Book
BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza
Ewald Frank
Navigate
Kapitel
expand_more
Navigate
Kapitel
Navigate
Kapitel
Jump to any chapter without leaving the reader.
Kapitel 8
E'nkulankukana ey'ennaku eri mu bukristayo obw'ateekebwawo
8 / 18
Buli omu asobola, kituufu, okwesalirawo ku ani Kiki kyali n'okukkiriza. Ebigoberera bya ku balaga e'nkulankulana ey'ennaku mu biseera by'ebyafayo by'ekkanisa.
Mu bukristayo obw'asooka, okulangirira kw'ali kwa byawandiikibwa. Abatume baali balagirirwa ne Mukama mwennyini era baali balungamizibwa Mwoyo mutukuvu. Abakristayo abasooka baali ba mutima gumu n'ememe. Ekkanisa ey'asooka teyali kibina kya nzikkiriziza naye ekintu ekilimu obulamu. Katonda mwennyini yali yateka mu kkanisa ye abatume, bannabbi ababuulizi abayigiriza n'abalunzi (1 Abakkolinso 12; 1 Abakkolinso 14; Abaefeso 4; era nebilala). Amakungganiro go ku kyalo nga gali nabakadde era ne ba ddikoni ga tekebwawo agali ge mala ga tegeyingiza mu bya bufuzi. Okukula kw'amagu okw'amakungganiro g'abaKristayo, oluvvanyuma ga labibwa nga ekisomoza eri enzikkiriza y'obuwangwa era n'entegeka yaabwe n'abamu kw'abo abalina obuvunanyizibwa mu bwakabaka bwa Baruumi obw'edda. Wansi wa Nero eyali Omufuzi mu bwakabaka bwa Baruumi mu (AD 64), Okuyiganyizibwa ne kutekebwamu, ebyo ebyeyongerera ddala mu biseera bye kyassa eky'asooka.
Oluvannyuma lw'o kuyiganyizibwa okubi ennyo okw'obukristayo wansi w'omufuzi wa Baruumi ayitiibwa Diocletian (AD 284-305), obukristayo bwa kakasibwa ne by'obufuzi bwe ggwanga n'omufuzi Constantine mu mwaka 313. olwo bwe lwali obukristayo obwali nga butandise okugwa, batandika otambulira wamu n'abafuzi bye bagala. Kyali kimaze okubaawo omwaka gumu emabega, Costantine yali yeteekawo mwennyini nga "Kabona asinga obukulu owe tendekero ya ba pontiffs mu Roma ey'edda" eyali afuga eggwanga era ne kkanisa eyo y'engeri "ekkanisa y'eggwanga" bwe yatandiikibwawo mu bufuzi bwa Baruumi.
Mu mwaka 380, okukkiriza kw'obussatu kwa langirirwa okuba enzikkiriza ye ggwanga n'omufuzi Theodosius 1, era nga sibooka aba maddinni amalala naye bonna abatunze mu bwakabaka bwa Baruumi baali betagibwa okubeera mu kyo. Okulangirirwa kwali: "Tewali bulokozi awatali kkanisa!" era: "oyo yekka alina ekkanisa ng nnyina w'omulala wasobola okuba ne Katonda wa kitaawe omulala." Kiki kino eky'obufuzi n'eky'enzikkiriza okwongera okukulankulanya okwe kkanisa ye ggwanga kyi kya kola okutuusa ku Kkanisa ya Yesu Kristo? Obutalimu, eky'enkomeredde obutalimu!
Ekitiibwa "kabona asinga obukulu owe Roma," eyali kyakirizibwako eri kabona omukulu mu ku sinza ebifaananyi okw'edda mu bwakabaka bwa Baruumi, kyasooka okutwalibwa eri ba Emperor abaruumi nga akaseera kayise ne buddira ba papa: Papa leo owamaanyi (AD 440-461) ye yali omulabirizi eyasooka eyewa ekitiibwa kino. Okusooka okukulembera mu kitiibwa kya papa n'okutwala abangi okw'ekkanisa ya Catholic mu bwonna bwesigama ku bulimba obwa yongerwamu nti Yesu yatekawo ekkanisa ku mutume Peetero, oyo gye yawa ebisumuluzo by'obwakabaka bw'omu ggulu, era nti Peetero ye yali ddala Omulabirizi owe Roma bw'atyo ye Papa eyasooka.
Mu kukola ekyo, nabo bategeeza eri ebigambo bya Yesu: "…Ku lwazi luno: ndizimba ekkanisa yange…" Naye tewaliwo asoma eby'enzikkiriza atamanyi nti ebigambo ebyo eby'enjawulo bikozesebwa mu Matayo 16:18. Mukama waffe ya ggamba "…Simooni ba-yona…" (Petros=ejjinja, ebibajo by'olwazi). Naye, teya gamba, "…nti ku ggwe kw'endizimba e kkanisa yange…" naye yali agamba "…ku lwazi luno (Petra=olwazi olunene) Ndizimba e kkanisa yange…" kisoboka kitya okugamba nti Peetero yalina okuba olwazi kw'oyo e kkanisa kwe yazimbibwa?
