Book

Abantu ba buuza ebibuuzo Katonda abiddamu Ne Kigambo kye N'omuweereza

Ewald Frank

library_books Kapitoly: 34 calendar_month 7. 9. 2006

Navigate

Kapitoly

expand_more

Navigate

Kapitoly

Jump to any chapter without leaving the reader.

EBIBUUZO EBY'ABUUZIBWA ERI OW'OLUGANDA EWALD FRANK N'ABAWEEREZA OKUVA MU MAWANGA AG'ENJAWULO 1 Kibuuzo 1: Oyimiridde wa leero ku buweereza bwo w'oluganda Branham? 2 Kibuuzo 2: Bigambo ki byennyini eby'atumibwa William Branham? 3 Kibuuzo 3: Okukkirizakwo kuli kutya ku bikwata ku bubbaka bwe biro by'enkomerero? 4 Kibuuzo 4: Otereza nnabbi mu nsonga endala? 5 Kibuuzo 5: Eky'enkomeredde kyo kye ki Baibuli oba bubbaka? 6 Kibuuzo 6: Oyigiriza mu n'geri y'enjawulo etakwatagana ne y'ow'oluganda Branham gye yayigiriza? 7 Kibuuzo 7: Okkiriza mu kubikkulwa kw'obubonero omusanvu? 8 Kibuuzo 8: Akabonero k'omusanvu nako ka bikkulwa? 9 Kibuuzo 9: Okkiriza nti Okubikkulirwa 10:1-7 kw'atukkirizibwa mu 1963? 10 Kibuuzo 10: Okkiriza nti Ow'oluganda Branham yafuna okubikkulirwa kw'ebibwatuka omusanvu? 11 Kibuuzo 11: Lwaki Ow'oluganda Branham ya yogera ng'adigana ku "Okusikibwa kw'okusatu"? 12 Kibuuzo 12: Lwaki Ow'oluganda Branham emirundi minji alaga Okubikkulirwa 10, akanyiriri ko 7? 13 Kibuuzo 13: Okkiriza mu buweereza bw'omubaka w'omunana? 14 Kibuuzo 14: Okkiriza mu jigiriza yo "kujja kwe mu mubiri" 15 Kibuuzo 15: Okkiriza nti Omwana W'omuntu yamala okujja okusinzira ku Lukka 21:27? 16 Kibuuzo 16: Obuweereza bwo buli butya? Busangibwa mu byawandiikibwa? 17 Kibuuzo 17: Obuulira ebuulira z'ow'oluganda Branham? 18 Kibuuzo 18: Emmere y'omwoyo ye liwa, Okubuulira kw'ow'oluganda Branham oba Baibuli? 19 Kibuuzo 19: Ani ali kikirira Ekkanisa ye biro ebisembayo eri Mukama? 20 Kibuuzo 20: Weyisa otya ku abo aba kw'ogeerako bubi? 21 Kibuuzo 21: Ow'oluganda Branham ya yigirizako "Okuwassa abakazi abangi"? 22 Kibuuzo 22: Okuyigiriza kwo kuli kutya ku kuwassa n'okugoba? 23 Kibuuzo 23: Kiri kitya ku makka g'omuddu wa Katonda? 24 Kibuuzo 24: Kiri kitya ku kitabo kye mirembe musanvu gy'ekkanisa? 25 Kibuuzo 25: Ebanga lya buli mulembe ku mirembe omusanvu egy'ekkanisa bya bikkulwa eri Ow'oluganda Branham? 26 Kibuuzo 26: Ow'oluganda Branham yawa obunnabbi nti 1977 lwe lw'ali lugenda okuba e'nkomerero? 27 Kibuuza 27: Ow'oluganda Branham yalaba Kalenda eya komenkereza n'omwaka 1977? 28 Kibuuzo 28: Okubatizibwa n'omwoyo omutukuvu kw'ekumu ng'okuzaalibwa omulundi ogw'akubiri? 29 Kibuuzo 29: Kiri kitya ku kw'olesebwa kwe kumi Ow'oluganda Branham kwe yalina? 30 Kibuuzo 30: Ekintu eky'alabibwa mu kw'olesebwa kisobola okusigala nga tekitukiriziddwa? 31 Kibuuzo 31: Njawulo ki eri wakati wa Isiraeri ne Kkanisa? 32 Kibuuzo 32: Kitundu kye tulimu kaakano okusinzira ku ntegeka ey'obulokozi? 33 Okumaliriza 34

Kapitola 17

Kibuuzo 16: Obuweereza bwo buli butya? Busangibwa mu byawandiikibwa?

