Circular Letter
Ebbaluwa Omwezi Gw'okuna 2020
Ewald Frank
Navigate
Kapitoly
expand_more
Navigate
Kapitoly
Navigate
Kapitoly
Jump to any chapter without leaving the reader.
Kapitola 4
Okutegera olunaku era n'obubaka!
4 / 6
Mukama waffe akumye Ekigambo kye era akoze ebyo bye yateekateeka okubeera mu kiseera kino. Era n'ebisuubizo bino awatali kubuusabuusa bitukiriziddwa: "Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw'entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka …" (Malaki 4:5). Kaakano tukyali mu lunaku lw'obulokozi (2Abakkolinso 6:2), Mu kiseera kye kisa. Mukama waffe yennyini yagamba eri abayigirizwa be ku lusozi lw'okufuusibwa, "N'agamba nti Eriya y'asooka okujja, n'alongoosa byonna …" (Makko 9:12). okuyitibwa okusembayo kugenda mu maaso era buli muntu yenna owa Katonda agya kuwulira Ekigambo kya Katonda ekitukuvu era n'akkiriza amazima g'akyo.
Eky'embi, kirina okwogerwa nti newakubadde ebifo eby'amaanyi ga Katonda byali n'abantu ba Isiraeri, era ne bangi ku bo ne bakyama mu mitima gyabwe, so Katonda yalina okulayira: "Nga bwe nnalayirira mu busungu bwange, nti tebaliyingira mu kiwummulo kyange." (Abaebbulaniya 3:11; Okubala 14:23). Baasinza ebifaananyi era ne bemulugunya.
Mu 1 Abakkolinso 10, okuva ku lunyiriri 1-4 Pawulo yalaga ebintu ebikulu Katonda byakoze mu makati gaabwe. Olunyiriri 5-10 lulaga ekyo abayisiraeri kye basobya n'engeri Katonda gye yabakangavulamu ku ekyo. N'ewalyoka wajja okulabula: "Naye ebyo bya babaako abo okubeeranga ebyokulabirako; era ebyawandiikibwa olw'okutulabulanga ffe abatuukiddwako enkomerero ez'emirembe." (1 Abakkolinso 10:11).
Mu biseera byaffe bw'ekityo bwe kiri teri kye kigasa eri omuntu yenna okulaga ekyo Katonda kye yakola mu buweereza bw'ow'oluganda William M. Branham, singa omuntu yenna bw'ansinza ebifaananyi n'omuntu we ng'alangirira eddoboozi lye okuba "Eddoboozi lya Katonda" era n'okusasanya ebintu ebijweteke. Te kiloggyeka enjigiriza meka e'zobulimba ezitambula wansi w'okwefaananyiza ku nnabbi n'obubaka. Abamu bagamba nti nnabbi yabikkula ebintu ebitawandiikibwa mu Baibuli ekyokulabirako ku bikwata ku bibwatuka omusanvu.
Enjigiriza endala etali yamubyawandiikibwa egamba nti okuzuukira okwabafu kulisooka ne kubaawo nnabbi n'alyoka agenda mu maaso n'obuweereza bwe obw'enjawulo nga "Okusikibwa okw'okusatu" mu weema okumala ennaku 30 okutuuka ku nnaku 40, era oluvannyuma wokka okutwalibwa mu ggulu n'ekulyoka kubaawo. Okusinzira ku baggalatiya 1:8, waliwo ekikolimo ku bantu bwe batyo kubanga babuulira enjiri endala (Okubikkulirwa 22:18-19). Nnabbi yennyini yaddinggaana n'agamba, "tokkiriza kintu kyonna okuggyako nga kiwandiikiddwa mu Kigambo kya Katonda!"
Ow'oluganda Branham yagamba ebiseera bingi, "Obubaka buzeyo eri Ekigambo, buzeyo nga bwe bwali mu kusooka, buzeyo ku Lubereberye, obumanyirivu abakkiriza bwe baalina ku Lubereberye!" Ebyama byonna ebyali bya kwekebwa mu Kigambo kya Katonda bya bikkulwa. Tukkiriza ekyo, tewali, ekyenkomeredde tewali kiyinza kugatibwa ku Kigambo (Okubikkulirwa 22).
