Book
BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza
Ewald Frank
Navigate
Kapitel
expand_more
Navigate
Kapitel
Navigate
Kapitel
Jump to any chapter without leaving the reader.
Kapitel 10
O'kubatizibwa
10 / 18
Bino ebigoberera ebituufu bisigala nga ge mazima: we wataba kubikulirwa kwa bwa Katonda, awo tewabeerawo kwannjula eby'omu Baibuli, ekivamu okukubaganya ebirowozo n'okuvunuula. Ekyo kye kiri ku masomo ga Baibuli gonna, wadde n'okubatizibwa kw'amazzi. Lwaki okubatizibwa okuvira ddala mu kyassa ky'okuna tekukolebwa nga bwe kwakolebwanga ne Peetero mu Yerusalemi (Ebikolwa by'abatume 2:38), ne Firipo mu Samaliya (Ebikolwa by'abatume 8:16), era ne Pawulo mu Efeso (Ebikolwa by'atume 19:5)? Kubanga bajjajja be kkanisa tebategeera nti kiri eri linnya, omuli obulokozi bwa Katonda (Ebikolwa by'abatume 4:11), mu eryo abakkiriza mmwe bali batizibwa. Kubanga obutagtegera Katonda kyali, ekilagiro ky'okubatizibwa ekya tuweebwa ne Mukama waffe mu Matayo 28:19 nakyo kyafuusibwa mu nzikkiriza y'obussatu era ne mu bikolwa ekitalina mu kyenkomeredde kyakukola n'okutegeeza okwasooka naye nga bi kya kolebwa okutuusa ne leero.
Okubatizibwa kwa Baibuli kulugamizibwa n'okubuulira ekigambo, kubanga okukkirizza kuva mu kuwulirisa ekigambo kya Katonda (Ebikolwa by'abatume 2; Abaruumi 10:16-17; nebilala). Bw'atyo Mukama bwe ya kilagira mu kutumibwa okunene:
"N'abagamba nti mu nsi zonna, mubuulire enjiri eri ebitonde byonna. Akkiriza n'abatizibwa alirokoka…" (Makko 16:15-17). Buli abatizibwa akakasibwa okuba omukkiriza okufuna okusonyiwibwa okwe bibi bye.
Embeera embi eye byafayo bye kkanisa kulaze nti okutumibwa kwennyini okw'asooka okunene mu Matayo 28:19 kwa wandikibwa bw'ekuti: "Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lyange (onto onomatimou), nga mu bayigiriza okukwata byonna bye nabalagira mmwe…" bw'ekityo bwe kyawandiikibwa mu bigambo ebisembayo wansi ku kiwandiko ekya "Novum Testamentum Graece Et Germanice" kya wandikiibwa ne Nestle-Aland, 1973 we kya fuluumizibwa. Ekitabo ekimanyiddwa ensi yonna, "mu linnya lya Kitaffe, era n'omwana, era n'omwoyo omutukuvu" ekyo kye kisinga okukozesebwa mu makkanisa gonna ku bikolwa byonna ebimanyiddwa eby'emikolo, Tekisangibwa mu biwandiiko eby'asooka. Okwo kwe kumaliriza kw'okunonyereza okubi okwa Baibuli. Mu ku kyusa kwa Martin Luther, kyogera wansi we kiwandiko eri Matayo 28:19 "Ekigambo ekituufu ekyayogerwa kye "Kale mugende,era mufuule amawanga gonna, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe, era n'omwana era n'omwoyo omutukuvu…" Nga tetunabatiza okuyingira mu linnya, mmwe eryo Katonda mwennyini lye ya tegerebwamu nga Kitaffe mu mwana n'omwoyo omutukuvu, kirin'okubikkulirwa eri ffe mu lulimi olusinga okukozesebwa olwakyusaibwamu Baibuli mu lu Germany bw'ekityo kyogera nti: Nga mu babatiza mu linnya …" ebyo byennyini abatume bye bakola. Mu Baibuli, enkola y'obussatu tekozesebwa akaseera n'akamu, mu mazima, si na mulundi n'ogumu tusanga kino nga kikakasiddwa mu luyonnani-Germany “Interlinear-Translation:"
Peetero teyawa kunyonyola kuwanvu okukwata ku kubatizibwa mu kubuulira kwe okwasooka mu lunaku lw'okutandika ekkanisa y'endagaano empya: kyali kilambulukufu eri ye nga mwennyini eyawulira ekigambo ekyanamaddala okuva eri Mukama we, e'ngeri y'ennyini okubatizibwa bwe kuli n'okukolebwa. Bw'atyo bwe yakola okusinzira ku kutumibwa okunene okw'omununuzi eyazuukira n'alagira abakkiriza bonna okubatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo (Ebikolwa by'abatume 2:37-41).
