Circular Letter
Ebbaluwa - Omwezi gw'ekkumi n'ebiri 2012
Ewald Frank
Navigate
Chapters
expand_more
Navigate
Chapters
Navigate
Chapters
Jump to any chapter without leaving the reader.
Chapter 3
Akabonero kokulabirako
3 / 9
“Ku kino abaana ba Katonda n'abaana ba Setaani kwe balabikira: buli muntu yenna atakola butuukirivu si wa Katonda, newakubadde atayagala muganda we. Kubanga kino kye kigambo kye mwawulira okuva ku Lubereberye ffe okwagalananga.” (1Yokaana 3:10-11). Ekigambo kino mu bulambulukufu kyogera nti abaana ba Katonda n'abaana ba Setaani (Matayo 13:38) bategeerekeka, ekyokulabirako mu butongole okwagalanaga ab'oluganda. Naffe twawulira obubaka obwasooka, obwaliwo okuva ku Lubereberye. Ekigambo kituteekawa? Mu biseera by'obulamu bwe ku nsi, omubaka nate yakyusibwa okugenda mu Lusuku lwa Katonda, era bwe yali eyo yawulira ebigambo byonna: “Okwagala kwokka okutuukiridde kwe kuli yingirayo!”
Kituufu, kyabumalirivu nnyo: “Buli muntu yenna akyawa muganda we ye mussi; era mumanyi nga tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo nga bubeera mu ye.” (1Yokaana 3:9-15). “Buli muntu yenna akyawa muganda we …” kitwalibwa okuba nga kyenkanakana n'omussi; kino kigendeera ddala emabega eri Kayini (Olubereberye 4). Obukyayi y'engeri endala etali kwagala; obukyayi tebukkiriza; okwagala kukkiriza. Kituufu, Mukama yaogerera ddala nga bwe kyali kyetagisa: “Omuntu bw'ayogera nti Njagala Katonda, n'akyawa muganda we, mulimba; kubanga atayagala muganda we gwe yali alabyeko, Katonda gw'atalabangako tayinza ku mwagala.” (1Yokaana 4:20). Omulonde atwala ebigambo bwe bityo mu mutima gwe, era n'ebekebejja bennyini. Abalala bonna tekibakwatako. Bajja kweyongera okwagala mu ngeri nga Kayini. (Iyokaana 3:12). Kayini ne Abiri baali mu lubuto lumu – nga bwe kyali ku Esawu ne Yakobo: omu ya kkirizibwa omulala n'atakkirizibwa. Mu kutwalibwa mu ggulu, babiri baliba ku kitanda; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. (Lukka 17:34).
N'ekyokulabirako kya Esawu ne Yakobo, Katonda yaatulaga eky'okukkiriza n'ekyobutakkiriza, kiki ekyokwagala ne ky'obukyayi kye kitegeeza okuva ku nsonga gye yayogera. “Omugugu ogw'ekigambo kya Mukama eri Isiraeri ekyajjira mu Malaki. Nnabaagala, bw'ayogera Mukama. Era naye mwogera nti watwagala otya? Esawu teyali muganda wa Yakobo? Bw'ayogera Mukama: era naye nnamwagala Yakobo; naye Esawu nnamukyawa …” (Malaki 1:1-3; Abaruumi 9:13).
Yakobo yayagala okuba n'obusika obw'ali n'omukisa gwa Katonda okuva ku Lubereberye (Olubereberye 25:29-34). Eri Esawu tekirina kye kyategeez, naye Yakobo yakyagala ku muwendo gwonna. Katonda kwagala. Obukyayi bwe eri Esawu bw'ali mu kukyayibwa. Ye yennyini bw'ayogera, “N'ayagala – n'enzikkiriza Yakobo, era n'ekyawa Esawu.” Okusooka Esawu yakyayibwa ne Katonda olw'obutassa kitiiibwa mu busika bwe. Awo n'alyoka atandiika okuyiganya Yakobo. Bwe kityo bwe kiri ne leero: Buli muntu yenna eyamaliriza oba atanaafuna obusika ayiganaya oyo afunye obusika n'ekisa, Tekiberangako mu ngeri endala yonna.
Katonda takolera ku kwagala kw'omuntu yenna, naye taawaliriza muntu yenna okukkiriza omukisa gwe ogw'obusika, gwe tusoobola okubeera n'agwo okuyita mu Yesu Kristo yekka, ezzadde ery'olubereberye mu b'oluganda abangi (Abaruumi 8:28-30). Yakobo n'ameggana ne Katonda era n'ayogera nti: “Sijja kukuta wabula ng'ompadde omukisa.” (Olubereberye 32:22-32). Ey'atwala ekifo eky'omuntu omulala yafuuka Isiraeri – omulangira ne Katonda. Omuntu yenna bw'aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: mu Kristo (2. Abakkolinso 5:17).
