Book
BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza
Ewald Frank
Navigate
Kapitel
expand_more
Navigate
Kapitel
Navigate
Kapitel
Jump to any chapter without leaving the reader.
Kapitel 11
Emmere ya Mukama waffe
11 / 18
Abantu abalina enzikkiriza etakwatagana n'aya Katonta bateekamu ebirowoozo byabwe n'abyo ne bigobeerera mu majaguza ge mmera ya Mukama. N'olw'ekyo si kya kwekanga nti bino ebiriwo obutabanguko bw'okusomesa eby'enzikkiriza ku soma lino ba bitandika edda, mu biseera era n'oluvannyuma lwe biseera by'okulongoosa.
Mu kusobola okutegera ekituufu ekikwata ku mmere ya Mukama waffe, omu ali n'okusoma ebyawandiikibwa ebikwata kw'ekyo. Abakristayo abedda ba yita emmere ya Mukama waffe mu bugonvu "okumenya omugaati." n'abo ba kungaana kulwe kigendererwa kino mu makka ga Buli muntu (Ebikolwa by'abatume 2:42-47; Ebikolwa by'abatume 20:7). Yali ku mbaga y'Okuyitako Mukama waffe bwe ya yannjula emmere (Yokaana 13; Matayo 26; Makko 14). Mu kuva 12, Mukama Katonda bwe yawa ebyokulabirako ku mbaga esooka ey'okuyitako, ya yayita abantu ba Isiraeri "kkanisa" (Ecclesia = aba yitibwa) omulundi ogusooka. Okusooka, endiga yalina okusooka okuweebwayo era omusaayi ogwayuwibwa gwalino kuteekebwa ku milyango zaabwe kulwo bukumi bwabwe: "Awo omusaayi gulibabeerera akabonero ku nnyumba ze mulimu: nange bwe ndilaba omusaayi, ndibayitako …" (Okuva 12:13). Ennyama y'endiga ya teekebwateekebwa n'eribwa awamu nga temuliimu kizimbulukusa. Pawulo yalaga kino mu 1 Abakkolinso 5:7, bwe yawandika: "Mujeemu ekizimbulukusa eky'edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya nga temuliimu kizimbulukusa. Kubanga era n'okuyitako kwaffe kwattibwa, ye Kristo …"
Mu Yokaana 6 tusanga olugero olw'enjawulo Mukama we ya tekawo akabonero k'emmere eri ye mwennyini: "Nze mmere ey'obulamu … nze mmere ey'amazima eva mu ggulu (okusooka ye mmere, nate gyigaba), omuntu bw'alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe emmere gy'endigaba gwe mubiri gwange, olw'obulamu bw'ensi … bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa muntu ne munywa omusaayi gwe, temulina bulamu mu mmwe. … alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo."
Mu Matayo 26 abayigirizwa ba buuza, "Oyagala tuteekereteekere wa okuyitako gy'onookuliira?" (vv. 17-19). "Era baali bakyalya, Yesu n'atoola omugaatti, neyeebaza, n'agumenyamu; n'awa abayigirizwa, n'agamba nti mutoole, mulye; guno gwe mubiri gwange." (v. 26). nate kijja akanyiri ka 27: "N'atoola ekikompe, neyeebaza, n'abawa, ng'agamba nti munywe ku kino mmwena." nate yekka n'agamba, "Kubanga kino gwe musaayi gwange ogw'endagaano oguyiika ku lw'abangi ol'wokuggyawo ebibi." (bilabe ne mu: Makko 14:24-25). Omugaati gw'alibwa; envinnyo n'enywebwa. Mu kulaga envinnyo mu kikopo, Omununuzi waffe n'agamba, "Naye mbagamba nti sirinywa n'akatono kusooka leero ku guno ogubala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lw'endigunywa omuggya awamu n'ammwe mu bwa Kabaka bwa Kitange." (Matayo 26:29).
Omununuzi yayuwa omusaayi gwe era bw'atyo yatusonyiwa ebibi byaffe era n'okutabagana ne Katonda. Omugaati n'envinnyo tebisobola era tebyagala ku kyusibwa; kristo tasobola era talina kutiibwa nate; yakikola lumu kulwa byonna. Okusinzira ku ntegeka y'obwa Katonda ey'obulokozi, "… naye olw'omusaayi gwe ye, nayingirira ddala omulundi ogumu mu watukuvu, bwe yamala okufuna okununula okutaggwaawo." (Abaebbulaniya 9:12). Amiina.
Eky'okulabirako ekikulu kyawandiikibwa dda mu Eby'Abaleevi 17:11: "Kubanga obulamu bwe nnyama buba mu musaayi …" mu musaayi gw'omununuzi mwalimu obulamu bwa Katonda, obutaggwaawo. Era ne mwabo bonna abanunulibwa n'omusaayi gw'Omwana wa Katonda era n'ebazaalibwa omulundi ogw'okubiri okuyita mu Kigambo n'Omwoyo (Yokaana 3:3; Yakobo 1:18; 1 Peetero 1:23), mu bo mmwe muli obulamu bwe obumu obutaggwaawo obwali mu mwana wa Katonda (1 Yokaana 5:11-13). Pawulo yakiwandika mu n'geri nti kitegerekeka mu bugonvu eri Buli muntu yenna mu 1 Abakkolinso 10:16-17): "Ekikompe eky'omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kusseekimu omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenyaamenya si kwe kusseekimu omubiri gwa Kristo? Kubanga ffe abangi tuli mugaati gumu, omubiri gumu: kubanga fenna tugabana omugaati gumu."
Mu 1 Abakkolinso 11:23-34 omutume ya wandika: "Kubanga Buli bwe munaalyanga ku mugaati guno, ne lwe munaanywanga ku kikompe, munaayolesanga okufa kwa Mukama waffe okutuusa lw'alijja. Kyanaavanga azza omusango ogw'omubiri n'omusaayi gwa Mukama waffe Buli anaalyanga ku mugaati oba anaanywanga ku kikompe kya Mukama waffe nga tassanidde, omusango gwe ye bwatayawula mubiri." (vv. 26-27)Okujaguza kwe mmere ya Mukama waffe bye biseera by'okutuuka kuntiko mu kusinza. Buli muntu yenna eyekebeja mwennyini eri Katonda n'asaba okusonyiwibwa. Mu bumalirivu Okusaba n'okwewayo emmere ya Mukama waffe ejaguzibwa mu kujukkira omubiri gwe nga ekiwebwayo era olw'omusaayi gwe omutukuvu, gwe yayuwa ku lw'affe. Omugaati, ogukolebwa omutali kizimbulukusa, guwebwa omukisa n'okusaba era negumenyebwa mu lukungana ne guweebwa; ekikompe bw'ekityo n'akyo kiwebwa omukisa n'okusaba ne kiweebwa Buli muntu yenna. Bw'ekityo bwe kya kolebwa n'abakristayo abasooka era bw'ekityo bwe kya lekebwa eri ekkanisa y'endagaano empya.
Available translations
PDF
EPUB