Book

«OKWOLESEBWA 7000» Amawulire g'ensi yonna

Ewald Frank

library_books Kapitoly: 10 calendar_month 8. 10. 2000

Navigate

Kapitoly

expand_more

Navigate

Kapitoly

Jump to any chapter without leaving the reader.

Ng'okukomawo kwa Kristo tekunnatuuka enjiri esembayo erina okuwuulirwa mu nsi yonna. “N'enjiri eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna awo enkomerero n'elyoka ejja.” (Matayo 24:14). Awatali kiseera awali obusoboozi nga kaakano okuyita ku mikutu z'empuliziganya okutuukiriza omulimu gwe nga bwe kwetagisa. Mu kitabo ky'okubikkulirwa, omulabi Yokaana amazima ddala yalaba amazima gano mu kwolesebwa okugoberera: “N'endaba malayika omulala ng'abuuka mu bbanga ery'omu ggulu ng'alina enjiri ey'emirembe n'emirembe, okubuulira abatuula ku nsi n'abuli ggwanga n'ekika n'olulimi n’abantu.” (Okubikkulirwa 14:6)

Abasinga obungi bamanyi nti okuva mu biseera by'okudabulura wabaddewo okuzibwa obuggya okw'omwoyo, nga kukulembela ebuziba mu Kigambo era kumpi ne Katonda. Buli muntu yenna amanyi bino amanyi nti mu kukyuka kwe kyassa ekisembayo okutambula okw'amaanyi okw'omwoyo omutukuvu mu nsi yonna kw'atandiika, era okusingira ddala oluvannyuma lwa sematalo ow'okubiri waliwo okuyitamu enjigiriza ey'amazima ey'abatume n'obuweereza.

Okuzibwa obuggya era n'okuwonyezebwa okw'atandiika mu 1946, nze kye n'alaba mu buntu okuva mu 1949, oluvannyuma kyeyongera eri amakkanisa amanene agali gamanyiddwa n'amaddini g'abakristayo. Enkumi z'ababuulizi n'abali basinga okumanyibwa, baali basikiriziddwa era ne batandiikawo obuweereza bwabwe. Okuva kw'olwo, enkunggana z'amaddini mu nsi yonna, n'okubuulira, »Ensula« eza»basuubuzi ab'enjiri enzijuvu« nga bwe kyali ne ku kunggana endala zonna ez'abasikiriza z'eyongera. Kaakano »Okusabira abalwadde« era ne »okukozesa ebirabo by'omwoyo« tebikyakolebwa era bya bubinjja obumu, naye bikolebwa kumpi mu maddini gonna ag'abakristayo era nga bikolebwa ne mikutu gy'empuliziganya. Okugyako bino byonna, ababuulizi n'amakkanisa gasigadde mu njigiriza zaabwe ezitali mu byawandiikibwa era n'obuwangwa bwabwe nga tebakimanyi.

Abakkiriza bangi bawulidde okuzibwa obuggya okw'ayogerwko n'okuwonyezebwa, okwatandiika oluvannyuma lwa sematalo ow'okubiri, naye, abantu batono bokka abamanyi e'ngeri, di era ani Katonda lwe yatandiika omulimu guno. Yali Lev. Gordon Lindsay okuva mu Dallas, Texas USA, eyawandiika ekitabo »WILLIAM M. BRANHAM – OMUSAJJA EYATUMIBWA OKUVA ERI KATONDA« mu 1950. Mu kitabo kino yawandiika nti mu mwezi gw'okutaano 7, 1946, William M. Branham yali afunye okuyitibwa okw'omu ggulu, nga Pawulo. Bw'atyo omulimu okuva eri Katonda omulimu omunene mu nteekateeka ya Katonda kwa muweebwa ne Mukama yennyini. Gordon Lindsay awandiika engeri omusajja ono, eyali afunye ekisa mu maaso ga Katonda, yakozesebwa ne kikakasibwa naye mu ngeri esinga obukulu, okusinzira ku nkola ey'abatume, abantu bakunggana mu bungi, nga bwe kyali tekilabibwangako. Nga tw'olekera enkomerero y'omwakka 1940's ababuulizi bali abalala n'abo batandiika n'okuza buggya kwabwe era n'enkunggana ez'okuwonyezebwa. Enjawulo wakati wa William M. Branham n'abo abalabika oluvannyuma kwali nti omusajja wa Katonda yateeka nnyo esira ku kuyigiriza Baibuli mu kubuulira kwe, okuva ku ntandiikwa ey'obuweereza bwe okutuusa bwe yagenda okubeera ne Mukama mu 1965.

