Book
«OKWOLESEBWA 7000» Amawulire g'ensi yonna
Ewald Frank
Navigate
Kapitoly
expand_more
Navigate
Kapitoly
Navigate
Kapitoly
Jump to any chapter without leaving the reader.
Kapitola 9
ZUUKUKA GGWE EYEEBASE
9 / 10
Ekyetago eky'okuwa okuyitibwa kuno okusembayo era n'okulabula kirabika nga ky'amazima ku bintu ebigenda mu maaso kaakano. Tewali muntu yenna ayinza okweyongera nga tateeka kitiibwa mu kutuukirizibwa kw'ebyo ebyayogerwa bingi . Obunnabbi bwonna obwa Baibuli obutannatuukirizibwa buli mu kiseera kyennyini eky'okutuukirira. N'agamba Nnabbi Danyeri, “… Bikka ku bigambo, osse akabonero ku kitabo okutuusa ekiseera eky'enkomerero: bangi abaliddiggana embiro, n'okumanya kulyeyongera.” (Danyeri 12:4). wokka ebiro bwe bituuka obunnabbi bwa Baibuli okutuukirizibwa twaweebwa okutegeera ku ekyo.
Buli musomi wano aweebwa ekintu okukilowoozako, mu bumalirivu okuteeka mu nkola ensonga eno. Oluvanyuuma lwa byonna kino kikukwatako n'omuntu kin'omu. Katonda alina entegeka eri abantu ekilambulukufu era ekituufu mu maaso gaffe. Obubonero ne bya magero byokka si bye bisanyizo ebisalawo ebya Baibuli. N'embeera, eyinza okutonddebwawo teyinza kubalibwa mu maaso ga Katonda. Ku ye ebintu byonna birina okuba eby'amazima. Kaakano okulangirira kw'ekumu okw'ekigambo kya Katonda era n'ebikolwa by'ebimu eby'abatume birina okusangibwa awamu n'okukkiriza okw'ebyawandiikibwa mu Kigambo kya Katonda, nga kisibuka mu Yesu Kristo, Mukama waffe.
N'ekitiibwa eky'amazima, bonna abalina okutya okwa Katonda era nga bebamu ku kkanisa ya Yesu Kristo balikkiriza »Obubaka obw'ekiseera«, okufuna ebisuubizo eby'ebiro bino ebisembayo, era ne basuubira okutuukirira kwabyo. Nga Kristo tannakomawo buli kintu kirina okuzibwayo mu ntegeeka yabyo entuufu okusinzira ku Baibuli era n'okulongoosebwa mu mbeera yabyo eyasooka, nga bwe kyayogerwako mu Ebikola by'abatume 3:21 mu kulaga okukomawo kwa Kristo, “Eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa mu biro eby'okulongoosezamu byonna, Katonda bye yayogereranga mu kammwa kabannabbi be abatukuvu abaaliwo okuva ku Lubereberye.”
Obulamu obutagwaawo n'obulokozi tebuweebwa n'abikolwa by'anzikkiriza ebimu oba ebitongole ebimu eby'enzikkiriza. Buli omu alina okubeera n'obulokozi obwa kin'omu ng'alina obumanyirivu okuva eri Katonda okuyita mu kukkiri mu Yesu Kristo, eyazuukira mu buwanguzi. Kino kimalirizibwa n'okukkiriza okuva mu kuwuulira Ekigambo kya Katonda – Enjiri enzijuvu, n'okukkiriza mu bununuzi n'okusonyibwa; kifuuka amaanyi ga Katonda naffe (1 Abakkolinso 1:18).
Buli omu kuffe alina okubeera n'obumanyirivu buno kin'omu okufuna okutabagana ne Katonda. Okukyusibwa mu Baibuli okudda eri ye, okuzaalibwa okuggya n'omwoyo (Yokaana 3:6), okufuna obukakafu bw'obulokozi (Abarumi 8:16), era n'okubatizibwa okw'omwoyo omutukuvu (Ebikolwa by'abatume 2:4, a.o.). bwe bumanyirivu obw'etagisa. Tulifuna akabonero ak'omwoyo omutukuvu wokka oluvannyuma lw'okukkiriza Ekigambo eky'amazima (Abaefeso 1:13). Katonda yatabagana n'abantu, nga naawe mw'oli, naye yennyini mu Yesu Kristo Mukama waffe (2Abakkolinso 5:19). Okukkiriza okwo okw'amazima kw'egatiira ddala ku bubaka obw'amazima obwa Yesu Kristo. “Mmwe bennyini mutabaganenga ne Katonda!”