Ekkanisa, mu butuufu, yazimbibwa ku Kristo olwazi lw'obulokozi, ejjinja ery'okusonda nga omutume Peetero mwennyini bwa julira mu Peetero 2:4-8: "Laba, nteeka mu sayuuni ejjinja ekulu ery'okusonda eddonde, ery'omuwendo omunji: era amukkiriza talikwasibwa nsonyi." Mu kulaga ekkanisa ya Baibuli, Pawulo yawandika mu Baefeso 2:20: "…mwazimbibwa ku musingi be batume ne bannabbi, Kristo Yesu yennyini bw'ali ejjinja eddene ery'okusonda…"
Kulwo kutumibwa kwa Katonda, yawandika: "Nga ekisa kya Katonda kye nnaweebwa ng'omukoza ow'abazimbi ow'amagezi n'asima omusingi; n'omulala n'azimbako. Naye buli muntu yeekuumanga bwazimbako. Kubanga tewali muntu ayinza okusima omusingi omulala wabula ogwo ogwasimibwa, ye Yesu Kristo." (1 Abakkolinso 3:10-11).
Mu kkanisa emu eya Katonda ey'amazima, eyo erimu abanunurwa, Yesu Kristo ye Mutwe (Abaefeso 4:15). Oluvannyuma lwa byonna, Mukama waffe era Omununuzi mwennyini ya ggamba, "Nange ndizimba ekkanisa yange; so ne milyango egy'Emagombe tegirigiyinza." (Matayo 16:18) – si makkanisa mangi naye "Ekkanisa yange." Kino kilaga ekisibo ekitono ekya bakkiriza (Lukka 12:32) ekyo omulunzi omulungi yawaayo obulamu bwe era endiga ze ziwulira eddoboozi lye lyokka (Yokaana 10).
Omutume Simooni Peetero teyaliko mu Roma ekyo kigendere ekyatekebwawo lwa kw'egombesa kwe. Waliwo omusomi ayitiibwa Simooni Magus, eyatekawo okusikiriza kunene ku mu kyise. Okusinzira ku bikolwa by'abatume 18, Emperor Claudius, eyafuga okuva AD 41 – 54, wadde nga ya goba abayudaaya bonna mu Roma, omwali n'abafumbo ababiri Aquila era ne Priscilla. Omutume Peetero teyawandiika Ebbaluwa ye okuva mu Roma naye okuva mu kibuga ekya babulooni ku muga Euphrates (1 Peetero 5:13), ebyasigalira bye bikyaliwo ne kaakano, 92km emaserengeta ga Baghdad mu Iraqa. Engendo z'obuweereza bwa Peetero ne Pawulo zilagigwa mu kitabo ky'ebikolwa by'abatume. Pawulo, emirundi mingi eyabeeranga mu Roma mu ngendo ze – lumu wadde mu myaka ebiri (Ebikolwa by'abatume 28:30), teyamulamusa mu bbaluwa ye eri abakkiriza bo mu makkanisa go kukyalo eyo. Newakubadde ya yogera ku bantu 27 mu manya (Abaruumi 16).
Okwogera kuno nakwo kwakolebwa ne Yesu: "Be munaggyangako ebibi byonna, baggibwako…" kyamala mu bwonna ne kivunuurwa mu bukyamu. Mu biseera by'abatume, tekyaliwo nga ekikolwa ekyakakasibwa okusinzira ku kukendeze obuyinza bw'aba kabona naye nga okiwebwayo okuyita mu kubuulira kwa Yesu Kristo, eyatekebwa ku musalaba, ye nga endiga ya Katonda yasitula ebibi by'ensi. Okutumibwa kw'abatume okw'oyo Mukama ayazuukira kuli nga bwe bigoberera: "…Amawanga gonna okubuulirwanga okwenenya n'okuggibwako ebibi mu linnya lye…" (Lukka 24:47); Ebikolwa by'abatume 13:38).
Okubuulira okw'asooka ku lunaku lw'abapentakoti oluvannyuma lw'okufuukibwa kw'omwoyo Omutukuvu n'okutondebwa kw'ekkanisa y'endagaano empaya mu Bikolwa by'abatume 2 kyakwata ku bangi abawuliriza mu buziba, "balumizibwa mu mitima gyabwe," ekyabakulembera okubuuza ekibuzo: "Nti abasajja ab'oluganda tunnakola tutya? Peetero n'agamba nti mwenenye mubatizibwe Buli muntu mu mmwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo Okuggibwako ebibi byammwe mu naweebwa ekirabo gwe Mwoyo Omutukuvu. …awo abakkiriza ekigambo kye nebabatizibwa: ne bongerwako ku lunaku luli abantu n'genkumi ssatu." (vv. 37-41).
Mu kulaga obununuzi obwa malirizibwa, Peetero yawandika: "Nga mumanyi temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo, feezza oba zaabu, mumpisa zammwe ezitalimu ze mwaweebwa bajjajjammwe; wabula n'omusaayi ogw'omuwendo omunji, ng'ogw'Omwana gw'endiga ogutaliko bulema newakubadde ebbala…" (1 Peetero 1:18-19). Abatume era n'abaddu bonna ab'amazima aba Katonda babuulidde enjiri, ekyokulabirako okusonyiwibwa kwe bibi era n'okutabagana ne Katonda era n'okuyita omuntu yenna ayakkiriza: "Ebibi byammwe bisonyiwibwa mu linna lye!" abo abatakkiriza ba sigaza ebibi byabwe (Makko 16:16; Yokaana 20:23). Ekye nnaku, Ekigambo kya Katonda kivunuddwa mu bukyamu era Buli jigiriza n'ebikolwa bya fuusibwa. Okuvunuula kwonna kuva mu butategeera ku byawandiikibwa ebilala. Okusinzira ku tegeka Ya Katonda mu nteekateeka y'obulokozi, Buli somo, nga mulimu buli jigiriza ya Baibuli, eri n'okusangibwa ku bibiri, bissatu oba obujulizi obusingawo/Ebyawandiikibwa (2 Abakkolinso 13:1).
Available translations
PDF
EPUB