Kisigalawo emerembe gyonna nga ky'amazima: Omuntu yenna azaalibwa abakkiriza ba Katonda Katonda ne Kigambo kye era nga takola kibi n'abutakkiriza “… kubanga yazaalibwa Katonda.” (1Yokaana 3:9). Ekibi ekyasooka eky'obutakkiriza era n'obujemu obwegatta ku kyo era nate bukolebwako ne mu byonna n'okukkiriza okw'amazima n'obugonvu. Ibulayimu yakkiriza (Olubereberye 15:6), era Ibulayimu yagondera Katonda (Olubereberye 22:16); mu ngeri y'emu, ensigo ya Ibulayimu kaakano ekkiriza era n'egondera Katonda (Abaggalatiya 3:6-20); Yakobo 2:21-26). nga ezzadde ly'omukazi lirikubetenta omutwe (Olubereberye 3:15) era n'okukkiriza kwaffe, okuwangudde ensi, kufuuse obuwanguzi bwaffe 1Yokaana 5:4), Ffe awatali kubuusabuusa twafuna obwa Katonda era n'empisa za Yesu Kristo okuyita mu kuzaalibwa okuggya, era “… kubanga ensigo ye ebeera mu ffe …”
Ensigo ey'obwa Katonda ye ki? Ensigo kye Kigambo, omuli obulamu (Lukka 8:11). Abanna ba Katonda ab'amazima babeera mu Kigambo; ekigambo ekisigibwa mu nnimiro enungi (Makko 4:26-29). Nga bwe kikula, ne kileeta ebibala era ne kibeera mu byo (Yokaana 15:5-7). “Olw'okuteesa kwe yatuzaala n'ekigambo ekyamazima, tulyoke tubeere ng'omwaka omubereberye ogw'ebitonde bye.” (Yakobo 1:18). Ekigambo ekyawandiikibwa kyafuuka ekyabikkulwa (Abaruumi 10:16-17) okuyita mu ekyo twazaalibwa omulundi ogw'okubiri nate mu suubi ery'obulamu. (1Peetero 1:3+23). “Naye buli akwata ekigambo kye, mazima okwagala kwa Katonda nga kumaze okutuukirizibwa mu oyo …” (1Yokaana 2:5), era: “Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna: bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n'okwagala kwe nga kutuukiridde mu ffe.” (IYokaana 4:12). – mu ffe n'okutuusa ku kutuukirira! Amiina.
Ddala, ebigambo bwe bityo bitutwala ku kinyusi kyennyini! Wokka mu kwagala kwa Katonda abo bonna abali ekitundu ku kkanisa ey'omugole be bafuna okutuukirira, kubanga nnabbi w'ekiseera kyaffe n'agambibwa nti okwagala kwokka okutuukiridde be baliyingirayo.
Obubaka obw'obwa Katonda – obw'ababuulizi, okuyigiriza, era ekitundu eky'obunnabbi – nga obumanyirivu obw'obulokozi bwe bumu ne leero nga bwe bwa'ali mu nnaku z'abatume. Okubuulira okusooka n'okusembayo, okubatiza okusooka n'okusembayo kulina okuba nga kwe kumu (Ebikolwa by'abatume 2:37-42). “Mukama omu, okukkiriza kumu, okubatizibwa kumu …” (Abaefeso 4). Ekiragiro ekikulu eri abaana ba Katonda kukyali kwe kwagala okukyakolebwa n'okutuusa kaakano, nga akabonero akokulabirako nti Katonda emirembe gyonna abeera mu ffe. Ekintu ekilala kibeera ekitalimu makulu, eby'okugezesa eby'enzikkiriza, era n'okulimba bennyini. Bulijo byombi bibeerawo: ebyokusoma n'ebyaddala. Waliwo, ekyokulabirako, enjigiriza ey'okuyusibwa n'okuzaalibwa okuggya, era waliwo obumanyirivu bumu obw'omuntu obw'okukyusibwa era n'okuzaalibwa okuggya. Omwana ow'amazima eyazaalibwa omulundi ogw'okubiri owa Katonda ajja kuba n'obulamu era n'embeera eya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda, era azaala ebibala eby'omwoyo omutukuvu.
Available translations
PDF
EPUB