo amaaso ge kye galabye Mu buweereza obw'ow'oluganda Branham era ne kyabadde alaba mu nkunggana. Eky'omukisa omubi yatubuulira amawulire gokka okuva mu bulamu bwa nnabbi. Mu kubuulira kwe okw'asooka mu Krefeld, n'agamba, mu ssanyu, "Mu kwolesebwa, nnabbi yalaba calenda eyebikkula yennyini era negalwawo mu mwaka 1977." Kyalangirirwa nti mu 1977 buli kintu kyalina okuba nga kiwedde era okutwalibwa mu ggulu kwali kulina okubaawo. Nali muvunuzi we era n'engyogera ebigambo mu kitabo kyange ekyasooka mu 1966. Oluvannyuma n'akinonyerezako n'ensanga nti nnabbi Branham teyayogerako ku Calenda.
Omwaka 1977 bwe gw'ajja ne gugenda enjigiriza empya n'egunjibwawo nti okuzuukira kulina okubeerawo mu kiseera ky'amusisi ekinene ku lubalama lw'enyanja olw'ebugwanjuba bwa USA, era nnabbi n'alyoka amaliriza obuweereza mu Weema. Omu ddala tayinza kw'eteekako enjigiriza yonna ey'obulimba – oba oyononye ebiseera.
Awatali kugenda mu bingi eby'ebuziba ebikwata ku nsonga y'esomo ebyayogerwa n'omubuulizi okuva mu USA, kino kirina nate okwogerwa: si n'omu kubo eyali ayinza okwogera nti yaweebwa ekiragiro. Tewali n'omu eyabuulira Ekigambo; bonna kubo b'ayogera ensonga zaabwe ezali zitegekeddwa, era bali bakwatibwako ebigambo byokka bye yayogeranga: "Nnabbi yagamba, …"
Ngamba bino olw'ekitiibwa kya Katonda: sivangako n'olumu ku Kigambo era n'ezikkiriza okuvunuula. Ekyo kyaleetera ab'oluganda okunwanyisa kubanga bo bateeka ebigambo ebyayogerwa nnabbi waggulu okusinga Ekigambo era tebakkiriza Ekigambo ekyawandiikibwa ng'obuyinza obw'enkomeredde.
N'egulyoka gutuuka omwaka 1979, omulabe bwe yasiga okubuusabuusa ku kilagiro okusoobola okukola ndabike ng'atasanidde era b'asanyewo ekkanisa. Nali ku kituti, mu kiseera ekyo, katono nnyo ng'olukunggana luli kumpi kukomenkerezebwa, omukazi yayooganira waggulu, "Buli kintu wano ky'abunanfusi! Fuluma, leeka ekizimbe kino era tokomawo, kubanga buli kintu wano kiwedde emirembe n'emirembe!" buli muntu akkiriza ekyo eddoboozi ly'omukazi kye yayogera akaseera akayise teyayingira ekizimbe nate n'okutuusa olunaku luno. Abo abakkiriza eddoboozi lya Katonda kye lya yogera mu mwezi gw'okuna 2, 1962, era Ow'oluganda Branham n'akikakasa mu mwezi gw'ekkumi n'ebiri 3, 1962, mu maaso g'abajulizi b'abiri, b'atambula okuva mu nsi yonna n'ebajja mu kizimbe. Era abantu bangi enkkumi batwegatako ku mikutu gy'emitimbagano ne bawulira Ekigambo ekilongoofu ekye kiseera kino. Mukama yakuma Ekigambo kye era n'atakkiriza mulabe okusanyawo omulimu gwe.
Ekitundu eky'okubiri ekye kilagiro ekya Katonda ekyaweebwa mu mwezi gw'omukaaga 11, 1933, eky'okulabirako nti obubaka buli tw'alibwa mu nsi yonna kitukkiriziddwa mu maaso gaffe. Mu Matayo 24:14 Mukama waffe yennyini n'agamba, "N'enjiri eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna awo enkomerero n'eryoka ejja."
Ow'oluganda Branham yali yalagirwa mu mwezi g'wokusatu 1962 okutereka emmere, nga bwe yakyogerako mu mwezi gw'okuna 1. bwe yayogera ku bikwata ku kabonero ak'omusanvu, yakyuka eri ow'oluganda Neville oluvannyuma lwe dakika 10 n'agamba, "Kaakano emmere eterekeddwa." ku lunaku olubereberye mu nnaku musanvu, omwezi gw'omwenda 19, 1976, Mukama n'ayogera nage n'eddoboozi edene: "Omuddu wange, n'akuteekawo nga Matayo 24, olunyiri 45 okutuuka 47, okubawanga emmere yabwe mu kiseera kyayo." Kiyisiza eri bonna ab'oluganda abaweereza era n'abantu ba Katonda. Bonna abalonde bakkiriza buli Kigambo kya Katonda era ne bawa ekitiibwa okusalawokwe. Embaga ku mezza eyateekebwateekebwa eya Mukama.
Nange ndi muntu buntu nga Eriya, Pawulo, oba 'ow'oluganda Branham, naye n'akyo kifuufu nti nkoze omulimu gw'ennyini Mukama gwe yampa. Tewali kyetagisa okuddamu ebiragiro n'obumanyirivu bw'amanyi ga Katonda ago Mukama kyampadde emyaka gyonna. N'ayogera bino mu bbaluwa nyingi. Buli bumanyirivu bw'amaanyi ga Katonda butuufu; Katonda ye mujulizi wange. Nga Pawulo n'ow'oluganda Branham, soobola okwogera ekiseera era n'ekifo buli kintu we kyakolebwa.
Ku lw'ekisa kya Katonda, soobola okuwa obujulizi nga Pawulo nti n'ayitibwa "Pawulo omuddu wa Yesu eyayitibwa okuba omutume, eyayawulirwa enjiri ya Katonda gye yasuubiriza edda mu bannabbi be mu byawandiikibwa ebitukuvu." (Abaruumi 1:1-2) era ku lw'ekyo nkoze omulimu Katonda gwe yandagira. Nga Abafiripi 1:6 Mukama yennyini alituukiriza omulimu gwe: "Nga ntegeeredde ddala kino ng'oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe aligutuukiriza olkutuusa ku lunaku lwa Yesu Kristo."
"N'addamu n'agamba nti kino kye Kigambo kya Mukama eri Zerubbabere nga kyogera nti si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa mwoyo gwange, bwayogera Mukama ow'ejje." (Zekkaliya 4:6).
In His Service,
Ewald Frank
Available translations
PDF
EPUB