Book

«OKWOLESEBWA 7000» Amawulire g'ensi yonna

Ewald Frank

library_books Kapitoly: 10 calendar_month 8. 10. 2000

Navigate

Kapitoly

expand_more

Navigate

Kapitoly

Jump to any chapter without leaving the reader.

Kapitola 5

TW'AYAWULIBWA OKUSS'EKIMU NE KATONDA

5 / 10

Okusinzira ku kwagala kwa Katonda, omuntu okuvira ddala ku lubereberye yalina okuss'ekimu ne Katonda. N'olwekyo, awatali kya kwekwassa enzikkiriza oba kikula kya muntu, bonna balina okwagala mu meeme zaabwe eri omuntu owa waggulu. Bonna bewulira ekintu ekitatootolwa eky'okusinza, sikya nsonga oba nga kino kikolebwa kitya. Singa omuntu yenna tasanga kintu kya nzikkiriza eky'okusinza, awo kiyinza okubeera obugaaga obutwalibwa nga ekibi, kiyinza okuba ebintu bingi: empisa, eby'emizanyo, ebinyumo, era n'ebiwumbe, n'ebirala bingi. Okwagala okwo okuwanvu mu buli meeme y'omuntu, newakubadde mugaaga oba mwavu, mu mazima ddala ekimala kye kintu ky'obwa Katonda.

Abayudaaya abakkiriza b'asaaba Katonda eyebikula gye bali mu buntu yennyini mu biseera bya Musa nga Katonda wa Isiraeri n'erinya Elohim-Yakuwa (Okuva 6). Omuyudaaya yennyini akkiriza mu Katonda omu yekka ow'amazima, kubanga ye yennyini yayogera, “Kale wulira, ggwe Isiraeri; Mukama Katonda waffe ye Mukama omu …” (Ekyamateeka olw'okubiri 6). Emirundi nga 6,700 tusanga okwelaga kwa “Mukama Katonda - »Elohim-Yakuwa« mu ngeri y'omu mu ndagaano enkadde.

Abayisiramu nabo ba saaba mu bakatonda babwe omu Allaha. Okutuusa omwezi gw'omwenda 11, 2001 fenna twakkiriza, ku lw'obutamanya nti Allah ayinza okugerageranyizibwa ku Elohim owa baibuli. Kaakano tuyize okuva mu njuyi nyingi okusingira ddala mu bawandisi ab'enjawulo, nti Allah yali omu ku bakatonda ow'omwezi owa Babulooni. Mu kiseera kya Mohammed yali asinzibwa mu Buwarabu nga Katonda eyawanga ebimeera byonna ku nsi ebijimusa. Eno y'ensonga lwaki abayisiramu batwala akabonero k'ekitundu ky'omwezi. Wokka oluvannyuma nga Mohammed ng'awangudde ebikka byonna ebyasinzanga bakatonda abalala mu buwarabu, yalangirira bakatonda b'ekika kye okuba nga ye Allah yekka. Yateeka ne bitonde eri allah. Mohammed n'alyoka yeyongera okubuulira enzikkiriza ye- naye nga tasinzira ku byawandiikibwa ebitukuvu, Allah wa Mohammed si ye Katonda omu ow'amazima owa Ibulayimu ne Musa. Eky'enkoleredde si ye era talibeera Katonda wa Baibuli. Mu mawanga gonna ag'obuyisiramu ekigambo “Allah” kulwa “Katonda” kikozeswbwa mu Baibuli ne mubitabo by'enyimba era ne “Allah” asinzibwa nga Katonda n'abakristayo bonna mu mawanga ago. Nga kulimbibwa kwa katyabaga, okukyamizibwa mu butamanya! Baanakolaki kaakano oluvannyuma ng'amazima g'afuuse obutangavu?

