Book
BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza
Ewald Frank
Navigate
Kapitoly
expand_more
Navigate
Kapitoly
Navigate
Kapitoly
Jump to any chapter without leaving the reader.
Kapitola 6
Kisaanidde bwe tu kirowoozako
6 / 18
Mu myaka 4,000 okuva ku Adamu okutuuka ku Kristo, tewali nomu ayayogera ku Kitaffe mu ggulu – si Ibulayimu, Musa, oba nnabbi yenna – leka kyokka ku Mwana wa Katobnda. Te waaliwo kwogeraganya wakati Kitaawe n'Omwana. Ekiseera bwe kyayita obutategera okuva ku nsonga y'obussatu kyavunuurwa mu byawandiikibwa ebitukuvu, ekyokulabirako, mu kulaga ku kyagoerwa: "Tukole omuntu…"(Olubereberye 1:26) nga bwe kiri mu lubereberye 11:7, Mukama bwe ya ggamba, "Kale nno, tukke, tutabuliretabulire eyo olulimi lwabwe, baleme okutegera enjogera yaabwe bokka na bokka."
Mukama Katonda yali teyeyogeza yekka oba nga yogera n'omutuntu obw'obw'aKatonda naye eri Malayika abaali ba mwetoolodde. Tulaba kino nga kikakasibwa mu biseera era nate, nga mu 2 Ebyomumirembe 18:18-22, Mukama Katonda we yaalina okwogerezeganya nejje eryo muggulu nga bayimiridde ku mukono gwe ogwa kkono n'ogwa ddyo. Mu Isaaya 6:1-13 Mukama n'agamba eri aBasseraafi abaali ba mwetoolodde, "Naatuma ani, era anaatugenderera ani?" (v. 8). Ya buuza Yobu, "Wali oli ludda wa bwe nnassaawo emisingi gy'ensi?…Emmunyeenye ez'enkya bwe zaayimbira awamu, N'abaana ba Katonda bonna ne boogerera waggulu olw'essanyu?" (Yobu 38:4+7).
Mukama yafuuka nga ffe bwe ya yambala omubiri gw'omuntu ng'Omwana wa Katonda: "…naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y'omuddu, n'abeera mu kifaananyi ky'abantu…" (Abafiripi 2:7). yawaayo omusaayi gwe olw'okusonyiwibwa kw'ebibi byaffe: "Kubanga kino gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika ku lw'abangi olw'okuggyawo ebibi." (Matayo 26:28), n'akola endagaano empya naffe, era natufuula okubalibwa ng'abaana: "Era kubanga muli baana, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe…" (Abaggalatiya 4:4-7).
Kirungi okumanya nti Mukama/YAKUWA ow'endagaano enkadde y'omu ne Mukama YESU ow'endagaano empya. Mu lubereberye mu lusuku Edeni Oyo atalabika, Katonda ataggwaawo yelaga okuyita mu ndagaano enkadde yonna mu n'geri elabika nga Mukama. Nga yegattiddwako b'amalayika babiri, yakyalira Ibulayimu: "Mukama n'amulabikira Ibulayimu awali emivule gya Mamule…N'ayimua amaaso ge n'atunula, era, laba, abasajja basatu nga bayimiridde mu maaso ge…" (Olubereberye 18:1-2). Mukama yeyongera okwogera ne Ibulayimu (v. 17) bamalayika babiri ne batuuka e sodomu (Esula 19) Yakobo yamulaba ku madala agatuuka mu ggulu: "Era laba, Mukama ng'ayimiridde waggulu waago, n'ayogera nti Nze Mukama, Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka: ensi gy'ogalamiddeko, ndigikuwa ggwe n'ezzadde lyo…" (Olubereberye 28:12-15). Yalabikira Musa mu kisaka ky'omuliro (Okuva 3), era nawo ne yelaga mwennyini eri abantu bonna aba Isiraeri mu bire era ne mu pagi y'omuliro (Okuva 40:34-38). Eri Musa Mukama yayogera naye maaso ku maaso (Ekyamateeka Olw'okubiri 34:10). Nnabbi mikaaya yalaba Mukama ku Ntebe (1 Bassekabaka 22:19), nga nnabbi Isaaya bwe yalaba (Isaaya 6). Omutume Yokaana naye bw'atyo yamulaba ku Ntebe: "…era laba, entebe ey'obwakabaka yali ng'eteekeddwawo mu ggulu, era nga waliwo eyali atudde ku ntebe…" (Okubikkulirwa 4:2). Ono teyali muntu wa kubiri naye yali Katonda, oyo nga ye mwoyo ddala nga Mukama mu n'geri elabika.
Mu ndagaano empya, Katonda yelaga mwennyini nga Kitaffe mu ggulu mu mwana we yekka eyazaalibwa ku nsi. Nga bwe ya ggamba, "Nnava eri Kitange…" abayigirizwa ne n'ebaddamu, "…Kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda." (Yokaana 16:28-30). Oluvannyuma ng'amaze emirimu gye egy'obununuzi, yatula wansi ng'Omwana w'Omuntu ku mukono og'waddyo ogwa Katonda (Matayo 26:63-64): "Nti Nninnya mu ggulu eri Kitange, era kitammwe…" (Yokaana 20:17). Kino kyali kya yogerwako dda mu Zabbuli 110:1: "…tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebey'ebigere byo." (Matayo 26:64; Lukka 22:69; ne mu Abaebbulaniya 2:7-8; era nebilala). Nga Mukama – si nga Mwana – ya ggamba "Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu nga tannaba kuzaalibwa, nze nga wendi." (Yokaana 8;58).
NZE ayogera mu ndagaano Enkadde era n'Empya:
"Nze ndi Mukama, omutukuvu wammwe, Omutonzi wa Isiraeri, Kabaka wammwe." (Isaaya 43:15).
"Nze, nze mwene, nze nzuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze; so sirijjukira bibi byo." (Isaaya 43:25).
"Mpuliriza, ggwe Yakobo, ne Isiraeri gwe nnayita: nze nzuuyo; nze w'olubereberye, era nze w'enkomerero." (Isaaya 48:12).
"Awo piraato n'amugamba nti Kale ggwe kabaka? Yesu n'addamu nti Oyogedde, ku banga nze kabaka. Nze nnazaalirwa ekyo, n'ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima." (Yokaana 18:37).
Okulagibwa "NZE" kisangibwa emirundi minji mu njiri ya Yokaana: "NZE mmere y'obulamu; NZE musana ogw'akira ensi; NZE musumba omulungi; NZE kuzuukira; NZE kubo, amazima, era n'obulamu."
"NZE ndi Alufa ne Omega, bw'ayogera Mukama Katonda, abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo, Omuyinza w'ebintu byonna." (Okubikkulirwa 1:8).
"NZE Alufa ne Omega, ow'olubereberye era omukoobezi, okusooka n'enkomerero." (Okubikkulirwa 22:13).
Available translations
PDF
EPUB