Book

«OKWOLESEBWA 7000» Amawulire g'ensi yonna

Ewald Frank

library_books Kapitoly: 10 calendar_month 8. 10. 2000

Navigate

Kapitoly

expand_more

Navigate

Kapitoly

Jump to any chapter without leaving the reader.

Kapitola 7

OBUNNABBI BWA BAIBULI BWE BULINA EKIGAMBO EKISEMBAYO

7 / 10

Mu maaso gaffe ebigambo by'obunnabbi bitukkirizibwa nga bwe byayogerwa mu byawandiikibwa ebitukuvu. Okukomawo kw'abantu ba Isiraeri mu »Ensi ensuubize« ke kabonero akasinga okuba ak'omugaso. Baali balina okubuna amawanga gonna, nga bwe kyali kyayogerwa dda mu Ekyamateeka Olw'okubiri, esula 4 era ne sula 29. Mu biro by'enkomerero bali kunggana wamu nate ne basimbibwa mu nsi yaabwe. (Isaaya 14:1; Yeremiya 31:10; Ezeekyeri 36:24, a.o). Kino kya kakasibwa ne Mukama waffe mu lugero lw'o»muti omutiini« nga bwe kyalagibwa akabonera ka Isiraeri (Koseya 9:10) mu mulembe guno ogusembayo (Matayo 24:32-41; Luka 21:24-33 a.o.).

Katonda yatonda ensi mu nnaku mukaaga era n'awummula ku lunaku olw'omusanvu (Olubereberye 2:1-3). bwe tukolagana ne a»omulembe gw'obunabbi«, Olunaku lumu ne Katonda luli nga emyaka lukumi mu ffe. Bw'ekityo bwe kyawandiikibwa, “Naye kino kimu temukyerabiranga, abagaalwa, nga eri Mukama waffe olunaku olumu luli ng'emyaka lukumi, n'emyaka lukumi giri ng'olunaku olumu.” (2Peetero 3:8). Mu Bikolwa by'abatume 2:17 Omutume Peetero awa eky'okulabirako ku »Ennaku ezisembayo« yayogera ku Nnabbi Yoweeri, mu oyo omwoyo omutukuvu mmwe guli yuyiika. Awatali kubuusabuusa yali awa eky'okulabirako ekye myaka 2000 egy'ebiro by'ekisa egyateekebwa mu kkanisa y'endagaano empya. “Mu nnaku zino ez'oluvannyuma yayogeranga naffe mu mwana …”  (Abaebbulaniya 1:1-3) nga kya bukakafu nga kaakano bwe tukomenkereza emyaka 6000 okuva ku ntandiikwa y'omuntu, si kya kubuusabuusa nti »Olunaku lwa Mukama«, olunaku olw'omunsanvu ne Katonda, Okufuga okw'emyaka olukumi kusoobola okutandiika mu kaseera kona Katonda kasalawo. Mukama Katonda tagendera ku nnaku zaffe ez'omwezi, naye tuyinza okusuubira »Ennaku ezisembayo« okubeerawo ekiseera kyonna. Okusinzira ku kubikkulirwa 20 kiribeera kufuga kw'emyaka lukumi ne Kristo ku nsi. Ebigambo ebigoberera bijulira ku kyo. “Aweereddwa omukisa, era ye mutukuvu alina omugabo mu kuzuukira okw'olubereberye: okufa okw'okubiri tekulina buyinza ku bo, naye baanabeeranga bakabona ba Kabona ba Katonda era ba Kristo era banaafugiranga wamu naye emyaka lukumi.” (v. 6). Oluvannyuma lw'omulimu gw'okunaza mu kiseera nga emirimu gy'ensi giryokebwa n'omuliro (2Peetero 3:1, a.o.). Walibeerawo okudabulula, era n'ensi erizibwayo mu beera gye yalimu nga mu Lusuku lwa Katonda, awo »Emirembe egy'a,mazima« we gibeera era n'Omwana `gw'endiga n'omusege bwe biribeera awamu. (Isaaya 11:6-9; Isaaya 65:25 a.o.). Ng'ekyokulabirako mu Baibuli »Okwolesebwa kw'okufuga okw'emyaka olukumi okw'omusanvu«, ebikwata ku kukyuka okusinga mu byafayo by'omuntu, tuyinza okusanga okulaga okw'ekimyanso mu Kigambo kya Katonda.

