Book
BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza
Ewald Frank
Navigate
Kapitel
expand_more
Navigate
Kapitel
Navigate
Kapitel
Jump to any chapter without leaving the reader.
Kapitel 9
E'kubo ly'obumaliruivu
9 / 18
Bajjajja be kkanisa abava mu bukafiri baali mu bungi oba mu butono wansi w'okusikirizibwa kwe biseera by'okusinza ebifaananyi oluvannyuma lw'okufa kwa Alexander omuyonani era n'enzikkiriza ya credulous mu kwefaananyiza n'obwa Katonda. Okusingira ddala tebategera oba te bagendera ku ndagaano enkadde era n'olwekyo ne ba vunuula endagaano empya okusinzira ku kutegeera kwabwe bennyini, ba jweteeka eby'obulimba ku bayudaaya, abali tebakkiriza jigiriza yaabwe ey'obussatu, nga babayita abatemu ba Kristo era aba Katonda era nebabayiganya ne baba kolimira mu n'geri eyagunjibwawo ey'obussatu "mu linnya lya kitaffe, era ne mu yo mwana, era ne mu y'omwoyo omutukuvu." Kyali dda mu 321, bali baganibwa dda okukwataabbiiti okuyita mu kilagiro ky'abantu, newakubadde nga Katonda yali yabalagira okukwatanga ssabbiiiti: "Abaana ba Isiraeri kyebanaavanga bakwata ssabbiiti, okwekuumanga mu mirembe gyabwe gyonna okuba endagaano etaliggwaawo. Kale kabonero wakati wange n'abaana ba Isiraeri ennaku zonna: kubanga mu nnaku mukaaga Mukama yakola eggulu n'ensi, ne ku lunaku olw'omusanvu n'awummula, n'aweera." (Okuva 31:12-18). Amasinzizo gaabwe amalala gakozesebwanga nga makumiro ga bizi. Okwo kwe kwali entandikwa y'okuuboola abayudaaya eyasigibwa mu kkanisa ebaddewo okutuusa ne leero. Mu biseera nate kivuddemu okutilibula ab'enzikiriza endala, era kyatuuka ku ntiko yakyo mu kuttibwa okwaliwo mu sematalo ow'okubiri mu biseera byo "kufuga kwa ba nazzi mu Germany" okuva mu 1933-1945.
"Mu kussa ekitibwa mu bussatu," emisango ezisingayo obubi zazibwa ku bantu banji ebenjawulo ab'enzikkiriza endala. Mu kubuuli okwenjiri okw'omubisawe okw'omusanvu wakati wa (AD 1096 era ne1270), obukadde bwa bantu bw'afira mu linnya lya "Katonda ow'obussatu." mu gw'ekumi n'ogumu 27, 1095, papa Urban 2 yayita okugoba oyo yenna "atakkiriza" okuva mu Yerusalemi era ne batwala ebifo ebyali ebitukuvu, era abantu abayitibwa: "akabonero ka ba Catholic." – "Katonda akyagala!" kulw'okutano, ogw'omusanvu nga 15, 1099, okutta abantu okunene mu mikono gyabo abakuliranga okutta abantu b'enzikkiriza endala okw'atandikira mu Yerusalemi: okutuuka 80,000 abayisiramu, abayudaaya, nabalala battibwa nabano abattanga abantu ab'enzikkiriza edala – era ebyo byonna "ku lw'ekitibwa kya Kitaffe, era ne ky'omwana, era ne ky'omwoyo omutukuvu"!
Abattanga abantu b'enzikkiriza endala baali ne kigendererwa kyo kukomya obufuzi bwa bayisiramu mu Yerusalemi era n'okutekawo obuyinza bwe kkanisa. Kye baali bawandika kyali kyibakwatako kw'ekyo kye bayita "Ekkanisa ye kisenge ekitono ekibajje okuva mu lwazi" wakati w'ekibuga. Mu mazima, naye amalalo agatalimu Kristo gasangibwa wabweeru we kibuga: eno y'engeri omubuulizi Yokaana bwe yakiwandika: "Awo mu kifo we yakomererwa waaliwo olusuku; ne mulusuku mwalimu entaana etannaba kuteekebwamu muntu." (Yokaana 19:17+41; Matayo 27:32). Mu biro ebyo, Bali balubiridde okutondawo entegeeka empya ey'obukristayo mu nsi ne "Obwakabaka bwa Yerusalemi" wansi w'omufuzi owa Gottfried von Bouillon.
