KATONDA N'entegeka Ye N'abantu

Omulamuzi

« »

Ebyawandiikibwa bingi bijulira ku Katonda okuba Omulamuzi; mu ngeri y'emu tusanga Mukama ng'alagibwa okuba Omulamuzi. Zabbuli 50: 6 agamba, “… Katonda ye mulamuzi yennyini” Zabbuli 58: 11, “… Mazima waliwo Katonda asala omusango mu nsi.”” Nnabbi Isaaya ya wandika mu sula 33: 22, “Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama ye muteesi w'amateeka gye tuli, Mukama ye kabaka waffe, ye alitulokola.” Ye omu oyo eyawa amateeka alisala omusango okusinzira ku mateeka ge. Mu ndagaano empya Yokobo akilaga bw'ati, “Eyateeka amateeka era omusazi w'omusango ali omu, oyo ayinza okulokola n'okuzikiriza.” (Esula 4:12). Nnabbi Yeremiya naye ayogera ku Mukama ng'Omulamuzi: “Naye, ai Mukama w'eggye, asala emisango egy'ensonga …” (Esula 11: 20). Mu nkomerero y'obulamu bwe, Pawulo ng'agamba, “ekisigaddeyo, enterekeddwa engule ey'obutuukirivu, Mukama waffe gy'alimpeera ku lunaku luli.” (2 Timoseewo 4:8). Mu Yokaana 5:22 ki ggamba, “Kubanga Kitange n'okusala tasalira muntu musango, naye yawa Omwana okusala omusango gwonna.”

Mu Bikolwa by'abatume 10, Peetero bwe yali abuulira mu nnyumba ya Cornelius, ya yogera nti Yesu Christ ye mulamuzi w'abalamu n'abafu. Kigerageranye ne Abaebbulaniya 12: 23, awo Katonda ayogerwako ng'omulamuzi, “… n'eri Katonda Omulamuzi wa bonna …" Nate omu yandibuuziza, ani awo e yandibadde omulamuzi. Mu mazima ddala Omulamuzi ali omu yekka, nga bwe wali omuteesi w'amateeka omu. Oba tusoma ku Katonda, oba ku Mukama, oba ku Kitaffe oba Omwana, te kikola njawulo yonna. Buli kiseera ye Omu oyo kye kitegeza. Tulina okukitegeerera ddala emirembe gyonna nti tukolagana ne Katonda Omu yekka, oyo gye tulaba mu kulabisibwa okw'enjawulo.