17 / 34

Okuddamu: Singa obuweereza Mukama bwe y'ateekawo eri nze tekusangibwa mu byawandiikibwa, sandibadde nabuyinza bwa Katonda okumuweereza. "Era Katonda yassaawo mu kkanisa abalala okusooka abatume, ab'okubiri bannabbi, obokusatu bayigiriza …" (1 Abakkolinso 12:28). Ow'oluganda Branham ya ggamba, "Tewali muntu yenna alina buyinza kubuulira okujjako ng'olinga Musa, amusinsinkana wabweeru eyo mu kifo ekitukuvu …" (Amakka amaggya, olupapula 37). Buli muntu yenna ayitibwa ne Mukama amanyi olunaku ne ssaawa ey'okuyitibwa kwe era ne bigambo mu butuufu eby'okutumibwa kwe. Obujulizi bwange bumanyiddwa ensi yonna. Bwa wandikibwa mu kitabo ky'oluGermany ekya "Eddoboozi ly'okuwonyezebwa" mu gw'okusatu mu 1963. Abajulizi babiri, Fred Sothman era ne Banks Woods, baaliwo mu mwezi gw'ekkumi nebiri 3, 1962, Ow'oluganda Branham n'okubikkulirwa kwa Katonda y'addamu kigambo ku kigambo ku ekyo Mukama kye yayogera nange mu gw'okuna nga 2, 1962. Emirembe gyonna gya kujjukira akaseera ako, Nnabbi bwe ya ggamba, "Ow'oluganda Frank, tewategeera Mukama kye ya ggamba. W'alowooza nti wajja kubaawo enjala y'emmere n'otereka emmere." Awo ne yeyongeera, "Mukama alituma enjala y'okuwulira Ebigambo bye. Emmere yolina okutereka kye Kigambo ky'olunaku luno … kiri mu bubaka obwatekebwa ku ntambi … naye kumilira okugigaba okutuusa ng'ofunye endala yonna …" Okutumibwa kwe nafuna kwa bikula bibiri: Okusooka, okugenda kibuga ku kibuga okubuulira Ekigambo era ne ky'okubiri, Okugaba emmere y'omwoyo.

N'okugabirira kwa Katonda kya tukirira nti Ow'oluganda Don Bablitz yajja okundabo mu biseera nga mbeera mu Edmonton mu makka ga Wittmeier's mu 137 nga kye kifo mu gw'omunana 1976. ye yali omu awamu n'ekibinja kya bantu, mu myaka eyali aweereza ebuulira z'ow'oluganda Branham eri endagiriro gye nazifunirangako mu biseera nga kyalidde amawanga ag'enjawulo. Ku lw'omukaaga olwo ku makya n'agamba, "Ow'oluganda Frank, tulaba obuweereza bw'oluganda Branham mu Baibuli ate obubwo? Nabwo busangibwa mu byawandiikibwa? "n'emuddamu nga mugamba, ggwe, lekerawo. Ekyo tokigamba. Obuweereza bwange buba butya mu Baibuli? …"

Osobola okukikkiriza oba n'edda, naye olw'enkya olw'addako nakera okuzuukuka, ne nyambala,n'entula wansi ku buliri bwange era n'etuuka awaali Baibuli okugifuna, bwe nali ku ludda lwange olwa ddyo – nga bulijo bwe kyabeerangawo – Mukama yayogera ebigambo bino gy'endi n'obuyinza obukulu, "OMUDDU WANGE, N'AKUTEEKAWO OKUGABA EMMERE OKUSINZIRA KU MATAYO 24:45-47.” Okutuusa kw'olwo nali si tegeera kyawandikibwa ekyo, nga wayisewo akaseera katono nakiteka mu kwegatta n'okugaba emmere y'omwoyo eye biro bino. Katonda ya ggamba nti alituma enjala y'okuwulira Ebigambo bya Mukama (Amosi 8:11). Ekyo kye lwaki Ow'oluganda Branham yagambibwa okutereka emmere y'omwoyo, kaakano eri mu kugabibwa. Bw'atyo Katonda obuweereza bwe yateeka mu nze bw'egattira ddala ku buweereza bw'oluganda Branham. Kintu kimu okutereka emmere nyinji mu biboo, nga bwe ky'alagibwa eri Ow'oluganda Branham, era n'ensonga ey'enjawulo okugabana eky'okulya n'abantu ba Katonda ku meezza ya Mukama. Ab'oluganda bonna abafuna okuyitiibwa kw'obwa Katonda okuweereza mu nyumba ya Katonda baba ne Kigambo era baba ne kitundu mu kugaba emmere y'omwoyo mu nsi yonna.

Available translations