Ekikwata ku bulamu bw'omuntu, naffe tulina okubala kw'obwa Katonda ku bikwata ku bantu ba Isiraeri, ebyatwogeerwako »Mu nnaku z'obunnabbi«. Kisikiriza nnyo, ekyo Nnabbi Koseya kye yayogera, kaakano ekituukiridde mu maaso gaffe, “Mujje tudde eri Mukama: kubanga ye yataagula, era ye alituwonya; ye yafumita; era ye ali tunyiga ennaku biri nga ziyiseewo alitulamya: alitugolokosa ku lunaku olw'okusatu, naye tuliba balamu mu maaso ge.” (Koseya 6:1-2).

»Ennaku biri ez'obunnabbi« ezayogerwako nga awatali kubuusabuusa nga zilaga emyaka egiyise enkumi biri, abaana ba Isiraeri bwe bali babunye ensi yonna okuva mu mwaka 70 AD oluvannyuma nga Yesu amaze okufa. Oluvannyuma lw'ekiseera kiwanvu bw'ekityo, okuva mu 1948 nate tulina eggwanga lya Isiraeri. Okuva mu mawanga gonna bakomyewo mu nsi yaabwe. Obwo bwe bukakafu bw'okutuukirizibwa kw'obunnabbi bwa Baibuli. »Olunaku olw'okusatu« kilaga okufuga okw'emyaka olukumi okuyinza okutandiika mu kaseera konna, Isiraeri bw'eri tegeera Kristo ne eyafukibwako amafuta ne bafuna obulamu bwabwe obw'omwoyo okuva eri Katonda. Omutume Pawulo yawa eky'okulabirako ku Isiraeri, ebyabwe ebyayita n'ebijja mu maaso mu byawandiikibwa ebigoberera, “kuba oba nga okugobebwa kwabwe kwe kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kiki, wabula obulamu mu bafu? … ng'obukakanyavu bwabeera ku baisiraeri ku kitundu, okutuusa okutuukirira okw'ab'amawanga lwe kuli tuuka era bwekityo abaisiraeri bonna balirokoka: nga bwe kyawandiikibwa” (Abarumi 11:15+25-26; Isaaya 59:20, a.o.).

Amangu nga »Olunku lw'obulokozi« kaakano mmwe tuli kubeera kiweddewo (Isaaya 49:8; 2Abakkolinso 6:2), ensi erina okugumira ebibonoobono ebingi mu biseera by'enkyukakyuka, »ng'olunaku lwa Mukama terunnatuuka«, okufuga okw'emyaka olukumi okw'omusanvu, kutandiika. Mu Matayo 24 ne byawandiikibwa ebirala, Mukama Katonda yawa eby'okulabirako ku bintu bingi ebyenjawulo, ebyali birina okutambulira awamu n'ebintu mu kiseera ky'enkomerero. Yayogera ku ntalo n'ebyogerwa ku ntalo, ne ku musisi, enjala n'obusambatuuko obulala bwona bwandize ku nsi. N'alyoka ayogera “Kino naye y'entandiikwa y'ekiseera ky'enaku”. Musisi n'obusambatuko obulala obw'engeri zonna bulyeyongera, okutuusa ku ekyo ekirindiriddwa ekiseera ekiwanvu. Musisi ku lubalama lw'ebugwanjuba bwa California ku st Andrew's okusuubirwa n'abana science okubeerawo mu kaseera konna era okugenda okusinga musisi yenna abaddewo ku nsi. Bulijo obulumi bw'okuzaala bujja nga tannazaala. Mu Barumi 19:22 tugambibwa nti ebitonde byonna bisinda era birumirwa awamu, nga bikumuirira okuddamu okuzaalibwa. Mu kwegata ku kuzaala kuno Mukama Katonda yakola ekilango, “Kubanga mu biro ebyo waliba ekibonyoobonyo ekinene, nga tekibangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leera tekibangawo nate.” (Matayo 24:21).