Mu kutabagana, kino kigambibwa: waliwo abantu abakkiriza nti Katonda asangibwa mu buli nzikkiriza, era bagamba nti Yesu Kristo ali omu ku bangi abatandiikawo enzikkiriza. Ekyo mazima kiruma. Mukama waffe era omulokozi ali wala nnyo ku balala abatandiisi b'enzikkiriza nga eggulu bwe liri ewala ku nsi. Okukkiriza mu ye kwe kukkiriza mu Katonda yennyini, okuwa esuubi eritagwaawo era n'obulokozi. Okwo kusomoza eri Mukama waffe okumu geregeranya ku muntu yenna eyeteekako okuba nnabbi. Bonna bafa ne bazikibwa n'endowooza zaabwe, era tewali n'omu kubo eyazuukuka okuva mu bafu. Baali bantu nga bwe tuli era nga tebayinza kweyamba oba okulokola abalala. Abo ababagoberera balikomenkereza gye bali. Emirembe n'emirembe waliwo omu yekka eyali agamba, “Nze kkubo, n'amazima, n'obulamu”! Abo abagoberera Mukama balibeera gy'ali. Mu Yesu Kristo Katonda mu buntu atusisinkana, wokka mu ye mwe tuyinza okusisinkana Katonda mu buntu. Waaliwo omu yekka mu byafayo byonna eby'omuntu okuyita mu oyo Kitaffe ow'omu ggulu mwe yalabisibwa yennyini ku nsi. Ekyo kiri mu mwana we yekka eyazaalibwa, Yesu Kristo. Mu ye yatufuula baana ab'obulenzi n'abobuwala aba Katonda, “… Bwe yatwawula edda okumufuukira abaana ku bwa Yesu Kristo nga bwe yasiima olw'okwagala kwe.” (Abaefeso 1:5).
N'okutuusa ku nkomerero, nga Kristo tannakomawo, walibeerawo okussekimu okwa bakkiriza abali wansi wa Kristo ng'omutwe, si kibina naye ekintu ekilamu – omubiri gwa Kristo. Okuyitamu okw'amaanyi okw'omwoyo ku ekyo, okulangirira ok'ekigambo ekyasooka okusinzira ku Bikolwa eby'abatume mu kkanisa ey'omugole owa Mukama eri kumpi, bwekityo bwe kiri ba “Okumaliriza okw'okuza obuggya” okusumulurwa nga bwe kyali ku Lubereberye mu nnaku ez'abatume, so bwe kiriba ne kaakano n'okutuusa ku nkomerero. Ekitabo eky'abatume kikyali kyokka ekyebikolwa ebibalibwa mu maaso ga Katonda eri ekkanisa ey'endagaano empya. Ennaku za Baibuli we ziri wano nate! Yesu Kristo jjo ne leero aba bumu n'okutuusa emirembe n'emirembe.
Omusomi omwagalwa,
nsuubira nti ebigambo bino eby'olwatu tebikuletere kuba na kwekanga naye okuyamba ng'obutangavu obulungamya okukulembera okugenda mu ggulu, okulaga ekkubo etuufu ery'okwekweka. Okukkiriza okuleeta obulokozi tekusangibwa mu nzikkiriza eyafa, naye mu Mukama omulamu eyazuukira okuva mu bafu, eyatwalibwa mu Kitiibwa era alikomawo nate. Eky'amazima ly'ekkubo lino erimu lyoka, abantu bonna abagala okulokolebwa mmwe balina okutambulira. Buli muntu yenna ayagala okutuuka ku kigendererwa ekitagwaawo alina okuleka ebintu byonna ebitasibuka mu bwa Katonda, okuleeka obuwangwa bwonna obw'enzikkiriza okomewo eri Mukama.
Okubeera omu ku nzikkiriza tekirina kye kikola ku bulokozi bw'emmeme, ekiva eri Katonda yekka. Tewaliwo Sacramento ` oba kikolwa kyonna eky'enzikkiriza ekiyinza okukuwa obulokozi. Omulokozi yekka yayinza okulokola, era n'obununuzi busangibwa mu mununuzi yekka. Kubanga kyawandiikibwa: “Akkiriza Omwana alina obulamu obutagwaawo; naye atakkiriza Omwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye.” (Yokaana 3:36). Okukkiriza okumalirivu mu Katonda omu ow'amazima, ey'ebikkula yennyini mu Yesu Kristo, yetagibwa mu buli muntu kin'omu (Yokaana 17:3).
