Book
BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza
Ewald Frank
Navigate
Kapitoly
expand_more
Navigate
Kapitoly
Navigate
Kapitoly
Jump to any chapter without leaving the reader.
Kapitola 13
Omuntu omulala alina oku kyogerako
13 / 18
Kimanyiddwa nti e'nzikkiriza zifuga amawanga gonna era n'ensi: Wano bantu abali wansi w'enzikkiriza ; waliwo obuyisiramu; awalala waliwo Hinduism oba Buddhism. Bw'ekityo amaserengeta ge bulaya okuva mu Italy okutuuka mu Spain era Portugal ejuddemu buCatholic, Naye amambuka okutuuka mu Sweden, Norway ne Finland ejuddemu kusingira ddala baprotestanti. Nga tutunulira mu mambuka ga Amerika, ne USA ne Canada n'abo ennyo ba sikirizibwa okusingira ddala n'obuprotestanti, naye amawanga g'omumaserengeta ne mu makati ga Amerika ga butikibwa obuCatholic. Mu buyindi okusingira ddala Hinduism; mu mawanga aga singa aga makati ge buvanjuba gabutikiddwa n'obuyisiramu era mu buwarabu okusingira ddala Buddhism. Enzikkiriza zono zonna kye zirina mu kufaanana bye bisuubizo ebitali mu Kigambo kya Katonda era ekitasobola kuleta bumu naye. N'olw'ekyo kiri n'okukolebwa mu bungi ga kilambulukufu: Obulokozi bwa Katonda tebuli mu n'zikkiriza yonna oba kkanisa naye muYesu Kristo yekka. Ebisuubizo by'omuntu byonna eby'omu ggulu era ne by'olusuku lwa Katonda tekirina kyakukola ne Katonda. Waliwo omu yekka, ekyokulabirako Omununuzi mwennyini, ya ggamba "Yesu n'amugamba nti mazima kugamba nti leero on'aba nange mu lusuku lwa Katonda" (Lukka 23:43)
Si emu ku zino eziyitiibwa ekkanisa zo bukristayo, Si ba Catholic, oba aba Orthodox, oba aba Anglican, oba aba Lutheran, oba aba Calvinist, era si ne ba Coptic oba eddala zonna, ye kkanisa eyatekebwawo ne Kristo, Omununuzi. Papa, ekyokulabirako, kituufu ye mutwe gwe kkanisa ya bacatholic, era ne patriarch ye mukulembeze wre kkanisa ya ba Orthodox, naye si ye mutwe gwa kkanisa ya Yesu Kristo. Omulabirizi omukulu mu butuufu ye mutwe gw'omwoyo ogw'ekkanisa ya ba Anglican naye si mutwe gwe kkanisa ya Yesu Kristo. Kino kigenda eri amaddini gonna ag'obukristayo nti okugyako ejawukana zaabwe, abakyali baalina ekintu kimu kye bafaananya ne kkanisa ya Roma, ekyokulabirako "Nicene-Chalcedonian Creed" okusinzira ku mukutu gwe mitimbagano, okusoma eby'enzikkiriza ekyasooka okwetagibwa ku lw'okubeera mu b'enzikkiriza ya baporestanti abali omu ku kuteesa kwa ma kkanisa ge nsi yonna kye "Okwatula okukkiriza mu katonda abassatu nga bwe kilagibwa mu Baibuli ne mu kuteesa kwa Nicene-Constantinopolitan Creed."
Naye ekyo si kwe kwatula okukkiriza okwo kukkiriza kwe kkanisa ya Katonda omulamu. Ekkanisa ya Yesu Kristo ekkiriza mu omu era Katonda yekka nga Baibuli bwe wa obujulizi ku Ye. Buli kiseera ye abeera n'abakkiriza ba Baibuli okuva mu nsi yonna, amawanga, ebikula bya bantu bonna, era n'ennimi. Mukama mwennyini n'agamba, "Obwakabaka bwange si bwa nsi eno …" Ekkanisa ya Katonda omulamu si kkanisa-ekkakasibwa ne ggwanga naye ekola omubiri gwa Mukama, nga bwe kyawandiikibwa: "Naye mmwe muli mubiri gwa Kristo, n'ebitundu byagwo, Buli muntu." (1 Abakkolinso 12:27). Mu kkanisa emu ey'amazima ey'omununuzi, Yesu Kristo gwe Mutwe (Abaefeso 4:15), era ne Baibuli nga Ekigambo kya Katonda bwe buyinza bwokka.
Available translations
PDF
EPUB