Ku kakisa akadirira, nate ya buulira okusonyiwa:"Oyo bannabbi bonna bamulangako nga Buli amukkiriza aggibwako ebibi olw'erinnya lye." (Ebikolwa by'abatume 10:43) era buterevu n'okubatizibwa: "Omuntu ayinza okugaana amazzi bano okubatizibwa, bano abaweereddwa Omwoyo Omutukuvu nga ffe? (v. 47). "N'alagira babatizibwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo." (Ebikolwa by'abatume 10:48). Oluvannyuma lw'okubuulira kwa Pawulo, n'abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza aya kkiriza mu Yesu Kristo babatizibwa nate: "Bwe baawulira ne babatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu. Pawulo bwe yabassaako emikono Omwoyo Omutukuvu n'ajja ku bo, ne boogera ennimi ne balagula." (Ebikolwa by'abatume 19:5-6). Abatume era ne Buli muntu yenna mu bukristayo obw'edda yategera nti kiri eri erinnya, mu linnya nga mmwe muli obulokozi bwa Katonda, erinnya abakkiriza mmwe bali batizibwa.
Okukkiriza, okubatizibwa kwa mazzi, era okubatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu kuli wamu. Mu kubatizibwa kwa mazzi omukkiriza yenenya ebibi bye n'asalawo okukkiriza Kristo, era mu kubatizibwa kw'Omwoyo Katonda akakasibwa mwennyini eri omukkiriza. "Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, obva bayudaaya oba bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu." (1 Abakkolinso 12:13).
Ebyafayo bye kkanisa y'ensi awamu nga bwe fanana ejulira nti okuva ku bukristayo obw'edda okutuusa ku kyassa eky'okussatu, okubatizibwa kwa kolebwanga mu linnya lya Mukama Yesu Kristo lyokka era na kino nga banyikibwa omulundi gumu gwokka. Ng'ayogera eri abakkiriza mu Roma, omutume yawandika: "Oba nga temumanyi nga ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu, nga twabatizibwa okuyingira mu kufa kwe? Kyetuva tuziikibwa awamu naye mu kubatizibwa okuyingira mu kufa: (Ekyokulabirako nga banyikibwa [baptlisimo]), nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu olw'ekitiibwa kya kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya." (Abaruumi 6:3-4). "Bwe mwaziikibwa awamu naye mu kubatizibwa …" (Abakkolisaayi 2:12).
Mu bikolwa by'abatume 8:38 ba tu ggamba: "N'alagira eggaali okuyimirira: ne bakka bombi mu mazzi. Firipo n'omulaawe; n'amubatiza." bw'atyo ne Yokaana omubatiza bwe yabatizanga mu muga Yoludaani (si kumpi n'omuga Yoludaani): "Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi: laba, eggulu ne limubikkukira n'alaba Omwoyo gwa Katonda ng'akka ng'ejjiba, ng'ajja ku ye …" (Matayo 3:16).
Mu mwaka 337, Emperor Constatine bwe yali nga ali kumpi okufa ku kitanda kye eky'okufa mu kifo ekimanyiddwa nga Ankyron, Omulabirizi Eusebius yamansira otuzzi ku bwennyi bwe emirundi essatu ng'addamu okwogera e'nkola ey'obussatu. Okwo kwali kubatizibwa? Okuyita mu kikolwa kino, Constantine awo nti yafuuka omukristayo, newakubadde ya sinzanga katonda njuba wadde n'okutuusa ku kufa kwe. E'ngeri y'obussatu ya yongerwako ne bajjajja be kkanisa ab'omwoyo abazibe mu biseera by'okugunjawo enjigiriza y'obussatu. E'ngeri y'obussatu kwali kw'ogerako okutukiridde okw'enjigiriza ey'obussatu eya gunjibwawo ery'oke esobole okukola. Buno bwe "Bolombolombo bw'abaruumi obw'okubatizibwa."
Singa bajjajja be kkanisa mu kyassa ky'okussatu ne ky'okuna era mu byonna abasomi b'enzikkiriza bonna bandikoze ekilagiro ky'okubatizibwa nga Peetero bwe ya kikola ku lunaku lw'abapentakoti (Ebikolwa by'abatume 2) era nate ne Pawulo (Ebikolwa by'abatume 19:5), n'awo tewndibadde n'abutakwatagana n'akyo mu byonna. Naye, tewali n'omu ku bajjajja be kkanisa eyasobola okuwa obumalirivu mu kufuusa abanti eri Kristo oba obumanyirivu bwa mazima obw'obulokozi, buleke bwokka okutumibwa kw'obwa Katonda.
