KATONDA N'entegeka Ye N'abantu
Buli musomi wa Baibuli amanyi nti mu ndagaano enkadde Mukama Katonda alagibwa nga Kabaka. Dawudi yasaba, "Wulira eddoboozi ly'okukaaba kwange, Kabaka wange, era Katonda wange: Kubanga nkusaba ggwe." (Zabbuli 5:2). Nnabbi Yeremiya n'agamba, "Naye Mukama ye Katonda yennyini ow'amazima; oyo ye Katonda omulamu, era Kabaka ataggwaawo." (Esula 10: 10). Nnabbi Isaaya akilaga bw'ati, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Kabaka wa Isiraeri, era omununuzi we Mukama ow'eggye” (Esula 44: 6).
Mu Zekkaliya 9:9, tusanga ekisuubizo eky'omununuzi, “Sanyuka nnyo, ggwe omuwala wa sayuuni: yogera wa ggulu ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba, kabaka wo ajja gy'oli; ye mutuukirivu era alina obulokozi …” Mu ndagaanon empya, okutukirizibwa kw'ekyayogerwa kino kiri mu Matayo 21: 1-4. Obungi bw'abantu bategeera nti Kabaka wabwe yali ayingira ekibuga kya Yerusaalemi. Emitima gyabwe gy'ali gijuziddwa essanyu, bagezako okugilaga mu ngeri y'ebikolwa, nga banyumya olugudo era nga baleekana.. "Hozana Omwana wa Dawudi! Alina omukisa ye ajjira mu linnya lya Mukama! Hozana mu oyo asinga obukulu!”
Omununuzi bwe yazaalibwa, abasajja abagezi bajja e Yerusaalemi nga babuuza, “Ali ludda wa oyo eyazaalibwa Kabaka w’Abayudaaya?” (Matayo 2:2). Mukama waffe bwe yayimirira mu maaso ga Piraato, yabuuzibwa, “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” (Yokaana 18: 33). Piraato nate n'abuuza, “Ggwe Kabaka? Awo, Yesu n'addamu nti Oyogedde, kubanga nze Kabaka. Nze nnazaalirwa ekyo, n'ekyo kye kyandeeta mu nsi ntegeeze amazima. Buli ow'amazima awulire eddoboozi lyange.” (akanyiriri 37).
Mu ngeri y'emu, nga Mukama Katonda bwe yayitibwa Kabaka mu ndagaano enkadde, Yesu Kristo ayitibwa Kabaka mu ndagaano empya. Pawulo akimaliriza mu ngeri esinga obulungi ne bigambo bino, “Era Kabaka ow'emirembe n'emirembe, ataggwaawo, atalabika, Katonda omu, aweebwenga etendo n'ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.” (1 Timoseewo 1:17). Kale buwanvu bwa ngeri ki amagezi n'amagezi ga Katonda! Naye kitwalira ddala okusuka okusoma busomi ebyawandiikibwa. Kitwala okubikkulirwa kw'obwa Katonda okumanya Katonda. Kitwetagisa ffe okukkiriza nti Katonda yebikula mwennyini okuyita mu Kristo. Mu ngeri bw'etyo yokka mwe tusobola okutegera ebyawandiikibwa n'okubiteeka mu butuufu bwa byo.
Obwakabaka obwa langirirwa mangu ddala bugenda kubeera ku nsi. Bwa yogerwako mu byawandiikibwa eby'obunnabbi. Mu zabbuli 47: 6-8, tusoma, “Muyimbe okutendereza Katonda, muyimbe okutendereza Kabaka waffe, muyimbe okumutendereza. Kubanga Katonda ye Kabaka w'ensi zonna: Muyimbe okumutendereza n'amagezi. Katonda afuga amawanga: Katonda atuula ku ntebe ye entukuvu.” Katonda ye Kabaka omukulu, era n'obwakabaka bwe buli beera ku nsi yonna. Zabbuli 96: 9-10 agamba, "Kale mumusinze Mukama mu bulungi obw'obutukuvu. Mukankane mu maaso ge, mmwe ensi zonna. Mwogerere mu mawanga nti Mukama afuga: Era n'ensi enywera n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana: Alisalira amawanga emisango egy’ensonga." Ebitonde byonna birindiridde akaseerako akanene.
Mu kubikkulirwa 11: 17, okulangirirwa kukolebwa, “Nga boogera nti Tukwebaza Ggwe Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna abaawo era eyabaawo; kubanga otutte amaanyi go amangi n'ofuga.” nate tulaba nti ebiseera ebimu Kabaka ayogerwako nga Katonda era n'okuba Mukama Yesu Kristo, era tumanyi waliwo Kabaka Omu yekka era n'obwakabaka bumu. Mu Matayo 25: 31-32, tusoma, “Naye Omwana w'omuntu bw'alijjira mu Kitiibwa kye, ne bamalayika bonna nga bali naye, awo bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye: n'amawanga gonna galikunggaanyizibwa mu maaso ge.” nate tusobola okubuuza ani alina okutuula ku ntebe. Mu Zekkaliya 14: 9, “Era Mukama aliba kabaka w'ensi zonna: ku lunaku luli Mukama alibeera omu n'erinnya lye limu.” mu kwegatta ku kino nakyo kiri eri ekilango ekisangibwa mu Kubukkulirwa 15: 3, “Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow'emirembe n’emirembe.” Twandyeyongedde okuwa eby'okulabirako mu byawandiikibwa ku somo. Byombi, Mukama Katonda era ne Mukama Yesu, byonna bitegeza Kabaka. Singa si kituufu nti Yakuwa w'endagaano enkadde ye Yesu w'endagaano empya, singa si kituufu nti Mukama ye Katonda, awo twandibadde ne bakabaka babiri ab'enjawulo. Ekyo mubutuufu tekisooboka.