Abo abasuubiza nga bamaliridde okukola ekintu ekirungi nga balina ebirubirirwa ebirungi, balitegeera nti tebakola wabweru oba okubakulembera okugenda eri Katonda. Okugyibwako omusango mu maaso ga Katonda kuva mu kukkiriza okuyita mu Yesu Kristo. Kyakuwayo eky'ekisa ekitaliko muwendo ekilagibwa eri abantu. Osoobola okukola okusalawo kwo okw'obutagwaawo kaakano. Enjiri ya Yesu Kristo, Mukama waffe era omulokozi, mazima ddala alifuuka obubaka obw'obununuzi ku lulwo ng'omuntu kin'omu.
Jangu okkirize kaakano mu Mukama Yesu Kristo, eyakugyako ebibi byo byonna era ng'awakisa gy'oli. Osoobola okuyita erinnya lye, nga bangi bwe bakoze mu biseera ebiyise. Obulokozi butuukiddwako ne bonna abaana ab'amazima aba Katonda okuyita mu mirembe gyonna. Tewali akyayagala okukyamizibwa nate oba mu ngeri endala okulimbibwa n'enjogera nti ebintu bijja kuba birungi mu ngeri endala yonna. Basoobola okuba batuufu mu butagwaawo wokka oluvannyuma lw'okufa, singa bafuuka abatuufu nga bakyali balamu. Buli muntu yenna asoobola okufuna obumanyirivu bw'obulokozi bwa Katonda era n'afuna okukakasibwa nti basonyiwiddwa era ne bakkirizibwa ne Mukama.
Nkugamba gezako kaakano, nga bwe tukomenkereza okulaga kuno, okw'ogera n'omulokozi wo mu kusaba. Yogera bwogezi naye mu kukkiriza era okkirize nti ebyawandiikibwa ebigoberera era n'ekigambo kya Katonda kyonna kikyali kituufu era nga ky'amazima eri buli muntu yenna kin'omu. N'olwekyo naawe osoobola okusaba, “… Asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu; awonya endwaddezo zonna …” (Zabbuli 103). Olina okuba mukakafu nti Mukama, omulokozi waffe, akuyita kaakano n'ebigambo bye bimu nga bwe yakola edda, “Mujje gye ndi mmwe mwenna abakoye era abazitoowereddwa, nange nnabawumuza.” (Matayo 18:28). Esula eddako nayo ekyali mu maanyi, “… ajja gye ndi sirimugobera bweru n'akatono” (Yokaana 6:37).
“Yesu n'addamu n'amugamba nti ddala ddala omuntu bw'atazaalibwa mulundi gw'akubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.” (Yokaana 3:3). Omuntu yekka alina obumanyirivu obw'okuzaalibwa okuggya y'asoobola mu mazima okwewayo eri okwagala kwa Katonda era alikkirizibwa okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
“Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda be bakkiriza erinnya lye: abataazaalibwa musaayi, newakubadde okwagala okw'omubiri newakubadde okwagala kw'omuntu, naye abaazaalibwa Katonda.” (Yokaana 1:12-13).
“Mwe tubeerera n'okununulwa kwe kusonyiyibwa kwe bibi byaffe …” (Abakkolosaayi 1:14).
Kubanga kyawandiikibwa:
“Era okutegeeza kwe kuno nti Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu mwana we. Alina Omwana alina obulamu; atalina mwana wa Katonda talina bulamu.” (1 Yokaana 5:11-12).
Ebyawandiikibwa bino ebigoberera bifuuke eby'amazima eri abasomi bonna abayita erinnya lya Mukama, “Kubanga ayogera nti mu biro eby'okukkirizibwamu nnakuwulira, ne ku lunaku olw'obulokozi nnakuyamba: laba, kaakano bye biro eby'okukkirizibwamu; laba, kaakano lwe lunaku olw’obulokozi” (2 Abakkolinso 6:2).
Olunaku luno luyinza okubeera nga lwe lusinga omuwendo era n'omugaso mu bulamu bwo!
Mu kitabo kino tusobodde okukwata ku nsonga ntono zokka. Eri abo bonna abogerezeddwa n'omwoyo gwa Katonda era nga bagala okutegeera bingi ku ye era n'etegeka ye ey'obulokozi tulina ebitabo ebiwandiike ebyesigamye ku byawandiikibwa ebitukuvu byokka. Awatali kubuusabuusa tekyali kya kabenje naye kyalagirwa ne Katonda nti ekitabo kino ekigonvu kisoobole okugwa mu mikono gyo.
N'omutima gwange gwonna mbagaliza omukisa gwa Katonda omuyinza w'ebintu byonna.
Available translations
PDF
EPUB