Mu Luka 21 ne byawandiikibwa ebirala tugambibwa ku bibonyoobonyo ebinene “Era walibaawo n'obubonero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye; ne ku nsi amawanga galinakuwala, nga basamaalirira olw'okuwuuma okw'ennyanja n'amayengo; abantu ga bazirika olw'enttiisa n'olwokutunuulira ebyo ebijja ku nsi: kubanga maanyi ag'omu ggulu galikakanyizibwa.” (vv. 25-26).

Tetusoobola kugenda mu buziba ku busambatatuuko buno obunene obwayogerwako mu byawandiikibwa ebitukuvu era nga bimanyiddwa nga »Okusanyizibwawo kw'ensi yonna«. Awatali kubuusabuusa biribeerawo oluvannyuma lwe »Kkanisa ey'omugole« wa Yesu Kristo ng'atwaliddwa mu kitiibwa. Ku Lubereberye Katonda yalagira omuntu okufuga ensi, naye okukikola nga bassa kimu naye. Okweyawula ku ye omuntu ne yeyonona era n'ensi gy'abeeramu. Abakugu boogera nnyo nga bakwatibwako ku mukka, amazzi, era n'okwononebwa kw'ettaka, ku bubi obutusiddwa ku lubu lw'omu bbanga ku »Ebugumu eriva mu nnyumba«, ne ku busambatuuko obw'obutonde bw'ensi obugenda okubutikira ensi ng'olubu olw'omu bbanga nga lusanyiziddwawo lwonna, awo enjuba nga bwe yali eribeera emirundi musanvu okusinga nga bwe yali mu kusooka. So tutegezebwa mu byawandiikibwa ebitukuvu “Era omusana gw'omwezi guliba ng'omusana gw'enjuba, n'omusana gw'enjuba gulyeyongera emirundi musanvu, ng'omusana ogw'ennaku omusanvu …” (Isaaya 30:26).

Omulabi Yokaana ku kazinga ka Patumo yalaba kino nga kibaawo mu kwolesebwa okugoberera, “Ow'okuna n'afuka ekibya kye ku njuba; n'aweebwa okwokya abantu n'omuliro. Abantu nebwookebwa okwokya okunene: ne bavunama erinnya lya Katonda alina amaanyi ku bibonyoobonyo ebyo; ne bateenenya okumuwa ekitiibwa.” (Okubikkulirwa 16:8-9). Mu kiseera ekyo ebiro by'ekisa, »Olunaku lw'obulokozi« buliba buweddewo, era n'olwekyo kiriba tekikyasooboka okufuusibwa okujja eri Katonda. Eri abantu bangi kuliba kuzuukuza kwa katyabaga kuliba emirembe gyonna akaseera nga kaweddewo.

Oluvanyuma ng'ejuba ebutikidde ensi erifuuka ekizikiza nga ebyawandiikibwa bwe bigamba, “Enjuba erifuuka ekizikiza, n'omwezi okuba omusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa nga terunnaba kujja.” (Yoweeri 2:31; Ebikolwa by'abatume 2:20). “… Enjuba n'eddugala ng'olugoye olw'ebyoya, n'omwezi gwonna ne guba ng'omusaayi, n'emmunyeenye ez'omu ggulu n'eziga ku nsi, ng'omutiini bwe gukunkumura amagu gaagwo nga gunyenyezebwa empewo ennyingi … ne bakabaka b'ensi, n'abalangira, n'abagabe, n'abagagga, n'ab'amaayi, na buli muddu n'ow'eddembe ne beekweka mu mpuku ne mu mayinja ag'okusonzi; ne bagamba ensozi n'amayinja nti mutugweko, mutukise mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, ne mu busungu bw'Omwana gw'endiga, kubanga olunaku olukulu olw'obusungu bwabwe lutuuse. Era ani ayinza okuyimirirawo?” (Okubikkulirwa 6:12-17).

