Circular Letter

Ebbaluwa - Omwezi gw'ekkumi n'ebiri 2012

Ewald Frank

library_books Kapitoly: 9 calendar_month 2. 12. 2012

Navigate

Kapitoly

expand_more

Navigate

Kapitoly

Jump to any chapter without leaving the reader.

Kapitola 5

Eky'asiimibwa Katonda ng'okutwalibwa mu ggulu tekunnabaawo

5 / 9

“Olw'okukkiriza, Enock yatwalibwa obutalaba kufa; n'atalabika kubanga Katonda yamutwala: kubanga bwe yali nga tannatwalibwa yategeezebwa okusiimibwa Katonda.” (Abaebbulaniya 11:5).

Katonda yasiima Enock ow'omusanvu oluvannyuma lwa Adamu, era amangu ago n'atwalibwa mu ggulu. Mu ngeri y'emu, bonna abalamu kaakano era balitwalibwa mu ggulu awatali kulaba kufa balina okusiimibwa mu maaso ga Katonda. Mu ndagaano enkadde, waliwo ekibi okuwaayo (Okuva 29; a. o.) era ne saddaka esiimisa Katonda mu ngeri ey'okuwaayo era n'okulangirirwa ekinywa: “Naye anaawuubawuubanga ekinywa mu maaso ga Mukama, okukkirizibwa ku lwa mmwe: ku lw'enkya oluddirira ssabbiiti kabona kw’anaakiwuubiranga.” (Eby'abaleevi 23:11). Ekinywa ekyekibala ekibereberye kyawuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama okukola abantu ba Katonda okusiimibwa ye: okusooka engaano, n'ekinywa, era n'emmere ey'ekibala ekibereberye (Eby'abaleevi 23:19-25).

Bonna abalonde yabaawula dda mu Yesu Kristo (Abaefeso 1:3-5). Yali nsigo enkalu ey'engaano eyagwa ku ttaka era n'efa n'ebala emmere nnyingi (Yokaana 12:24), era abanunurwa be baliba engaano eyakungurwa ku nkomerero: “Olugali lwe luli mu mukono gwe, naye alirongoosa nnyo egguuliro lye; alikunggaanyiza engaano mu ggwanika, naye ebisusunku alibyokya n'omuliro ogutazikira.” (Matayo 3:12).

Ebigoberera byawandiikibwa dda mu ndagaano enkadde ku mununuzi waffe mu kulaga entegeka ey'obulokozi: “Laba omuweereza wange gye mpanirira; omulonde wange obulamu bwange gwe busanyukira: ntadde omwoyo gwange ku ye; alyolesa omusango eri ab'amawanga.” (Isaaya 42:1).

Oluvannyuma yabatizibwa ne Yokaana era n'afuluma mu mazzi, omwoyo gwa Katonda gwakka ku ye, “Laba eddoboozi ne liyima mu ggulu, nga ligamba nti Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.” (Matayo 3:17; Makko 1:11). nga tannabatizibwa mu mazzi, Omwana n'agamba, “… kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna. N'alyoka amukkiriza.” “Ffe” wano kyamugaso nnyo. Tw'ateekebwamu nga abaana ab'obulenzi n'abobuwala aba Katonda. N'okubatizibwa mu mazzi, abakkiriza batuliragana ebibi byabwe mu kukkiriza omununuzi wabwe; n'okubatizibwa kw'omwoyo omutukuvu, atwoleka okukkiriza kwe eri abanunurwa.

Ku lusozi lw'okukyusibwa, ebigoberera bye byaliwo: “Bwe yali ng'akyayogera, laba, ekire ekimasamasa ne kibasiikiriza: laba, eddoboozi ne liva mu kire, nga ligamba nti Ono ye Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire.” (Matayo 17:5). “… mumuwulire.” ensigo eyamazima eya Katonda elabisibwa mu baana bonna ab'obulenzi n'abobuwala aba Katonda, kisanyusa nnyo Katonda era bamuwulira.

Omugole yenna yanunurwa mu bujuvu era alagibwa nga talina kunenyezebwa kwonna era asiimibwa mu maaso ga Katonda. Nga Katonda bwe yasanyikira nnyo omununuzi bwe yafuuka omuntu, so ne kaakano kirina okulabisibwa nti naye asanyukira ekkanisa ye yennyini eyanunurwa, mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bwa Katonda. (2(Peetero 1:4).

Omutume yatulabula: “So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by'ayagala ebirungi, ebisanyusa, ebituufu.” (Abaruumi 12:2).

“Kubanga ebibala by'omusana biri mu bulungi bwonna n'obutuukirivu n'amazima; nga mukeberanga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri.” (Abaefeso 5:9-10).

Omusango ogw'abatume n'agwo musango gwange. Ekyokulabirako nti bonna abalonde kaakano abawulira ekigambo kya Katonda era ne bakikkiriza bafuuka era ne bakkirizibwa Katonda: “Era nange nze ntegeerede ddala ebyammwe, baganda bange, nga nammwe mujjudde obulungi, mujjudde okutegeera kwonna, nga muyinza n'okubuuliriragananga mwekka na mwekka. Naye nneeyongedde okuguma katono okubawandiikira, nga kubajjukiza nate, olw'ekisa kye nnaweebwa Katonda, nze okubeeranga omuweereza wa Kristo Yesu eri ab'amawanga nga nkolera enjiri ya Katonda omulimu gwa kabona, ssaddaaka y'ab'amawanga eryoke esiimibwe ng'etukuzibwa Omwoyo Omutukuvu.” (Abaruumi 15:14-16). Kino n'akyo kye kiribeera ne kaakano, ku nkomerero y'ekiseera ky'ekisa. Nga ekyamazima nga Katonda bwe yatuma omubaka we, so n'obubaka bwe bulimaliriza kye bwatumirwa. Era kubanga kyali kigambo ekyava mu lulimi lwe, tekiri ddayo bwereere naye kirimaliriza buli kintu Katonda kye yayagala (Isaaya 55). Amiina.

Available translations