Circular Letter

Ebbaluwa - Omwezi gw'ekkumi n'ebiri 2012

Ewald Frank

library_books Kapitoly: 9 calendar_month 2. 12. 2012

Navigate

Kapitoly

expand_more

Navigate

Kapitoly

Jump to any chapter without leaving the reader.

Kapitola 9

Enkomerero y'omwaka 2012

9 / 9

Emyaka zijja ne zigenda; esawa zisobola okuyimirira, naye ebiseera bisigala bitambula. Omwaka 2012, kaakano ogutuli emabega, gwali mwaka mulala ogw'omukisa ennyo. Awatali kubuusabuusa kwonna, emmeme nnyingi ez'omuwendo zagattibwa mu bwakabaka bwa Katonda okuyita mu ngendo z'obuweereza. Okusingira ddala twebaza olw'okutusobozesa okutuuka ku bantu abatabalika mu nsi zonna okuyita ku mitimbagano. Kaakano, okuyungibwa ku kubuulira buterevu kususe akabonero k'olukumi. Ekungganiro erisinga obunene ery'omukyalo eritwegattako okuyita ku mitimbagano eri mu kitundu kya Kolwezi mu D.R.C. Omusumba wabwe, Ow'oluganda Mwamba, yatuwa amawulire nti mu gandalo erisooka mu mwezi gw'ekkumi ab'oluganda abasuka 3000 ne banyinaze baaliwo era n'ebalaba buterevu. Ku gandalo erisooka mu mwezi gw'ekkumi n'omu, ekkanisa n'ayo mu Ulan Bator, Mongolia, yayungibwa ku mukutu omulundi ogusooka.

Kya kwewunya e'ngeri Katonda gy'atugabiridde buli kintu: eri ab'oluganda baffe abalina obukugu mu byuma bya kali magezi era n'eri ab'oluganda ne banyinaze abamanyi ennimi ez'enjawulo so nti tusobole okuweereza zonna mu nnimi 13 ez'enjawulo mu maloboozi ne mu buwandiike.

Omuwendo gwa DVDs oguweerezebwa buli mwezi gususe 9000. kya kwewunya nti abantu bonna mu nsi zonna basobola okuwulira okulangirirwa kw'ekumu era bayungibwa buterevu ku ekyo Katonda kye yasuubiza ne kyali kukola kaakano. Bwe kityo, obubaka obusembayo obw'enjiri enzijuvu butuuse enkomerero z'ensi, era okusinzira ku Matayo 24:14, enkomerero eryoke ejje. N'ebaza abo bonna abetabye mu mulimu gwa Katonda, kakibeere kiseera kyonna oba kaseera katono.

Ne kulwe nnyumba entono ey'okusaba n'ebaza Mukama wange. Ekifo ekikulu ekyateekebwawo abantu mwe batula kituuza abantu nga 570; we tugattako ekisenge ekirirwamu emmere, n'ekiryoka kituuza abantu abasuka mu 1000. Ennyumba ezisurwamu zisobola okusuza ab'oluganda ne banyinaze nga 400 abava mu ngendo ez'ewala okujja mu nkunggaana ezitegekebwa ku buli gandalo erisooka ery'obuli mwezi.

Eri mwe, ab'oluganda bange ne bannyinaze abagalwa mu Kristo, oyo yenna mu kukkiriza okuwagira kwonna era n'okusaba okoze ekitundu kyo mu mulimu gwe mbebaza okuvira ddala wansi w'omutima gwange.

Katonda y'eyongere okuwa omukisa ab'oluganda bonna abaweereza mu nsi yonna abali ekitundu mu kulangirira era abaweereza emmere ey'omuwendo ey'omwoyo ku meza ya Mukama. Abawala abalongoofu abagezi nabo bakkiriza Mukama yennyini kye yagamba mu Matayo 24:45-47, ba kitundu ku ekyo Katonda kyali kukola kaakano era mu kumaliriza aligenda ku mbaga ey'obugole (Matayo 25:10).

Mukama waffe kye yayogerako mu sula esembayo ey'enjiri ya Matayo ntuufu n'okutuuka ku nkomerero: “… nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.”

Kituufu, bulijo, n'abuli muntu ku mmwe. Mufune era mukkirize na kukkiriza, wadde ne mu bigezo ebikalubu. Yasuubiza nti alikola ebintu byonna okutuukirira. Yakitandiika; era alikimaliriza. Ekitiibwa kibeere gyali kaakano era n'emirembe gyonna. Amiina.

Kulwo mwaka 2013, mbagaliza mmwena omukisa gwa Katonda mu linnya lya Yesu etukuvu.

Mu kulagirwa kwe

Brother Frank

Available translations