Katonda mu kwagaala kwe n'ekisa bulijo awa omuntu ekkubo ery'okwekweka, wadde ne mu biseera bya Nuuwa okuyita mu kyombo, kubanga obusambatuuko obw'amataba bwali nga tebuziyizika so Ekigambo kya Katonda kitulabula kaakano, nti tusoobole okwekweka nga tusanga obulokozi n'obukumi mu Yesu Kristo, endagaano yaffe ey'obukumi nga obutyabaga tebunnajja. Abo abakkiriza obubaka bw'enjiri era nga beteeseteese balifuna amaanyi okwekweka ebintu byonna ebigenda okukuba ensi era atwalibwe mu kitiibwa nga tekinnabaawo (Luka 21:34-36). Mu kwegata ku kino Mukama waffe yagamba, “Naye ebigambo ebyo bwe bitanulanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka.” (Luka 21:28).

Endowooza y'olunaku olw'obutawulira Kigambo kya Katonda awatali kubuusabuusa tekyetagisa, tekisoobola kugonjola kintu kyonna. Ekiragiro kaakano si kya kukankana naye kukkiriza, n'okukola era n'okukyuka okudda eri Mukama. Obubaka bwe kiseera kino bwe: “Okwekweka ku lw'obulamu bwange” - “kubanga omuntu kulimugasa kutya okulya ensi yonna, naye ng'afiiriddwa obulamu bwe?” ebiro by'ekisa bituusa ku nkomerero yabwo. Ennaku zisigaddeyo ntono era nga za kubalira ku ngalo. Okuyitibwa okusembayo kugenda mu maaso ng'akagombe. Buli muntu yenna ayagaala okukomawo eri Mukama alina okukikola kaakano. Mazima kyetagisa nga bwe tulina okuteeka mu nkola ebyawandiikibwa bya Baibuli ebigoberera:

“Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng'omubbi, eggulu bwe luli vaawo n'okuwuma okunene n'ebintu eby'obuwangwa birisaanuuka olw'okwokebwa okungi, n'ensi n'ebikolwa ebigirimu birisirikka. Ebyo byonna bwe bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde okubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n'okutyanga Katonda, nga musuubira nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olulisanuusisa eggulu nga ly'okebwa, n'ebintu eby'obuwangwa ne biseebengerera ku lw'ebbugumu eringi? Naye nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n'ensi empya, obutuukirivu mwe butuula.” (2 Peetero 3:10-13).

Ebyawandiikibwa bingi bisoobola okubeera eky'okulabirako ku nsonga eno. Ekyawandiikibwa mu kaseera akawanvu ennyo mangu nnyo bigenda kubeera byafayo. Ng'ogyeko bino byonna tulina okusigala bulindala mu kutegeera mu bintu byonna, okubeera ddala mu bulamu obwa bulijo nga weteekerateekera obulamu obujja mu maaso, kubanga tewali muntu amanyi lunaku oba saawa. Tulina okukwatibwako kituufu, okuba mu mazima ne Katonda tusoobole okweteekateeka okusisinkana Mukama. Omulembe guno ogusembayo mwe tuli Mukama waffe Yesu Kristo yagufaananya n'omulembe gwa Nuuwa era ne nnaku za Sodoma ne Ggomora (Luka 17:26:30, a.o.). Tewali muntu ayinza kuggana ekintu ekyo kubanga kibutikidde ensi yonna. Abantu abavudde ku bya Katonda batuuse okufuna omusango gwabwe. Katonda agabirira byombi, ekisa eri abo abanoonya okubudama mu ye era ne bakiriza obulokozi bw'emmeme zaabwe era n'omusango eri abo abatakiriza Yesu Kristo.

Available translations