Book
BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza
Ewald Frank
Navigate
Kapitoly
expand_more
Navigate
Kapitoly
Navigate
Kapitoly
Jump to any chapter without leaving the reader.
Kapitola 12
Tuddeyo ku Kigambo – Tuddeyo Kulubereberye
12 / 18
"Naye ekigambo kya Mukama kibeerera emirembe n'emirembe. Era ekyo kye Kigambo ky'enjiri eky'abajulirwa." (1 Peetero 15:2)
Oluvannyuma lwe byassa mu biseera nga ekkanisa ye ggwanga yakwata ekitala ky'ensi era n'amanyi g'omwoyo aga kin'omu era n'amawanga gonna, okuzibwa obujja era n'okukomawo eri Baibul kyali ku kasitaze akawukanya ensi ne ggulu er enkomerero y'omulembe gwa wakati ogw'aliwo okuva mu kyassa kyo 5 okutuusa mu kye 15.
Mu kuzibwa okujja kwonna nga tekunaba era n'oluvannyuma lwo kulongoosa, abakkiriza ba Baibuli bava mu kkanisa ye ggwanga ne bayiganyizibwa nayo. John Wycliffe (1321-1384), eya kyusa Vulgate mu lulimi olungereza, yategeera amakulu ge Kigambo era neyenenya mulujudde, "Nga ddala bwe kinetagisa, kyokka ekyawandiikibwa mu Baibuli kye kituufu!" yawakanya ekifo ky'o bwa Papa n'alangirirwa okuba omuntu atakiriziganya na bulombolombo bw'enzikkiriza e'zagunjibwawo waddenga oluvannyuma lwe myaka 30 ng'amazze okufa. Ne John Hus (1370-1415) ya buulira okuva mu Baibuli oluvannyuma ng'amaze okufuna okutangazibwa n'asalawo okuwakanya byonna ebigambibwa-eby'obwa Papa. Ku ye, Baibuli yafuuka obuyinza bwokka obwe bibuuzo byonna eby'okukkiriza. Bw'atyo bwe ytawandika mu kiwandiko kye mu Yokaana 8:31-32: "Munoonye amazima, muwulire amazima, muyige amazima, mwagale amazima, yogera amazima, mubeere n'amazima, era mu wagire amazima okutuusa okufa!" Mu gw'omusanvu nga 6, 1415, oluvannyuma ng'asaliddwa ogw'okufa n'okuteesa kwa Constance, yawayo ememe ye eri omununuzi we Yesu Kristo nga bwe yayimirira wakati webyo ebyayimirizibwa, ebyamusibibwako, mu byonna ng'asaba Katonda okusonyiwa abalabe ba mazima.
Martin Luther yawakanya okukiriziganya ne by'okutunda okusonyiwibwa era n'abuulira okwenenya era n'okujibwako omusango okuyita mu kukkiriza. Bw'ekityo mu waka 1520, ya fuulumya ekiwandiko ekilimu okukubaganya ebirowoozo ku bituufu "Obuwambe bwa babulooni obw'ekkanisa" ya tambuza kye yali akkiriza nti si kamanyiso ko kukkiriza konna ake kkanisa naye kukkiriza Kristo kwokka kwe kukulembera ku bulokozi. Bw'atyo yali ye kwata kwe kyo, "Sola scriptura" – ebyawandiikibwa byokka! Ku nkomerero y'okwogera kwe mu kifo ekiyitibwa Imperial Diet of Worms mu gw'okuna nga 18, 1521, Martin Luther yayogera ebigambo bino ebimanyiddwa ennyo: "Okuggyako nga nsikiriziddwa n'obujulizi obwe byawandiikibwa oba ne songa entuufu (kubanga nze sesiga Papa oba mu kuteesa kwokka, nga bwe kimanyiddwa bulungi nti basobya era babuzabuzibwa bennyini), nasibibwa ne byawandiikibwa bye na nogola era n'okutegeera kwange kuwambe ne Kigambo kya Katonda. Si sobola era sirigyako kintu kyonna, kubanga si oba kilungi oba kituufu okuwakanya okutegeera kwange." Katonda asobole okunyambe. Amiina. Ku ntiko y'obutakkiriziganya mu by'omwoyo, omulongoosi yelaga mwennyini ng'akammwa ka Katonda okuwakanya papa era ne kkanisa.
Mu switzerland, okulongoosa, kwa funa obuwanguzi mu 1531 okuyita mu Huldrych Zwingli mu Zurich; Yokaana Calvin ya kiwagira okuyitamu mu Geneva mu 1536. Bo n'abala bangi bali ne kitundu kye bakola eri okulongoosebwa kwa baprotestanti mu bulaya yonna mu biseera ebyo. Abantu abaali bafuuka abakkiriza, abaali batekebwako akamanyiso nti "bawukana mu ndowooza ku bulombolombo obwateekebwawo n'enzikkiriza" n'amakkanisa aga gunjibwawo, bajja awamu buli wantu okusaba. Amakungganiro agajja okubaawo, nga mulimu Anabaptist, ba yitibwa "sects" era ne bayiganyizibwa.
Naye okulongoosebwa kwali tekusobola kudda mabega mu n'geri yonna, era ne byawandiikibwa ebitukuvu bya bikulwa ne bilangirirwa nnyo mu buziba ne mu bulambulukufu mu biseera by'okulongoosa okwajja mu byassa ebyadako. Ababuulizi abalongoosa nga Earl Zinzendorf ku lwe kkanisa ya Moravian, John wesley ku lwa ba Methodists, John smith ku lwa Baptists, Menno simon ku lwa Mennonites, William Booth ku lwa Salvation Army, era n'abala bangi bajja ne balabibwa. Abababuulizi bonna aba mazima ga Baibuli baali mu kukiriziganya bwe batuukanga ku kitiibwa kya Kabona omukulu owa Kristo. Ey'egulumiza mwennyini okusinga yenna ayitibwa Katonda oba asinzibwa, oyo Pawulo gya yita omwana w'okuzikirira (2 Abasessaloniika 2). Batekawo esira nti Ekigambo kya Katonda tekyogera oba ku "vicar of Christ" (Vicarius Filii Dei) oba eya "sikira Peetero," era n'abo ba tekawo esira enene ku Mukama waffe kye yayogera mu Matayo 23:9: "Era temuyitanga muntu ku nsi kitammwe(muleke yekka "Kitaffe Omutukuvu"): kubanga Kitammwe ali omu, ali mu ggulu."
Available translations
PDF
EPUB