Abahindu bakkiriza mu bussatu bwabwe obukulu, nga ye Brahma, omutonzi Vishnu, omubeezi, era ne shiva, omuzikiriza, era ne mu bakatonda abalala abangi abasinga abahindu bennyini. Bateeka esuubi lyabwe mu njigiriza eyo omuntu mu bulamu obuggya alikomawo mu ngeri endala oba ng'ensolo era ne yeyongera mu nkola y'okutuukuza okutuusa bwatuuka ku kigendererwa eky'enkomeredde. Ababudha bakkiriza mu ngeri y'emu ng'abalina enzikkiriza ey'obulamu oluvannyuma lw'okufa, era nga bateeka nnyo esira ku kutabaganya. Ekigendererwa kyabwe ekisinga obukulu kye Nirvana – embeera y'esanyu, okusazibwamu okuva ye karma, ekyatuukibwako n'okwegya mu bwa kin'omu, obutabeerawo nate. Nga bwe kiri n'abahindu, so bwe kiri n'abayisiramu n'enzikkiriza endala, n'awano omu anonyereza mu bwerere okunonya obubaka bw'ennyini obw'obwa Katonda, obulokozi n'esuubi ery'obutagwaawo. Mu nzikkiriza zino obuwanguzi ku kufa n'obulamu obutagwaawo tebyateekebwamu. Bw'ekityo tekibeera ky'amazima, nti enzikkiriza awatali bulokozi-etali nzikkiriza? Ddala ensonga enkulu yabikkurwa era n'ekakasibwa “Okwagala kwa Katonda”, omuntu mwalina okwewayo yennyini.

Nga tufumintiriza nti obukristayo mu byonna bukkiriza mu bulombolombo obw'obussatu, nga kitegeeza nti abantu abassatu abatagwaawo ababeera mu ggulu, si nzikkiriza nayo nti Katonda ali omu mu kukkiriza okw'amazima okw'ekigambo. Ekibuuzo ekituufu kiri nti: “bwe wabeera nga waliwo abantu bassatu abo bwa katonda abatagwaawo era nga be b'obuyinza, nekilyoka kigyawo okubeerawo kw'oyo Katonda omu, atagwaawo, Katonda omuyinza w'ebintu byonna” bw'ofumintiriza amazima gano agasikkiriza awo wokka enzikkiriza yabayudaaya yokka y'etuukiridde ey'oyo “Katonda omu”. Katonda omu ow'amazima awatali kubuusabuusa alina obusoboozi okubikkula era n'okwebikkula yennyini mu makubo mangi agenjawulo, nga ebyawandiikibwa ebitukuvu bwe bijulira ku ekyo. Mu ndagaano enkadde Katonda atalabika, mu mwoyo, yebikkula yennyini nga Mukama mu ngeri elabika. Mu ndagaano empya Katonda y'omu yebikkula yennyini ku lw'obulokozi bwaffe nga kitaaffe mu ggulu mu mwana we omu yekka gye yalonda nga ye Mukama, ku nsi. Mu ndagaano enkadde kyaliwo mu mubiri gw'omwoyo, mu ndagaano empya mu mubiri gw'enyama, ku lw'obununuzi bwaffe era n'okusobozesa okutubala nate mu bwa Katonda nga abaana ba Katonda (Abaggalatiya 4:4 a.o.).

Waaliwo ebiro by'ekiseera nga omuntu eyasooka yabeeranga ddala mu kuss'ekimu ne Katonda mu lusuku lwa Katonda. Mu mbeera eno eyasooka baali tebamanyi kintu kyonna ku nnaku, obulumi, obulwadde oba kufa. Nga ebitonde by'oyo atagwaawo baali balondebwa okubeerawo mu butagwaawo. Katonda yabakola ne babeera balekule, so bakolanga okusalawo kwabwe bennyini, ekyanditegeeza obulamu oba kufa. Baali basoobola okulondako wakati w'ekirungi n'ekibi, obugonvu n'obujemu, okukkiriza n'obutakkiriza. Eyo y'ekyali ensonga naffe, n'okutuusa leero. Okuvira ddala ku Lubereberye Katonda yali yetaga obugonvu. Awo we mu kusooka Kaawa era ne Adamu bwe yakola n'alemererwa okuwangula ebigezo. Yawulirisa ebigambo era »n'obulimba« bwa Setaani omusota bwe gw'amulimba, n'agwa mu kibi era n'asika ne Adamu mu kyo. Abantu ab'asooka balinyirira ebiragiro bya Katonda, era n'ajja wansi w'okusikkirizibwa omubi era yalina okufa. Katonda Mukama waffe yagoberera okuyita mu kubakanga n'abafuulumya okuva mu lusuku lwe. Okuss'ekimu n'ababe abamenyese, era n'okubonaabona, obulwadde n'okufa bw'ajira buli muntu yenna.

