Circular Letter
Ebbaluwa - Omwezi gw'ekkumi n'ebiri 2012
Ewald Frank
Navigate
Kapitoly
expand_more
Navigate
Kapitoly
Navigate
Kapitoly
Jump to any chapter without leaving the reader.
Kapitola 6
Ekiseera ekisinga omugaso eri ekkanisa: Omulembe gw'omugole
6 / 9
Tulaba nti obunnabbi bwa Baibuli butuukirizibwa mu bifo byonna. Kituufu ddala kiseera kya nkomerero, era nga twawabulwa bulungi okutwala ekyo Mukama waffe kye yayogera mu bumalirivu: “… bwe mutyo nammwe bwe mulaba ebigambo ebyo byonna …” (Matayo 24:33; Makko 13:29; Lukka 21:31). Kituufu tubilaba, tumanyi obubonero bwe kiseera era n'obubaka, era tuyimuse waggulu emitwe gyaffe kubanga obununuzi bw'emibiri gyaffe buli kumpi (Abafiripi 3:21).
N'ayogera gye tuli ebigambo bino: “Naye Mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n'okuyimirira mu maaso g'Omwana w'omuntu.” (Lukka 21:36).
Omutume Yokaana yatulaga ekitugatta buterevu wakati w'enjigiriza era n'okukomawo kwa Mukama: “Nammwe okufukibwako amafuta kwe mwaweebwa ye kubeere mu mmwe, so temwetaaga muntu yenna okubayigirizanga; naye ng'okufuka kwe okw'amafuta bwe kubayigiriza mu bigambo byonna, era kwa mazima so si bulimba, era nga bwe kwabayigiriza, mubeerenga mu ye. Ne kaakano, abaana abato, mubeerenga mu ye; bw'alirabisibwa tulyoke tubeere n'obugumu, era ensonyi zireme okutukwatira mu maaso ge mu kujja kwe.” (1Yokaana 2:20-28).
Oluvannyuma lw'omutume Yokaana bwe yawandiika ku bintu byonna, yali yawandiika ne ku mbaga ey'obugole, omusango gw'entebe enjeru n'egulu eriggya era n'eggulu eriggya, yateeka esira nate mu kubikkulirwa 21 nsonga ki enkulu eri ffe mu biseera byaffe, eky'okulabirako nti tweteeseteese era tuli kitundu ku bawanguzi: “Awangula alisikira ebyo: nange nnaabeeranga Katonda we, naye a naabanga mwana wange.” (v. 7).
Okuyita mu kubikkulwa kw'obubonero, Buli kintu ekiri mu ntegeka ya Katonda ey'obulokozi kibikuddwa.
Mu sula esembayo, Yokaana yalagirwa: “N'angamba nti toteeka kabonero ku bigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino; kubanga obudde buli kumpi.” (Okubikkulirwa 22:10). Kituufu, ebiseera by'okutuukirizibwa okusembayo bituuse; biri kumpi. Ebigoberera nabyo bituukirizibwa kaakano: “Ayonoona abeere ng'akyayonoona: era omugwagwa abeere ng'akyali mugwagwa: era n'omutuukirivu, abeere ng'akyakola obutuukirivu, era n'omutukuvu abeere ng'akyali mutukuvu.” (v. 11).
Ku nkomerero, BW'ATYO BWAYOGERA MUKAMA Kigenda eri abo bonna abakikabirira: “Mukama waffe, jangu!” “Laba, njija mangu; n'empera yange eri nange, okusasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli. Nze Alufa ne Omega, ow'olubereberye era omukoobezi, okusooka n'ekomerero.” (Okubikkulirwa 22:12-13). Oluvannyuma lw'ekyo n'ewajja emikisa: “Baweereddwa omukisa abayoza ebyambalo byabwe, balyoke babeere n'obuyinza ku muti ogw'obulamu, era balyoke bayingire mu kibuga nga bayita mu miryango.” (v. 14)
“Kale tutyenga nti okusuubiza okw'okuyingira mu kiwumulo nga bwe kukyatulekeddwa, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takutuuseeko.” (Abaebbulaniya 4:1).
Katonda akituwe. Amiina.
Available translations
PDF
EPUB