Book
«OKWOLESEBWA 7000» Amawulire g'ensi yonna
Ewald Frank
Navigate
Kapitoly
expand_more
Navigate
Kapitoly
Navigate
Kapitoly
Jump to any chapter without leaving the reader.
Kapitola 3
Okukomawo kwa Kristo
3 / 10
Katonda ng'omutonzi alina e'ntegeka n'ebitonde bye era nga omununuzi n'abanunulwa be. Buli akkiriza mu kubeerawo kwa Katonda w'abantu akkiriza nti taleekera kintu kyonna kakisa Bw'atyo bw'ayogera Mukama: “Kubanga Nze Katonda so tewali mulala; Nze Katonda so tewali anfaanana; alanga enkomerero okuva ku Lubereberye, n'ebigambo ebitanaakolebwa okuva ku biro eby'edda; ayogera nti okuteesa kwange kulinywera era ndikola by'enjagala byonna.” (Isaaya 46:9-10). “Era tumanyi nti eri abo abaagala Katonda era abayitibwa ng'okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna ebibakolera wamu olw'obulungi.” (Abaruumi 9:28).
Abo abamanyi ebyawandiikibwa ebitukuvu balina amagezi amalungi ku ebyo byonna ebyayogerwa ku mununuzi mu ndagaano enkadde okuva mu Lusuku lwa Edeni (Olubereberye 3:15). Ye yali esuubi lya bantu ba Katonda okuyita mu ndagaano enkadde yonna. Mu ngeri y'emu abanunulwa abaagalwa esuubi ery'obulamu ery'okukomawo kwa Yesu Kristo okuva ku Lubereberye lw'endagaano empya, okuva bwe yatwalibwa mu kitiibwa. N'agamba nti, “… era oba nga ggenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo.” (Yokaana 14:3). Ekikolwa kino kitundu ku ntegeka ey'obulokozi, kya kulaga ekyamanyi era nga kiri kumpi nnyo. Okusinzira ku mawulire ag'ensi yonna ekyawandiikibwa ne kifuulumizibwa ku kufuga kw'emyaka olukumi, abantu obukadde n'obukadde ku nsi basuubira okukomawo kwa Kristo. Naye, waliwo n'abenzikkiriza abakola ebisikiriza ku nsi, bulijo abalabikira ku nsi, baleeta obukosefu n'ebivume ku bakkiriza ab'ekigambo kya Katonda ab'amazima. Ku ekyo n'abo bakkiriza ba Baibuli era bakristayo nga musanyu basuubira okukomawo kwa Kristo era ne babeera mu bulamu obulungi ennyo. Bagezi, era b'amazima mu buli kye bakola.
Okukomawo kwa Yesu Krist era n'ebikolwa ebyayogerwa ebiri goberera birituukirira, naye Katonda yekka asalawo olunaku ne biro bino bwe birituukirira. Obubonero bwe biro bwe tulina okwekuma, naye, kyogera mu bulambulukufu nti ekikolwa kino kiri kumpi. Okutekawo akaseera, nga bwe kyaliwo emirundi mingi wadde ne mu biseera ebiyise, mwebaze Katonda kisobooka oba kyetagisa.
Mu kujja okwasooka okwa Kristo obunnabbi obusoba mu 100 okuva mu ndagaano enkadde bw'atuukirizibwa. Byonna ebimukwatako eby'omugaso – okutegeera kwe okw'obwa Katonda, okuzaalibwa kwe mu Besirekemu, obuweereza bwe, okubonaabona kwe, okufa kwe, okuzuukira kwe n'okutwalibwa kwe mu ggulu – byayogerwa mu bunnabbi bw'endagaano enkadde. Ne kakaano bwe kiri mu kiseera kino ng'okujja kwa Yesu Kristo okw'okubiri tekunnabaawo. Kyamugaso nnyo okusoma ebyawandiikibwa byonna eby'efaananyizibwa ku ebyo. Ebiri mu biro bino era nga kakaano bituukirizibwa.
Omutume Peetero yali yalaba edda mu mwoyo nti okukomawo kwa Kristo kulibeera okusingira ddala okusekererwa mu biro by'enkomerero, nga kakaano bwe kiri. Abawakanyi abakulu be bano abatakkiriza abasoma eby'enzikkiriza abatalina kutegeera kw'obwa Katonda ku bikwata ku ntegeka y'ekiseera kya Katonda era n'ekigambo kye mu byawandiikibwa ebitukuvu. n'agamba, eky'okulabirako, nti abatume bali bakyamu mu kusuubira okukomawo kwa Kristo, era ne Yesu Kristo, bagamba, teyakuma kisuubizo kye bwe yagamba, “Njija mangu.” amazima agekitiibibwa kiri nti Baibuli yonna ewandiikiddwa mu ngeri nti ebeerawo emirundi gyonna. Buli Kigambo kya Katonda ekyawandiikibwa kibuulirwa era ne kikkirizibwa n'abantu bonna mu kiseera kyonna eky'ekisa. Wokka nga ekiseera ky'ebikolwa ebyayogerwako okubaawo nga kituuse ddala bwe birituukirizibwa.
Omutume Peetero ajja buterevu ku nsonga n'esomo era n'awandiika “Nga mu maze okusooka okutegeera kino, nga mu nnaku ez'oluvannyuma abasekerezi balijja n'okusekerera, nga batambula okugobereranga okwegomba kwabwe bo, ne boogera nti Okusuubiza kw'okujja kwe kuli luuyi wa?” Awo n'abaddamu, “Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng'abalala bwe balowooza okulwa; naye aguminkiriza gye muli nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya.” (2Peetero 3:3-9). Bonna abayawulibwa eri obulamu obutagwaawo balikkiriza. (Ebikolwa by'abatume 13:48). Abasekerezi tebalina biseera bingi bye basigaziza, nga okusekerera kwabwe amangu ennyo kuliba kukaaba n'okuluma obujiji. “Temulimbibwanga; Katonda tasekererwa: Kubanga omuntu kyonna kyasiga era kyali kungula.” Okusinzira ku bujulizi bwe byawandiikibwa ebitukuvu Kristo amangu alikomawo nga bwe yasuubiza era atwale abantu be mu kitiibwa (1 Abasessaloniika 4), nga “obusungu tebunnajja”, ng'okubonaabona okungi tekunatandika (1 Abasessaloniika 1:10).
Mu kujja kwe okw'okubiri abo abaafiira mu Kristo era nga balina ekitundu mu »kuzuukira okwasooka« be balisooka okuzuukira, era naffe abalamu abasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu n'abo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: Kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna (1Abasessaloniika 4). Bw'alilabisibwa tulifaanana nga ye kubanga tuli mulaba nga bw'ali (1Yokaana 3). Kino kiribeerawo ng'awatali kubuusabuusa nga bwe kyayogerwa era ne kisuubizibwa mu Kigambo kya Katonda ekitukuvu.
Available translations
PDF
EPUB