Book
BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza
Ewald Frank
Navigate
Kapitoly
expand_more
Navigate
Kapitoly
Navigate
Kapitoly
Jump to any chapter without leaving the reader.
Kapitola 15
Okusooka n'okujja okw'okubiri okwa Kristo biri kitundu ku ntegeka y'obulokozi
15 / 18
Mu kujja okw'asooka okwa Kristo, Obunnabbi okuva mu Malaki 3:1 kwatukirizibwa n'obuweereza bwa Yokaana Omubatiza: "Laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekubo mu maaso gange …" (Matayo 11:10; Lukka 7:27). Kino kye kisuubizo ekisanga okutukirizibwa nga okukomawo kwa Kristo te kunatuuka: "Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw'entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka …" (Malaki 4:5). Kya kakasibwa ne Mukama waffe n'obuweereza bwa Yokaana Omubatiza: "N'addamu n'agamba nti Eriya ajja ddala, alirongoosa byonna." (Matayo 17:11). Mu Makko 9:12 Mukama waffe ya kikakasa nate "N'agamba nti Eriya yasooka okujja n'alongoosa byonna …"
"Okukomawo kwa Yesu Kristo" kya yogerwa emirundi minji mu Ndagaano Empya. Okuva mu lubereberye, okusuubira kw'okukomawo kwe ye yali esomo ekulu eya wakati eya bakkiriza bonna. Okusuubira kuno kusinzira ku kisuubizo ekyo ye mwennyini kye yawa: "Era oba nga ngenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne batwala gy'endi; Nze gye ndi nammwe mubeere eyo." (Yokaana 14:3).
Abayigirizwa bwe babuuza ku bubonero bw'okukomawo kwe n'obwo obw'enkomerero y'ensi (Matayo 24:3), Mukama ya baddamu ne bigambo bino ebigoberera: "… N'enjiri eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n'elyoka ejja." (v. 14). Tekibangawoko ekiseera enjiri wetuuse mu byalo byennyini eby'ensi okuyita ku mitimbagano gy'omulembe nga bwe kikola kaakano. Ekilubirirwa kyo kulangirira ok'wnjiri enzijuvu kiri nti abakkiriza ba teekebwateekebwa olwo kukomawo kwa Yesu Kristo, bw'ekityo kyawandikibwa: "… N'abo abaali beteeseteese n'ebayingira naye mu mbaga ey'obugole: olugi ne luggalwawo." (Matayo 25:10).
Okukomawo kwa Kristo rye lyali esomo ekulu eryo kulangirira mu biseera by'abatume era bwe bikyali ne mu biro byaffe. Mu bbaluwa ey'asooka eri abasasseloniika, omutume yawandiika: "Kubanga esuubi lyaffe ki oba ssanyu oba ngule ey'okwenyumiriza? Bwe mutaba mmwe mu maaso ga Mukama waffe Yesu mu kujja kwe?" (1 Abasasseloniika 2:19). Omutume Pawulo nga akomenkereza obujulizi bwe ne bigambo: "Ekisigaddeyo, enterekeddwa engule ey'obutuukirivu Mukama waffe gy'alimpeera ku lunaku luli, asala emisango egy'ensonga: so si nze nzekka, naye era ne bonna abagala okulabika kwe." (2 Timoseewo 4:8).
Kaakano, nga tusemberedde nnyo okukomawo kwa Kristo, Bonna abali ekitundu ku kkanisa ya Mukama bali n'okuba n'obumanyirivu bwe bumu nga abakkiriza abedda mu lubereberye era biri n'okuzibwayo mu kusooka ebyawandiikibwa bwe bigamba mu maaso ga Katonda. Bw'atyo omutume Peetero bwe ya byogerako emabega ng'alaga Kristo era n'abakkiriza: "Eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa mu biro eby'okulongoosezaamu byonna, Katonda bye yayogereranga mu kammwa ka bannabbi be abatukuvu abaaliwo okuva ku lubereberye." (Ebikolwa by'abatume 3:21). Nga Kristo tana komawo, Buli kintu mu kkanisa ya Katonda omulamu kiri n'okuba nga bwe kyali mu lubereberye; okusooka n'okubuulira okusembayo, okusooka n'okubatizibwa okusembayo, Buli jigiriza yonna era n'ebikolwa biri n'okuba mu kussa ekimu n'ebyo eby'asooka. Enjiri y'emu, okukkiriza kumu, okubatizibwa kumu kaakano bibuulirwa ensi yonna, era n'abo bonna abakkiriza ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba ba manyirira okusonyiwibwa ebibi byabwe era babatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo era bafuna okubatizibwa n'omwoyo omutukuvu nga bwe kyali mu lubereberye. Eno ye yokka e'ngeri entuufu eya Baibuli era n'abatume (Ebikolwa by'abatume 2:38-39; Ebikolwa by'abatume 8:14-17; Ebikolwa by'abatume 10:43-48; Ebikolwa by'abatume 19:5-6), ekyo kye kibalibwa mu maaso ga Katonda okuba eky'amazima okutuusa ku nkomerero.
Available translations
PDF
EPUB