Mu »Okuzibwa obuggya okw'okubiri« Ababuulizi bali balina entegeka zaabwe. Kiki ekiri kubaawo kaakano mu bano abayitibwa »okuzibwa obuggya okw'okussatu« mu nsi yonna mazima katubagiro, bwe kisomebwa mu byawandiikibwa ebitukuvu. Ababuulizi babuulira »Enjiri ey'okugaggawala« era boogera bingi ku by'amagero n'obubonero; bamala ebiseera bingi mu kusoloza ebirabo okusinga okubuulira. Bangi kubo bafuusa abagagga abasinga. Bwe bagambibwa »okulaga amaanyi« kulina kye kwefaananyiza ne mikolo egya'mazina, nga ziwagirwa n'enyimba. Naye, oluvannyuma lw'okutwala okutunula okw'okumpi, tewaliwo kintu kyonna kya bwa Katonda ky'oyinza kusanga mu kigambo ekibuuliddwa. Enjiri e'ntuufu emirembe n'emirembe tesangibwayo. efuuse enjiri eyakolebwa abantu obubaka obuyitibwamu na buli muntu akiteekako esira ery'enjawulo. Singa Katonda akakasa ekigambo kye mu bantu era ng'okuwonyezebwa kugenda mu maaso, ekyo tekifuula enjigiriza oba ababuulizi oba abakozi bye by'amagero okuba batuufu. Buli mwaka obukadde bwa bantu balamaga ebifo eby'enjawulo nga basuubira okufuna eby'amagero. Omubuulizi bw'asuubiza abantu ababonaabona ekyamagero eky'okuwonya ne Katonda awo ne balyoka bakunggana mu bungi. Naye, okuwonyezebwa kwokka kwe kukakasa nti Katonda mwesigwa, ng'addamu okusaba kw'abo abakkiriza ekyo kye yasuubiza. Omukisa ogw'omwoyo gujjira abo bonna abagwagaala, nga bwe kyawandiikibwa: “… Mulyoke mubeerenga abaana ba kitammwe ali mu ggulu: kubanga enjuba ye agyakiza ababi n'abalungi, abatonnyezesa enkuba abatuukirivu n'abatali batuukirivu.” (Matayo 5:45).

Okusinzira ku Bigambo bya Mukama waffe, ekituufu n'ekibi byonna bikoleera wamu oludda n'eludda. Mu butuufu, obulimba buli kumpi nnyo era bufaanana ne kituufu nti ` ekigambo ne kyogerwa, “Kristo ali wano. Kristo ali eyo.” Mukama waffe yatulabula ku bino ne bigambo ebigoberera, “Kubanga bakristo ab'obulimba ne bannabbi ab'obulimba baliyimuka,balikola obubonero n'ebyewunyo okukyamya oba nga kiyinzika, abalonde.” (Makko 13:22). Mu butuufu Katonda abeera wokka awali Ekigambo kye, Omwoyo, okuyigiriza n'ebikolwa mazima ddala mazima gerageranye era otwale ebyawandiikibwa ebitukuvu.

Ebigambo bya Mukama waffe n'abyo kuwa okunyonyola okwetagisa ku kikwata ku nsonga eno, “Muli bategeerera ku bibala byabwe.” (Matayo 7:16). Si lwa birabo by'omwoyo, ebiyinza okugegenyezebwa, naye olw'ebibala by'omwoyo, ebibikkula embeera ya Kristo era nga t'oyinza ku bigegenya, tumanyiddwa (Abaggalatiya 5:22-23). Ebibala birina okukula era nga gujulira ekikula “ky'omuti” kye guli. Si nkuba ey'omwoyo, naye ekika ky'ensigo mu mutima, kw'atonyesa enkuba, y'ensonga esinga obukulu kubanga buli nsigo eleeta ekikula kyayo. Ensigo zombi, enungi n'enkyamu zonna ziri ku ttaka lye limu mu nsi eno. Mukama n'agamba, “Muleke bikule byombi bituuse amakungula …” (Matayo 13:30). Mu biro by'amakungula enggano ey'omunsiko erisibibwa n'eyokebwa, naye enggano eritwalibwa mu ggwanika. Era kirina okutuukirizibwa ekyo Mukama waffe kye yagamba ku abo abafukibwako amafuta ab'obulimba, “Bangi abaligamba ku lunaku luli nti Mukama waffe Mukama waffe, tetwalagualnga mu linnya lyo, tetwagobanga Dayimooni mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo? Ne ndyoka mbaatulira nti sibamanyangako mmwe: muve wendi mwenna abakola eby'obujeemu.” (Matayo 7:22-23).

Kirabika nti bangi ku abo abanoonya Mukama basiimu n'embeera etondeddwawo mu nkunggana ebiseera ebimu tewakyaliwo kusanyuka kw'anzikkiriza olw'embeera etondeddwawo mu nkunggana. Basigala mu buwangwa bw'abantu, mu kifo ky'okunoonya mu mazima okuteesa kwa Katonda era n'okutwala Ekigambo kye okuba ekikulu. Naye, abo ab'amazima bwe banoonya Ekigambo ekya Katonda olw'okulungamizibwa era ne bakigoberera, eyo yokka y'engeri Katonda wa bakkiriza okugenda mu kkubo entuufu eri ekkanisa eyasooka ey'endagaano empya. bokka abanoonya mu mazima balindaba n'eyeeyanjula aliggulirwawo era n'abaguminkiriza okutuusa ku nkomerero baliba bawanguzi.

Abakristayo ab'amazima abakkiriza Baibuli bali gezako okutambulira awamu ne byawandiikibwa ebitukuvu. Bakkiriza enjigiriza ey'abatume ekwata ku bulamba bwa Katonda, okubatizibwa kw'amazzi, Okulya omubiri gwa Mukama n'ebirala bingi. Era ne bakola ebyo byennyini ab'atume bye bakolanga ku Lubereberye, ebirina okubaawo era n'ebyeyongerayo okutuusa ku nkomerero. Bonna abali mu kkanisa ya Yesu Kristo batwala okuyimirira kwabwe ku musingi guno ogwa Baibuli era kaakano balina obumanyirivu ku kutambula okusembayo okwa Katonda era n'okugumalirizibwa ku lunaku lwa Yesu Kristo okuli kumpi okutuuka. (Abafiripi 1:6).

Available translations