Book

BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza 


Ewald Frank

library_books Kapitoly: 18 calendar_month 7. 9. 2020

Navigate

Kapitoly

expand_more

Navigate

Kapitoly

Jump to any chapter without leaving the reader.

Kapitola 16

Bino tebirina ku kumibwa nga bya kyama

16 / 18

"Ddala ddala mbagamba nti buli asembeza bu,i gwe ntuma, ng'asembezza nze: era asembeza nze, ng'asembezezza oli eyantuma." (Yokaana 13:20).

Nga Katonda mwennyini bwe yayita n'atuma Ibulayimu, Musa era ne bannabbi bw'atyo bwe yatuma Yokaana Omubatiza, era bw'atyo Ye mwennyini yatuma Pawulo, era yabesiga n'okutumibwa okw'enjawulo ekyali ekitundu ku ntegeka y'obulokozi eri ekkanisa yonna. Katonda y'omu yatekawo ekisuubizo nti ajja kutuma nnabbi nga Eriya ng'olunaku lwo bulokozi te lunatuuka ku nkomerero era n'olunaku lwa Mukama lutandike (Malaki 4:5-6). Ekisuubizo kino ku lwe biro ebisembayo eby'ekisa, ebyo bye biro bye tulimu kaakano, nga enjuba tenafuuka kizikiza era nga omwezi tegunafuuka musaayi (Yoweeri 2:31; Ebikolwa by'abatume 2:20; Okubikkulirwa 6:12), kutuuse mu kutukirizibwa. Mu gw'omukaaga nga 11, 1933, oluvannyuma okubuulira mu Jeffersonville, indiana, USA, Omubuliza omu Baptist William M. Branham yaali abatiza abantu 300 abakkiriza abapya mu muga Ohio ekinti eky'amaanyi bwe kyawulirwa: Ku sawa nga 2 p.m.,bwe yaali ali kumpi okubatiza omuntu we 17 ekitangala ky'obwa Katonda kyakka wansi, ekyalabibwa n'abantu abasuuka olukumi abaali bayimiridde ku mabali g'omuga, era ne kibeera waggulu w'omusajja wa Katonda. Nawo ebigambo bino ebigoberera bya wulilika nga byogerwa: "Nga Yokaana Omubatiza bwe yatumibwa okuteekateeka okujja okw'asooka okwa Kristo, nawe obubbaka obukuweereddwa bwe buggya okuteekateeka okujja okw'okubiri okwa Kristo." Emikutu gya mawulire egyegattira awamu mu USA ne Canada yakiwandikako nga bwe byali. N'akyo wonna kimanyiddwa nti oluvannyuma lwa sematalo w'okubir, era okusingira ddala okuva mu gw'okutano 1946, William Branham yakozesebwa ne Katonda okuleta okuyitamu mu nsi yonna okuwonyesebwa n'okuzibwa obuggya.

Okuyita mu buweereza obwa kakasibwa obwo musajja wa Katonda William Branham, Mukama mwennyini aziza abantu be ku mazima ga Baibuli ku Bulamba bwa Katonda, Okubatizibwa, emmere ya Mukama waffe, era ne jigiriza yonna. Okuteesa kwonna okwa Katonda kwalangirirwa, era obubbaka bwennyini obwa Baibuli bwe bubuulirwa eri amawanga g'ensi zonna ku lwe biro by'okuyitibwa, okweyawula, era n'okweteekateeka okw'abakkiriza abatuufu ku olwo olunaku olwe kitiibwa olw'okukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo (Yokaana14:1-3; 2Abakkolinso 6:14-18; 1 Abasasseloniika 4:13-18).

Eriya yaddira amayinja kkumi n'abiri nga gakikirira ebika kkumi n'ebibiri bw'atyo n'azimba ekyoto kya Katonda ku lusozi Carmel era n'ayita abantu ba Katonda okusalawo (1 Bassekabaka 18:17-40); bw'ekityo, mu biro byaffe, mu biro ebisinga omugaso eby'etegeka ey'obulokozi, ejigiriza ya batume kkumi n'ababiri yali ntandikwa mpya ku tabaaza, ekkanisa ya Yesu Kristo yazimbibwa ku musingi gwa batume, era Buli muntu ayitiibwa okukola okusalawo: "Mulituusa wa okutta aga n'aga nga mulowooza wabiri? Mukama oba ye Katonda, mumugoberere: naye oba baali, kale mumugoberere ye." (1 Bassekabaka 18:21).

Available translations