Mu kifaananyi ekilagibwa wansi, naffe tulaba obungi bwa bantu abatusibwako obuzibu ne kubamu abattanga abantu b'enzikkiriza edala. Akasitaze ka wakati kalaga omuwendo gw'ennyini ogw'abo abetabanga mu kutta abantu b'enzikkiriza edala; akasitaze akasembayo kalaga omuwendo gwa bantu abo abaali basemberedde okutuuka mu kifo ekyo ekitukuvu kye bakungganirangamu.
|
Kreuzzug |
Teilnehmer |
Teilnehmer (im Heiligen Land angekommen) |
|
1. Kreuzzug (1096/99) 2. Kreuzzug (1147/49) 3. Kreuzzug (1189/92) 4. Kreuzzug (1202/04) 5. Kreuzzug (1228/29) 6.Kreuzzug (1248/54) 7.Kreuzzug (1270) |
330000 |
40000 90000 280000 ___ 60000 10000 10000 |
|
Insgesamt |
1070000 |
490000 |
(Source: Alfred Lapple, Illustrierte Geschichte der Kirche)
Waliwo ebirowozo bingi ku muwendo gwa bantu abattibwa wakati we byassa bye 13 era ne 18, abo abaali ku battibwa n'abano-abayitibwa "ekibina kyabalina obuyinza mu nzikkiriza y'obucatholic"; mu ngeri yonna bali nkumi. Oluvannyuma lwa bayudaaya bangi nga bamaze okuttibwa era nga nabala bangi nga badduse abo bonna abatayagala okuyingira mu nzikkiriza y'obucatholic bali balina okwamuka Spain mu gw'omusanvu nga 31, 1492. Awo oluvannyuma Spain e catholic yalangirirwa okuba "Etalimu Bayudaaya."
Ekibinga kyabattemu nakyinku abaali mu nzikkiriza y'obucatholic mu biseera by'ekiro ky'ogwomunana nga 23/24, 1572, lwe lwali entandiikwa yo kutta okw'abantu enkumi n'enkumi za baprotestanti mu Bufalansa. Mu biseera by'okuziyiza okudabulura okwaliwo mu kyassa kye 16 era ne 17 ekilagira ddala emabega eri Ignatius owa Loyola (1491-1556), enkumi n'enkumi za baprotestanti banggibwa mu maka gaabwe na lyanyi era bangi bafirwa obulamu bwabwe. "Kubanga," kya yogerwa emirundi n'emirundi, "nti tewali bulokozi awatali kkanisa." Ekkanisa etengamiddwa n'omusaayi omungi kisobooka kitya okukiteeka mu mateeka ga Kristo era ne Katonda ow'okwagala? Eri kibuga ki Okubikkulirwa 18:24 kye kwali kutregeeza: "Era n'omusaayi gw'abannabbi n'abatukuvu n'ogwa boona abattibwa ku nsi gwalabika mu Ye."? Ekyo kye kyali ekibuuzo ekyalagibwa n'ababuulizi abazza obuggya.
Ku kusemberera okubuuzibwa, tewali kintu mu kkanisa ye ggwanga, ekyabaawo mu kyassa ky'okuna mu bwakabaka bwa Baruumi, obuli mu kukiriziganya ne Katonda oba ekigambo kye era n'ekkanisa eyasooka. Okusingira ddala oluvannyuma lw'okwawuka kwe kkanisa mu 1054 mu kkanisa y'ebuvanjuba bwa buyonaani era n'eyo ekkanisa ye bujwanjuba, oluvannyuma ekya wa okuyimuka kwe kkannisa y'obucatholic era n'amakkanisa g'aba Orthordox, Bombi beyongeera mu kuzimba obuwangwa bwabwe bennyini awatali ku wuulirisa Baibuli n'ebyo Peetero, Yokaana, Yakobo, ne Pawulo kye balangirira, ne bayigiriza, n'ebakola nga abatume abatumibwa ne Katonda. Abatume te ba, ekyokulabirako, okulungisa n'okulangirira abantu abafu okuba abatuukirivu. Bw'atyo, Mukama mwennyini yayigiriza obubaaka bwe, nga bulimu emikisa mwenda ezabalibwa ne Yesu mu kubuulira kwe ku lusozi (Matayo 5) eri abalamu: "Naye amaaso gammwe gali n'omukisa, kubanga galaba; n'amatu gammwe kubanga gawulira." (Matayo 13:16)
Okutabagana n'abafu mu bulambulukufu tekikirizibwa mu byawndiikibwa ebitukuvu (Ekyamateeka Olw'okubiri 19:31). Malyamu yali atukiriza omurimu ggwe n'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo era kyogerwako omulundi ogusembayo mu bikolwa by'abatume 1:14, bwe yali ku abo 120 abali balindiridde okufuukibwa kw'amafuta mu Yerusalemi. Kulwe kkanisa ya Yesu Kristo tabangako mutabaganya oba muwolereza, era tekiriwo "Maria ajudde enema" kyadibwami mu nnaku ezedda ez'obukristayo. Ebyawandiikibwa ebitukuvu bijulira kwe kyo kyokka okutwalibwa kw'omubiri gw'omununuzi mu ggulu (Lukka 24:50-52; Ebikolwa bya batume 1:11), si kutwalibwa mu ggulu okwa Malyamu.
Available translations
PDF
EPUB