Mu Baibuli, Tusanga oba ejigiriza y'obussatu ey'abantu abassatu abataggwaawo oba okubatizibwa mu n'geri y'obussatu. Tewali kyawandiikibwa ne kimu mu ekyo tewali kikolwa wadde ne kimu eky'akolebwa mu n'geri "mu linnya lya Kitaffe era n'omwana era n'eryomwoyo omutukuvu" – si ne kimu! Buli kusaaba, mu butuufu, Buli kintu ky'akolebwa mu linnya lya Mukama, kubanga ekyo kye kyali ekilagiro eky'aweebwa eri abakkiriza mu Bakkolosaayi 3:17: "Era Buli kye munakolanga, mu Kigambo oba mu kikolwa, mu kolerenga byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu …"
E'ngeri y'obussatu ekozesebwa mu ma kkanisa gonna ku lw'ebikolwa byonna eby'enzikkiriza oba mukolo, ebyo ebirimu byonna e'ntegeka era awasulibwamu, wadde ne misomo gye byawandiikibwa, era ne byonna ebilala ebingi okuyita mu by'okusama ku bintu binji eby'enzikkiriza. Si kya byawandiikibwa; n'olw'ekyo kisobola kuba nga si kya Baibuli kyokka. Si kya bwa Katonda eky'asooka; n'olw'ekyo, kusikirizibwa kwa bulimba era kulimbibwa. Buli muntu alina okukilowoozako, n'abo abakola eby'okusikiriza abakozesa erinnya "Yesu Kristo" mu kusaabira abalwadde naye nga bagaana okubatizibwa mu linnya lya Mukama Yesu Kristo.
Naye, ba kristo b'obulimba ne bannabbi b'obulimba bali n'okulabika kulwe'kyo Mwkama waffe kye yayogerako kisobole okutuukirizibwa: "Bangi abaligamba ku lunaku luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo? Ne ndyoka mbaatulira nti sibamanyangako mmwe: muve wendi mmwena abakola eby'obujeemu." (Matayo 7:22-23).
Ani asobola okutegeera kyonna mu bujuvu nti mu bukristayo bwonna tewali bulambulukufu ku kuyigiriza kwo Bulamba bwa Katonda, okubatizibwa, era ne ky'egulo kya Mukama, newakubadde nga byawandiikibwa burungi mu Baibuli? Kino kye kyokka kubanga abantu tebaasigala mu jigiriza ya Kristo era n'abatume. Mu kwewunya, okubikkulirwa okw'asooka, nga bwe kwaweebwa eri abatume kwabuzibwa edda mu byassa by'obukristayo eby'asooka. Ebirowoozo by'obufuzi n'ezikkiriza by'agattibwa wamu mu bukristayo ne bajjajja be kkanisa.
Omusomi w'enzikkiriza amanyiddwa-obulungi Hans Kung yamala esomo lino ery'omugaso mu kitabo kye Das Christentum (Abantu abali wansi w'obukristayo), ekirimu empapula ezisuuka olukumi. Ku lupapula 126 ya buuza ekibuuzo: “Waliwo ko we kya yogerwa ku bussatu mu ndagaano empya?" mu kaseera kennyini awo oluvannyuma n'awandika: "Tewali Jigiriza ya Bussatu mu Ndagaano Empya" Naye akubaganya ebirowoozo ku "Comma Johanneum": "Kubanga waliwo bassatu abawa obujulizi mu ggulu, Kitaffe, Ekigambo, era n'Omwoyo Omutukuvu: era bino ebissatu biri Omu." Kung anyonyola: "Naye, okunonyereza kwe byafayo-okwekalirifu kulaze nga ekiwandiko kino kya tekebwawo mu bukyamu ekya tandikibwa mu kyassa ky'okussatu oba eky'okuna mu mambuka ga Afrika oba mu Spain. Tekyali kya mugaso ku bitongole bya baruumi ebyali n'obuyinza nga bwe kyagezako okutekawo akabega eri ekiwandiko kino ng'okuba eky'obuyinza wadde ku lubereberye lwe kyassa kyaffe. Mu bigambo by'olwatu, tekirina kye kitegeeza okusinga kino: mu bukristayo bwa judeo, mu butuufu, mu ndagaano empya yonna, waliwo ddala okukkiriza mu Katonda, Kitaffe; mu Yesu, ne mu mwana; era ne mu mwoyo omutukuvu owa Katonda, naye tewaliwo jigiriza ya ba katonda abantu abassatu (e'ngeri zo kubaawo), tewali jigiriza ey'aba katonda abassatu oba ey'obussatu." (olupapula:126-127).
Available translations
PDF
EPUB