Tewali n'omu yandigambye nti, “Gunsinze, nazza emikono gyange okuba omulungi. Kiki ky'endina okukola n'akyo?” Buli musajja ne buli mukazi, buli muwala era ne buli mulenzi yandibadde era n'akola nga Adamu ne Kaawa bwe baakola. Mu butuufu, era ba kya kikola ne leero. Fenna twazaalibwa mu kibi ekyasooka okuyita mu kutegeera kw'omubiri era ne tusalirwa kufa. N'olwekyo fenna tulina okuzaalibwa na mwoyo, nga Omwana wa Katonda bwe yali, n'okufuna obulamu obutagwaawo. Katonda atumanyi fenna. Yakimanya nti tewali muntu kuffe ku bubwe eyandigondedde amateeka ge, so nti tusoobole okumanya okusobya kwaffe era n'okutegeera obujemu bwaffe eri ye. Singa tewaaliwo teeka ya bwa Katonda, te twandisingisiddwa misango gyaffe era tetwandibadde ne kyetago kya kusonyiwibwa n'obununuzi. Twazaalibwa mu nsi eno ng'abo abayawulibwa okuva ku Katonda, okubula, awatali suubi; n'olwekyo twetaga bununuzi n'okutabagana naye. Okutegeera kwogera eri buli omu, newakubadde eri abo abatawulirangako bubaka bwa Katonda oba abatasomangako Baibuli. Buli omu amanyi bwa ba ng'alimba, bwa ba ng'agyako, bwa ba ng'aba oba ng'akola ekintu kyonna ekikyamu era n'olwekyo yamuggana. Okutegeera kwaffe kutukakatikako mu kiseera kyennyini. Bonna, abaggaga oba bavu, balungi oba babi, balina omusango mu maaso ga Katonda era mazima ddala betaga obulokozi. Tewali n'omu eyandi gambye, “Sitanganko muntu yenna, oba mu ngeri endala okukola omusango gwonna, so tekiyinza kubeera kyonna kibi bw’ekityo.” Omusango omutuukirivu ogwa Katonda gutuuse ku ffe fenna n'olwekyo fenna tulina okufa. Tewali kintu mu bulamu ekitali kya kubuusabuusa nga kufa. Bw'ekityo bwe kyawandiikibwa, “Era ng'abantu bwe baterekerwa okufa omulundi ogumu, oluvannyuma lw'okwo musango.”  (Abaebbulaniya 9:27).

Kulwo kugwa okuss'ekimu ne Katonda kwamenyebwa. Okugyako ekyo, yatulowoozako era nakola eKkubo lye yennyini okuyita mu oyo eyandigambye, “Yesu n'amugamba nti nze kkubo, n'amazima,n'obulamu: tewali ajja eri kitange, wabula ng'ayita mu nze.” (Yokaana 14:6). Mukama mu kwagala kwe okutagwaawo n'ekisa yajja gye tuli, nti tusoobole okujja gyali.

Okuva bwe twakola ekibi mu mubiri guno ogw'okunsi era gw'atusinga, yalina okujja mu mubiri gw'omuntu era n'omusaayi, nera ku lw'ekyo ye atalina musango n'afiririra ebibi byaffe era n'atutabaganya ne Katonda. Kino kyakolebwa mu Yesu Kristo, Mukama waffe, akabira wabweru n'okutuusa leero, “Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.”  (Matayo 11:28). Abantu abajja gyali mu ngeri eno basoobola, ebiseera byabwe ebyoluvannyuma bwe bituuka, bawaayo omyoyo gwabwe mu mikono gye era ne bakakasibwa nti bulijo anaabawanga eky'okuddamu kye kimu, “Yesu n'amugamba nti Mazima nkugamba nti leero onooba nange mu Lusuku lwa Katonda.” (Luka 23:43). Kituufu, omuntu yenna omulamu atalina ye mazima ddala awatali kubuusabuusa ajja kufa. Okugyako abo bokka abalamu abafira mu Kristo be balilokolebwa (Abarumi 14:7; Okubikkulirwa 14:13).

Available translations