Book
«OKWOLESEBWA 7000» Amawulire g'ensi yonna
Ewald Frank
Navigate
Kapitoly
expand_more
Navigate
Kapitoly
Navigate
Kapitoly
Jump to any chapter without leaving the reader.
Kapitola 4
Ekitiibwa ky'ebitonde
4 / 10
Ekirubirirwa kyennyini n'entegeka ya Katonda yatandiika edda ku Lubereberye. Awatali kubuusabuusa buli omu ku ffe y'egomba obulungi bw'ebitonde bye. Naye, si buli omu mu ngeri y'amagezi ateeka okubeerawo kw'omutonzi mu maaso g'ebitonde. Kimanyiddwa wonna nti okuva abantu bwe bategedde ebitasooboka ne bye baagunjaawo ebingi, okubeerawo kwa Katonda kw'eyongeredde ddala okubuuzibwa era n'amawulire g'obutonzi g’abuusibuusibwa. Abawandiisi be bitabo bavayo n'ebigambo ebitakwatagana era ne bakirizisa abantu ku kunonyereza kwabwe, okusingira ddala mu biseera bye byassa ebyayita, okuyita mu buntu okuyingira mu butakkiriza. Katonda agaanibwa, era omuntu ajaguzibwa. N'akyo kiteekeddwawo nti ebintu byonna byabaawo ku bwa byo buli akkiriza ng'agamba nti naye yabaawo okuyita mu kufuusibwa mu ngeri yonna, ng'agaana kitaawe ne nnyina.
Ani ayinza okufumintiriza nti ensi mu ndabika yayo ne munyenye ezitabalika era ne kyonna kye biri mu kutuukirira kwa byo nti byandibaddewo ku bwa byo byennyini oba okuyita mu magezi “g'abantu ag'okunonyereza”? Okutuusa ne kakaano tewali muntu n'omu ayinza okuletawo okweyongerako kwonna mu kitiibwa ky'ebitonde bya Katonda. Fumintiriza ebitonde bingi mu semayanja ennene era n'ebyo ku bukalu ebituukiridde okubeera mu bifo byabyo, nga obukadde n'obukadde bwe bisolo n'enyonyi mu semazinga ez'enjawulo era n'engeri gye bikolagana n'embeera y'obudde mu bifo gye bibeeramu.
Nga omutonzi ku Lubereberye yatonda ebintu byonna n'ekigambo kye ekyamaanyi, so bwe kiri n'okutuusa leero. Okuva ku tutonda kw'ensi, buli mwaka tusiga ne tukungula, nga Katonda bwe yagamba bwe kiriba: “Ensi ng'ekyaliwo, okusiga n'okukungula, era empewo n'ebbugumu, era ekyeya ne ttoggo, era emisana n'ekiro tebiggwengawo.” (Olubereberye 8:22). Wokka omuntu n'amaddu awatali kulowooza ataganjula obutonde, obutabanguko bweyongera okulankulana. Buli nnaku obuwumbi bw'abantu bulisibwa, era singa emmere yonna egabanyizibwa mu bwenkanya tewali muntu yandilumiddwa enjala ku nsi. Buli mwaka Katonda tatukusa kyoka nga obutabalika bw'ebitonde naye abuulira okw'amaanyi okufa n'okuzuukira gye tuli okuyita mu butonde bwennyini. Buli kweseera kuleeta obulamu obugya, ebibala ebigya era n'amakugula amangi. Newalyoka wajja ebikoola ebigwa okuva ku miti era n'obutonde ne bufa. Nga mu kiseera ky'okuwumula, ekiseera ky'omuzira ne kigoberera era awatali kubuusabuusa mu ngeri y'emu okweseera okuzuukusa kukomawo. “Kubanga ebya Katonda ebimanyika birabika eri bo: kubanga Katonda yabibalabisa; kubanga ebibye ebitalabika okuva ku kutonda ensi bilabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde obuyinza bwe obutagwaawo n'obwa Katonda bwe.” (Abaruumi 1:19-20).
Ekituufu nti buli kitonde ekilamu kizaalaekikifaanana oluvannyuma lw'embeer zaabwe okusaigala nga tezitaganjuddwa emirembe gyonna. N'okutuusa leero tusiga ensigo zezimu okuvira ddala ku butonzi okuva mu kiseera ekyasooka. Emiti gye gimu gikula nga giteekako ebibala bye bimu era ne bisolo bye bimu bibeera ku nsi. Newakubadde omukazi n'omusajja, engule ey'obutonzi, ziri nga bwe byali mu nnaku za Adamu ne Kaawa. N'abo bali baweebwa ebikolwa eby' obutonzi. Kino kikakasiddwa mu kyassa kino ekiwedde, okusingira ddala mu myaka zino ataano egiyise, nga kyamaanyi nnyo. Tufunye obumanyirivu bw'enkulankulana okuva ku nnaku z'embalaasi n'amagaali ku nnyonyi era ne bbanga. Eky'enkomeredde omuntu asobola okukola buli ky'alowooza era ne ky'ategeka mu biro byonna. Nga Mukama bwe yayogera, “ne kaakano tewali ekigenda okubalema, kye baagala okukola.” (Olubereberye 11:6). kino N'amanyisibwa okusingira ddala nga bwe nalina omukisa okusisinkana omumerika agenda ku mwezi Apollo 16, General ret. Charles Duke, mu mwezi gw'ekkumi n'ebiri 9, 1995, eyayogera mu Berlin ku lugendo lwe okugenda ku mwezi mu mwezi gw'okuna ogwa 1972.
Waliwo ekintu kimu kyokka omuntu ky'atasoobola kukola – kwe kutonda obulamu. Abo abakkiririza mu ngeri ebintu eby'enjawulo bwe byabaawo balina okutubuulira ani eyaleeta akatofali k'omusayi akasooka okubaawo, era nabo balina okutumanyisa ani eyateeka obulamu mu katofali k'omusayi ako. Ekibuuzo kirina okubuuzibwa, ani eyateekawo obusobozi okwongeera obungi bw'ebitonde? Lwaki abatalina nzikkiriza tebasiga ngaano enkole yamu? Kubanga bamanyi nti teyinza kukula, kubanga telina bulamu mu yo. Ekikulu, byonna ebirungi, ebitonde bye ebyamaanyi birina okusikkiriza buli kintu era n'omuntu yenna ow'amazima okubeerawo kw'oyo omutonzi ow'amaanyi afuga byonna. Singa abantu tebeyawula bennyini okuva ku Katonda, bandimukkiriza nga ekigambo kye, ekibeerawo mu maaso gaabwe bulijo era ne kikakasa amawulire g'obutonzi. Katonda ne Kigambo kya Katonda kisigalawo emirembe gyonna nga gy'esigibwa era ng'amu butagwaawo mazima eri buli omu eyaweebwa ekisa okukkiriza!
Available translations
PDF
EPUB