Tewali bulimba obuva mu mazima (1Yokaana 2:21), era buli w'amazima awulira era akkiriza Ekigambo kya Katonda kyokka. Awatali kubuusabuusa nti Katonda omutukuvu tayinza kuteeka kabonero ke ku bulamu obw'ekibi. "Obatuukuze mu mazima: Ekigambo kyo ge mazima." (Yokaana 17:17). Omutume Yokaana yawandiikira abo abategera amazima: "Olw'amazima agabeera mu ffe era aganaabeeranga naffe emirembe n'emirembe." (2 Yokaana 2). Amiina!
Bonna abakkiriza ebigambo by'abantu n'abalimba balibeera wabweru. "So temuliyingira n'akatono ekintu kyonna ekitali kilongoofu newakubadde akola eky'omuzizo n'obulimba wabula abo bokka abawandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu eky'omwana gw’endiga." (Okubikkulirwa 21:27).
Katonda abagabirire ekisa so buli muntu yenna ategere nti tutuuse mu biro by'ekiseera ekisembayo, ebintu byennyini ebyasalirwawo era n'ebyatusuubizibwa mu Kigambo kya Katonda bigenda mu maaso mu kiseera kino. (Ebikolwa bya'abatume 13:41). waleme kubeerawo omuntu yenna ku ffe alina omutima omujeemu. Mukama waffe kye yayogera ku yerusaalemi kikyali ky'amazima n'okutuusa leero: "N'agamba nti singa mumanyi ku lunaku luno, ggwe, ebigambo eby'emirembe, Naye kaakano bikwekweddwa amaaso go!" (Luka 19:42).
Ayita ababe: "Naye ebigambo ebyo bwe bitanulanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka." (Luka 21:28).
Lekka tugambe kino nate: abo bokka abalongoofu mu mutima be baliraba Katonda. Abo bokka abaliba beteeseteese be baliyitibwa ku mbaga ey'obugole. Abo bokka abalina obumanyirivu obw'obununuzi bwonna n'okutabagana era n'okusonyiyibwa era n'okuzibwa obuggya kwonna, abo bokka abalina obumanyirivu okujjuzibwa n'okuteekebwako akabonero ak'omwoyo omutukuvu be balituuka ku ntiiko yakyo.
Mu kumaliriza okw'okulagibwa kuno, buli muntu yenna nate ajukkire Mukama waffe kye yateekako esira mu Matayo 17:11. "Eriya ajja ddala, alirongoosa byonna." (Makko 9:12). Oluvannyuma lw'obuweereza bwa Yokaana omubatiza, Mukama waffe yaddiggaana ekyawandiikibwa mu kitundu eky'okubiri eky'ekisuubizo ekisembayo mu Malaki 4:6 nti okuyita mu buweereza bwa Eriya, emitima gy'abaana ba Katonda nate ziri kyusibwa eri emitima gy'abakitaabwe abatume.
Leero tusoobola okujulira: Ebyawandiikibwa bituukiriziddwa; Mukama waffe kye yayogera kituukiridde. Buli njigiriza eya Baibuli erongooseddwa, okusookera ddala obulamba bwa Katonda, eky'okulabirako nti Katonda tali mu bantu bassatu abataggwaawo, naye nti yebikkula yennyini nga kitaafe mu Mwana era n'okuyita mu mwoyo omutukuvu mu kkanisa. Mu kugenda mu maaso okubatizibwa okw'amazi okwa Baibuli mu Linnya lya Mukama Yesu Kristo okw'abo abafuuse abakkiriza (Ebikolwa eby'atume 2:38:41) kwa rongoosebwa. Obubaka obusembayo bw'ateeka ebintu byonna ku musingi ogw'asooka ogw'abatume ne bannabbi, Yesu Kristo yennyini nga ly'ejjinja ekulu ery'okusonda.
Mukama waffe akoze ebintu ebikulu, era kaakano tuli kumpi nnyo okutuuka ku kumaliriza kw'ekyo ekiribaawo ng'okukomawo kwa Kristo tekunnabawo. Twebaza Katonda ku lw'ekyo mu Yesu, Erinnya etukuvu. Amiina.
Available translations
PDF
EPUB